bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Revelation 20
Revelation 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 21 →
1
Ne Ndaba malayika ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma n'olujegere olunene mu mukono gwe.
2
N'akwata ogusota, omusota ogw'edda, ye Mulyolyomi era Setaani, n'agusibira emyaka lukumi (1,000),
3
n'agusuula mu bunnya obutakoma n'aggalawo n'ateekako envumbo, gulemenga okulimba amawanga nate, okutuusa emyaka lukumi (1,000) lwe giriggwaako; oluvannyuma lwagyo kigugwanira okusumululwa okumala akaseera katono.
4
Ne ndaba entebe ez'obwakabaka, nga kuliko abatuddeko, ne baweebwa okusala omusango; n'emyoyo gyabwe abaatemwako emitwe olw'okujuliranga Yesu n'olw'ekigambo kya Katonda, n'abo abatasinza nsolo newakubadde ekifaananyi kyayo, so tebakkiriza kabonero kaakyo ku byenyi byabwe ne ku mikono gyabwe ne baba balamu, ne bafugiranga wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi (1,000).
5
Abafu abalala tebaaba balamu okutuusa ng'emyaka olukumi (1,000) giweddeko. Kuno kwe kuzuukira okw'olubereberye.
6
Aweereddwa omukisa, era mutukuvu alizuukirira mu kuzuukira okusooka, kubanga okufa okw'okubiri tekulina buyinza ku bo, naye banaabeeranga bakabona ba Katonda era ba Kristo, era banaafugiranga wamu naye okumala emyaka lukumi (1,000).
7
Awo, emyaka egyo olukumi (1,000) bwe giriggwaako, Setaani n'alyoka asumululwa mu kkomera lye,
8
era aligenda okulimba amawanga ag'omu nsonda ennya ez'ensi, Googi ne Magoogi, okubakuŋŋaanya ku lutalo: omuwendo gwabwe guliba ng'omusenyu gw'ennyanja.
9
Ne batabaala ensi engazi, ne bazingiza olusiisira olw'abatukuvu n'ekibuga ekyagalwa, kyokka omuliro ne gukka okuva mu ggulu, ne gubookya ne gubamalawo.
10
Ne Setaani eyabalimbanga n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro ne salufa, era omuli ensolo ne nnabbi ow'obulimba; era banaabonyaabonyezebwanga emisana n'ekiro emirembe n'emirembe.
11
Ne ndaba entebe ey'obwakabaka ennene enjeru, n'oyo eyali agituddeko, eggulu n'ensi ne bidduka mu maaso ge; era tebyazuulirwa na kifo.
12
Ne ndaba abafu, ab'ekitiibwa n'abatali ba kitiibwa, nga bayimiridde mu maaso g'entebe; ebitabo ne bibikkulwa, n'ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky'obulamu: abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo, ng'ebikolwa byabwe bwe byali.
13
N'ennyanja n'ereeta abafu abalimu, n'okufa n'Amagombe ne bireeta abafu abalimu: ne basalirwa omusango buli muntu ng'ebikolwa byabwe bwe byali.
14
N'okufa n'Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Kuno kwe kufa okw'okubiri, okwo mu nnyanja ey'omuliro.
15
Era omuntu yenna eyasangibwa ng'erinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu, n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22