bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Revelation 8
Revelation 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 9 →
1
Omwana gw'Endiga bwe yabembula envumbo ey'omusanvu, ne wabaawo akasiriikiriro mu ggulu okumala nga kitundu kya ssaawa.
2
Ne ndaba bamalayika musanvu abaayimirira mu maaso ga Katonda ne baweebwa obugombe musanvu.
3
Ne malayika omulala n'ajja ng'alina ekyoterezo ekya zaabu, n'ayimirira okuliraana ekyoto, n'aweebwa obubaane bungi, alyoke abuteeke mu kusaba kw'abatukuvu bonna ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g'entebe.
4
N'omukka gw'obubaane ne gulinnya wamu n'okusaba kw'abatukuvu nga guva mu mukono gwa malayika mu maaso ga Katonda.
5
Malayika n'atwala ekyoterezo, n'akijjuza omuliro ogw'omu kyoto, n'akisuula ku nsi, ne wabaawo okubwatuka n'amaloboozi n'okumyansa n'ekikankano.
6
Awo ne bamalayika omusanvu abaalina obugombe omusanvu ne beeteekateeka okufuuwa.
7
Malayika ow'olubereberye n'afuuwa, ne waba omuzira n'omuliro ebitabuddwa n'omusaayi, ne bisuulibwa ku nsi, n'ekitundu eky'okusatu eky'ensi ne kiggya, n'ekitundu eky'okusatu eky'emiti ne kiggya, na buli muddo omubisi ne guggya.
8
Malayika ow'okubiri n'afuuwa, ekintu ekinene nga kifaanana ng'olusozi olunene olwaka omuliro ne kisuulibwa mu nnyanja, n'ekitundu eky'okusatu eky'ennyanja ne kifuuka musaayi;
9
n'ekimu eky'okusatu eky'ebitonde eby'omu nnyanja ne bifa, n'ekimu eky'okusatu eky'ebyombo ne kizikirira.
10
Malayika ow'okusatu n'afuuwa, emmunyeenye ennene n'eva mu ggulu n'egwa ng'eyaka ng'omumuli, n'egwa ku kitundu eky'okusatu eky'emigga, ne ku nzizi z'amazzi.
11
N'erinnya ly'emmunyeenye liyitibwa Abusinso, n'ekitundu eky'okusatu eky'amazzi ne kifuuka abusinso, n'abantu bangi ne bafa olw'amazzi, kubanga gaakaayizibwa.
12
Malayika ow'okuna n'afuuwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'enjuba ne kikubibwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'omwezi, n'ekitundu eky'okusatu eky'emmunyeenye, ekitundu eky'okusatu ekyabyo kiryoke kizikizibwe, n'omusana guleme okwaka ekitundu kyagwo eky'okusatu, n'ekiro bwe kityo.
13
Ne ndaba, ne mpulira empungu emu ng'ebuuka wakati w'eggulu, ng'eyogera n'eddoboozi ddene nti, “Zibasanze, zibasanze, zibasanze abatuula ku nsi, olw'amaloboozi agasigaddeyo ag'akagombe ka bamalayika abasatu abagenda okufuuwa!”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22