bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Revelation 7
Revelation 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 8 →
1
Oluvannyuma ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku nsonda nnya ez'ensi, nga bakutte empewo nnya ez'ensi, empewo yonna ereme okukunta ku nsi, newakubadde ku nnyanja, newakubadde ku muti gwonna.
2
Ne ndaba malayika omulala ng'alinnya okuva ebuvanjuba, ng'alina akabonero ka Katonda omulamu, n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba bamalayika abana, abaaweebwa okwonoona ensi n'ennyanja,
3
ng'ayogera nti, “Temwonoona nsi, newakubadde ennyanja, newakubadde emiti, okutuusa lwe tulimala okuteeka envumbo ku byenyi by'abaweereza ba Katonda waffe.”
4
Ne mpulira omuwendo gwabwe abaateekebwako envumbo, nga baali emitwalo kkumi n'ena mu enkumi nnya (144,000) okuva mu buli kika ky'abaana ba Isiraeri.
5
Ab'omu kika kya Yuda abaateekebwako envumbo omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
6
Ab'omu kika kya Aseri omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Nafutaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Manase omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
7
Ab'omu kika kya Simyoni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Leevi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Isakaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
8
Ab'omu kika kya Zebbulooni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Yusufu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Benyamini abaateekebwako envumbo omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000).
9
Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kinene omuntu yenna ky'atayinza kubala, nga bava mu buli ggwanga, mu bika n'abantu n'ennimi, nga bayimiridde mu maaso g'entebe ne mu maaso g'Omwana gw'endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru, n'amatabi g'enkindu mu mikono gyabwe;
10
ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti, “Obulokozi bwa Katonda waffe atudde ku ntebe n'Omwana gw'endiga.”
11
Ne bamalayika bonna baali bayimiridde nga beetoolodde entebe n'abakadde n'ebiramu ebina, ne bavuunama amaaso gaabwe mu maaso g'entebe, ne basinza Katonda,
12
nga boogera nti, “Amiina, omukisa n'ekitiibwa n'amagezi n'okwebaza n'ettendo n'obuyinza n'amaanyi bibenga eri Katonda waffe emirembe n'emirembe, Amiina.”
13
Omu ku bakadde n'addamu, n'ambuuza nti, “Bano abambadde ebyambalo ebyo ebyeru, be baani, era bava wa?”
14
Ne mmugamba nti, “Mukama wange, gw'omanyi.” N'aŋŋamba nti, “Bano be baava mu kubonaabona kuli okungi, ne bayoza ebyambalo byabwe, ne babitukuza mu musaayi gw'Omwana gw'endiga.”
15
“Kyebavudde babeera mu maaso g'entebe ya Katonda; ne bamuweerezanga emisana n'ekiro mu Yeekaalu ye, n'oyo atudde ku ntebe alitimba eweema ye ku bo.
16
Tebalirumwa njala nate, so tebalirumwa nnyonta nate, so omusana tegulibookya, newakubadde okwokya kwonna;
17
kubanga Omwana gw'endiga ali wakati w'entebe anaabalundanga, era alibaleeta eri enzizi ez'amazzi ag'obulamu, era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22