bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Revelation 3
Revelation 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 4 →
1
“Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Saadi wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda, n'emmunyeenye omusanvu, nti Mmanyi ebikolwa byo, ng'olina erinnya ery'okuba omulamu, era oli mufu.
2
Tunula, onyweze ebisigaddeyo ebitannaba kufa, kubanga ssinnalaba mu bikolwa byo ebituukiridde maaso ga Katonda wange.
3
Kale jjukira bye waweebwa ne bwe wawulira, obikwate era weenenye. Kale bw'ototunule, ndijja ng'omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy'oli.
4
Naye olina amannya matono ag'abantu mu Saadi abatannayonoona ngoye zaabwe, balitambula nange mu ngoye njeru, kubanga basaanidde.
5
Bw'atyo awangula alyambazibwa engoye enjeru, era sirisangula n'akatono linnya lye mu kitabo ky'obulamu, era ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange, ne mu maaso ga bamalayika be.
6
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.”
7
“Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Firaderufiya wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo omutukuvu, ow'amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, aggulawo, ne wataba aggalawo, aggalawo, ne wataba aggulawo,
8
nti Mmanyi ebikolwa byo. Laba, nkugguliddewo oluggi, omuntu yenna lw'atayinza kuggala; kubanga olina amaanyi matono, n'okwata ekigambo kyange, n'oteegaana linnya lyange.
9
Laba, nga ab'omu kkuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya, so si bo, naye balimba; laba, ndibaleeta okujja okusinza mu maaso g'ebigere byo, era ndibamanyisa nga nnakwagala.
10
Kubanga weekuuma ekigambo eky'okugumiikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky'okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abo abatuula ku nsi.
11
Njija mangu, nyweza ky'olina, omuntu yenna aleme okutwala engule yo.
12
Awangula ndimufuula empagi mu Yeekaalu ya Katonda wange, so talifuluma nate bweru, nange ndiwandiika ku ye erinnya lya Katonda wange, n'erinnya ly'ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya, ekikka okuva mu ggulu eri Katonda wange, n'erinnya lyange eriggya.
13
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.”
14
“Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Lawodikiya wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo Amiina, omujulirwa omwesigwa era ow'amazima, olubereberye lw'okutonda kwa Katonda,
15
nti Mmanyi ebikolwa byo, nga tonnyogoga so tobuguma, waakiri obe ng'onnyogoga oba obuguma.
16
Naye kubanga oli wa kibuguumirize, nga tonnyogoga so tobuguma, ndikuwandula okuva mu kamwa kange.
17
Kubanga oyogera nti, Ndi mugagga, era ngaggawadde, so ssiriiko kye nneetaaga, so tomanyi ng'oli munaku ggwe era asaasirwa era omwavu era omuzibe w'amaaso era ali obwereere.
18
Nkuwa amagezi okugula gye ndi ezaabu eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale, n'engoye enjeru, olyoke oyambale, era ensonyi ez'obwereere bwo zireme okulabika; era onguleko n'eddagala ery'okusiiga ku maaso go, olyoke olabe.
19
Nze bonna be njagala mbanenya, era mbabuulirira, kale nyiikira weenenye.
20
Laba, nnyimiridde ku luggi, nkonkona, omuntu yenna bw'awulira eddoboozi lyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange.
21
Awangula ndimuwa okutuula awamu nange ku ntebe yange ey'obwakabaka, era nga nange bwe nnawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey'obwakabaka.
22
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22