bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Revelation 4
Revelation 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 5 →
1
Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era, laba, oluggi olugguddwawo mu ggulu, ne mpulira eddoboozi ng'ery'akagombe lye nali nsoose okuwulira nga lyogera nange, ne liŋŋamba nti, “Linnya otuuke wano, nange nnaakulaga ebiteekwa okubaawo oluvannyuma lwa bino.”
2
Amangwago nga ndi mu Mwoyo, ne ndaba entebe ey'Obwakabaka eyali eteekeddwa mu ggulu, era nga waliwo eyali atudde ku ntebe eyo!
3
N'oyo eyali agituddeko yali afaanana ng'ejjinja erya yasepi n'erya sadiyo okuyakaayakaana, era ng'entebe eyo yeetooloddwa musoke ng'ayakaayakaana nga zumaliidi.
4
Entebe ey'Obwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala ez'Obwakabaka abiri mu nnya zituuliddwako abakadde abiri mu bana (24), nga bambadde engoye enjeru, era nga batikidde engule eza zaabu ku mitwe gyabwe.
5
Ne mu ntebe eyo ne muvaamu okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuuka. Mu maaso g'entebe waliwo ettaala ezaaka musanvu ez'omuliro, nga gy'emyoyo omusanvu egya Katonda.
6
Ne mu maaso g'entebe waliwo ekiri ng'ennyanja ey'endabirwamu, nga kifaanana nga kulusitalo. Wakati w'entebe okugyetooloola, waliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n'emabega.
7
Ekiramu ekisooka kyali kifaanana ng'empologoma, eky'okubiri nga kifaanana ng'ennyana, eky'okusatu kyalina amaaso ng'ag'omuntu n'ekiramu ekyokuna kyali kifaanana ng'empungu ebuuka.
8
Buli kimu ku biramu bino ebina, nga kirina ebiwaawaatiro mukaaga ebijjudde amaaso enjuyi zonna ne munda, era emisana n'ekiro awatali kuwummula byogera nti, “Omutukuvu, Omutukuvu, Omutukuvu, Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, eyabaawo era abaawo era ajja okubaawo.”
9
Era ebiramu buli lwe byawanga ekitiibwa n'ettendo n'okwebaza oyo atudde ku ntebe, omulamu emirembe n'emirembe,
10
abakadde abiri mw'abana (24) ne bavuunama mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, era ne basinza oyo omulamu emirembe n'emirembe, era ne basuula engule zaabwe mu maaso g'entebe, nga boogera nti,
11
“Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n'ettendo n'obuyinza: kubanga ggwe wa bitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22