bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Revelation 17
Revelation 17
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 18 →
1
Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu n'ajja n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti, “ Jjangu wano, nange nnaakulaga omusango gw'omwenzi omukulu atuula ku mazzi amangi;
2
bakabaka b'ensi gwe baayenda naye, n'abo abatuula ku nsi ne batamiira omwenge gw'obwenzi bwe.”
3
N'antwala mu ddungu mu Mwoyo: ne ndaba omukazi, ng'atudde ku nsolo emmyufu, ng'ejjudde amannya ag'obuvvoozi, ng'erina emitwe musanvu n'amayembe kkumi (10).
4
Omukazi ng'ayambadde olugoye olw'effulungu n'olumyufu, era n'ayonjebwa ne zaabu n'amayinja ag'omuwendo omungi ne luulu, ng'alina mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu ekijjudde emizizo, bye bibi byonna eby'obwenzi bwe.
5
Ku kyenyi kye kwali kuwandiikiddwako erinnya eryewuunyisa nti, “BABULOONI EKINENE, NNYINA W'ABENZI ERA OW'EMIZIZO GY'ENSI.”
6
Ne ndaba omukazi oyo ng'atamidde omusaayi gw'abatukuvu, n'omusaayi gw'abajulirwa abattibwa olwa Yesu. Bwe nnamulaba, ne nneewuunya nnyo nnyini.
7
Malayika n'aŋŋamba nti, “ Kiki ekikwewuunyisa? Nze nnaakubuulira ekyama ky'omukazi, n'eky'ensolo emusitudde, erina emitwe omusanvu n'amayembe ekkumi.
8
Ensolo gye walabye yaliwo era nga tekyaliwo era egenda okuva mu bunnya obutakoma n'okugenda mu kubula. N'abo abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu okuva ensi lwe yatondebwa balyewuunya, bwe baliraba ensolo nga yaliwo, ate ne tebeerawo, ate ne komawo nate.
9
Kino kyetaaga omuntu alina amagezi n'okutegeera. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu, omukazi z'atuddeko;
10
era be bakabaka omusanvu; abataano baagwa, omu w'ali, omulala tannaba kujja; era bw'alijja, kimugwanira okumalawo ekiseera kitono.
11
N'ensolo eyaliwo era nga kaakano teriiwo, eyo ye y'omunaana, naye eringa ziri omusanvu, nayo yakubula.
12
N'amayembe ekkumi (10) ge walabye be bakabaka ekkumi (10), abatannaba kuweebwa bwakabaka; naye baaweebwa obuyinza nga bakabaka, awamu n'ensolo, okumala essaawa emu.
13
Abo balina okuteesa kumu, ne bawa ensolo amaanyi gaabwe n'obuyinza.
14
Abo balirwana n'Omwana gw'endiga, n'Omwana gw'endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w'abaami, era ye Kabaka wa bakabaka; era n'abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abeesigwa.”
15
N'aŋŋamba nti, “Amazzi ge walabye, omwenzi w'atudde, be bantu n'ebibiina n'amawanga n'ennimi.
16
N'amayembe ekkumi ge walabye, n'ensolo, bano balikyawa omwenzi, balimulumba ne bamulwanyisa ne bamuleka ng'ali bwereere, balirya omubiri gwe, era balimwokera ddala omuliro.
17
Kubanga Katonda yassa mu mitima gyabwe okukola kye yateesa, n'okuteesa awamu, n'okuwa ensolo obwakabaka bwabwe, okutuusa ebigambo bya Katonda lwe birituukirira.
18
N'omukazi gwe walabye kye kibuga ekinene, ekifuga bakabaka bonna ab'oku nsi.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22