bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Revelation 2
Revelation 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 3 →
1
“Eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Efeso wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, atambulira wakati w'ebikondo by'ettaala omusanvu eza zaabu,
2
nti Mmanyi ebikolwa byo, n'okufuba kwo n'okugumiikiriza kwo, era nga toyinza kugumiikiriza babi, era wabakema abeeyita abatume so nga si bo, era wabalaba nga balimba;
3
mmanyi nga oli mugumiikiriza, era waguma olw'erinnya lyange, n'otokoowa.
4
Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga waleka okwagala kwo okw'olubereberye.
5
Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okole ebikolwa bye wakolanga olubereberye. Bw'otolikola bw'otyo, ndijja gy'oli, ne nziggyawo ekikondo ky'ettaala yo mu kifo kyayo, okuggyako nga weenenyeza.
6
Naye kino kye kirungi ky'olina, okyawa ebikolwa by'Abanikolayiti, nange bye nkyawa.
7
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogw'obulamu, oguli wakati mu lusuku lwa Katonda.”
8
“Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Sumuna wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera ow'olubereberye era ow'enkomerero, eyali afudde ate n'aba omulamu
9
nti Mmanyi okubonaabona kwo n'obwavu bwo, naye ng'oli mugagga, n'okuvvoola kw'abo abeeyita Abayudaaya so nga si bo, naye kkuŋŋaaniro lya Setaani.
10
Totya by'ogenda okubonaabona, laba, Setaani anaatera okusuula abamu mu mmwe mu kkomera okubagezesa, era mulibonaabonera ennaku kkumi (10). Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey'obulamu.
11
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula talirumwa n'akatono kufa kwa kubiri.”
12
“Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Perugamo wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo alina ekitala ekisala eky'obwogi obubiri,
13
nti Mmanyi gy'otuula awali entebe ey'obwakabaka eya Setaani, kyokka ng'onywezeza erinnya lyange, era nga teweegaana kukkiriza kwange, ne mu biseera bya Antipa, omujulirwa wange omusajja wange omwesigwa, eyattirwa ewammwe, eyo Setaani gy'abeera.
14
Naye nnina ensonga ntono ku ggwe, eyo olinayo abantu abagoberera okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okuteeka enkonge mu maaso g'abaana ba Isiraeri, n'abaliisa ebyaweebwa eri ebifaananyi n'okwenda.
15
Era olinayo n'abakwata okuyigiriza kwa Banikolayiti.
16
Kale weenenye; naye bw'otolyenenya, ndijja gy'oli mangu, ne nnwana nabo n'ekitala eky'omu kamwa kange.
17
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa, era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya, eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweebwa.”
18
“Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Suwatira wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'ennimi z'omuliro, n'ebigere bye ebifaanana ng'ekikomo ekizigule,
19
nti Mmanyi ebikolwa byo n'okwagala n'okukkiriza n'okuweereza n'okugumiikiriza kwo, n'ebikolwa byo eby'oluvannyuma nga bingi okusinga eby'olubereberye.
20
Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga oleka omukazi Yezeberi, eyeeyita nnabbi, akyamya abaweereza bange mu bwenzi n'okulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi.
21
N'amuwa ebbanga okwenenya, n'agaana okwenenya obwenzi bwe.
22
Laba ndi muteeka ku ndiri ne mulwaza, era mubonyebonye wamu ne be yayendanga n'abo, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe.
23
Era n'abaana be ndibatta n'olumbe, olwo ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nga nze nzuuyo akebera emmeeme n'emitima, era nga ndisasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe biri.
24
Naye mmwe mbagamba, abasigalawo ab'omu Suwatira, bonna abatalina kuyigiriza kuno, abatamanyi bya buziba bya Setaani, nga bwe boogera, sibateekako mmwe mugugu mulala.
25
Wabula kye mulina mukikwatenga, okutuusa lwe ndijja.
26
Oyo awangula n'akwatanga ebikolwa byange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza ku mawanga,
27
era aligalunda n'omuggo ogw'ekyuma, n'agaasaayasa ng'ebibya ebibumbe bwe byatikayatika, nange nga bwe nnaweebwa Kitange.
28
Era ndimuwa emmunyeenye ey'enkya.
29
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22