bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Revelation 16
Revelation 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 17 →
1
Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu Yeekaalu, nga ligamba bamalayika omusanvu nti, “Mugende, muyiwe ebibya omusanvu eby'obusungu bwa Katonda ku nsi.”
2
Ow'olubereberye n'agenda, n'ayiwa ekibya kye ku nsi; awo amabwa amazibu ne gajja ku bantu abalina akabonero k'ensolo, era abasinza ekifaananyi kyayo.
3
Ow'okubiri n'ayiwa ekibya kye mu nnyanja; ne wabaawo omusaayi ng'ogw'omufu, na buli kiramu kyonna ekyali mu nnyanja ne kifa.
4
Ow'okusatu n'ayiwa ekibya kye mu migga ne mu nsulo z'amazzi, byonna ne bifuuka omusaayi.
5
Ne mpulira malayika w'amazzi ng'ayogera nti, “Ggwe mutuukirivu, ggwe abaawo era eyabaawo, ggwe Mutukuvu, kubanga wasala omusango bw'otyo:
6
kubanga baayiwa omusaayi gw'abatukuvu n'ogwa bannabbi, ogwo gwe musaayi ggwe gw'obawadde okunywa, ekyo kibasaanidde.”
7
Ne mpulira ekyoto nga kyogera nti, “Weewaawo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna, ensala yo ya bwenkanya era ya mazima.”
8
Ow'okuna n'ayiwa ekibya kye ku njuba; n'eweebwa okwokya abantu n'omuliro.
9
Abantu ne bookebwa okwokya okunene: ne bavuma erinnya lya Katonda alina obuyinza ku bibonyoobonyo ebyo; ne bateenenya okumuwa ekitiibwa.
10
Ow'okutaano n'ayiwa ekibya kye ku ntebe y'obwakabaka ey'ensolo; obwakabaka bwayo ne bubeera mu kizikiza, abantu ne beeruma ennimi zaabwe olw'obulumi,
11
ne bavuma Katonda ow'omu ggulu olw'obulumi bwabwe n'olw'amabwa gaabwe, era tebeenenya mu bikolwa byabwe.
12
Ow'omukaaga n'ayiwa ekibya kye ku mugga omunene Fulaati; n'amazzi gaagwo ne gakalira, ekkubo lya bakabaka abava ebuvanjuba liryoke liteekebweteekebwe.
13
Ne ndaba nga giva mu kamwa k'ogusota, ne mu kamwa k'ensolo, ne mu kamwa ka nnabbi w'obulimba, emyoyo emibi esatu, nga giri ng'ebikere:
14
kubanga egyo gye myoyo gi dayimooni egikola obubonero; egigenda eri bakabaka b'ensi zonna, okubakuŋŋaanya olw'olutalo olw'oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna.
15
“Laba, njija ng'omubbi. Aweereddwa omukisa atunula, n'akuuma ebyambalo bye, aleme okugenda obwereere, era baleme okulaba ensonyi ze.”
16
Ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Kalu-Magedoni.
17
Ow'omusanvu n'ayiwa ekibya kye mu bbanga; eddoboozi eddene ne liva mu Yeekaalu, mu ntebe y'obwakabaka, nga lyogera nti, “Kikoleddwa.”
18
Ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka; ne wabaawo ekikankano ekinene, nga tekibangawo kasookedde abantu baba ku nsi, ekikankano ekinene, ekikulu bwe kityo.
19
N'ekibuga ekinene ne kyawukanamu ebitundu bisatu, n'ebibuga eby'amawanga ne bigwa: ne Babbulooni ekinene ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, okukiwa okunywa ekikompe eky'obukambwe bw'obusungu bwe.
20
Na buli kizinga ne kidduka, so n'ensozi tezaalabika.
21
N'omuzira omunene ne gugwa okuva mu ggulu, buli mpeke ng'obuzito bwayo ttalanta ne gukuba abantu. Abantu ne bavvoola Katonda olw'ekibonyoobonyo eky'omuzira; kubanga ekibonyoobonyo kyagwo kinene nnyo.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22