bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Revelation 5
Revelation 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 6 →
1
Ne ndaba mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo eyali atudde ku ntebe omuzingo nga guwandiikiddwa munda ne kungulu, nga gusibiddwa nnyo n'envumbo musanvu.
2
Ne ndaba malayika ow'amaanyi ng'abuuza mu eddoboozi ddene nti, “Ani asaanidde okubembula envumbo omusanvu n'okwanjuluza omuzingo?”
3
Ne watabaawo n'omu mu ggulu newakubadde ku nsi newakubadde wansi w'ensi, eyayinza okwanjuluza omuzingo wadde okugutunulamu.
4
Awo nze ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabikawo eyasaanira okwanjuluza omuzingo newakubadde okugutunulamu.
5
Awo omu ku bakadde n'aŋŋamba nti, “Tokaaba, laba, Empologoma ey'omu kika kya Yuda, ekikolo kya Dawudi, eyawangula, y'ayinza okwanjuluza omuzingo n'okubembula envumbo zaagwo omusanvu.”
6
Ne ndaba wakati w'entebe n'ebiramu ebina, ne wakati w'abakadde, Omwana gw'endiga ng'ayimiridde ng'afaanana ng'eyattibwa, ng'alina amayembe musanvu, n'amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu nsi zonna.
7
N'agenda n'aggya omuzingo mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo atudde ku ntebe.
8
Bwe yakwata omuzingo, ebiramu ebina n'abakadde abiri mu bana (24) ne bavuunama mu maaso g'Omwana gw'endiga, buli muntu ng'alina ennanga n'ebibya ebya zaabu ebijjudde obubaane, kwe kusaba kw'abatukuvu.
9
Ne bayimba oluyimba oluggya, nga bayimba nti, “Gwe osaanidde okutoola omuzingo n'okubembula envumbo zaagwo, kubanga wattibwa omusaayi gwo ne gununulira Katonda abantu okuva mu buli kika n'olulimi n'abantu n'eggwanga,
10
n'obafuula obwakabaka ne bakabona ba Katonda, era be balifuga ku nsi.”
11
Awo ne ntunula, era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika abangi bukadde na bukadde, nkumi na nkumi nga beetoolodde entebe wamu n'ebiramu n'abakadde,
12
nga boogera mu ddoboozi ddene nti, “Asaanidde Omwana gw'endiga eyattibwa okuweebwa obuyinza n'obugagga n'amagezi n'amaanyi n'ettendo n'ekitiibwa n'omukisa.”
13
Awo ne ndyoka mpulira buli kitonde ekiri mu ggulu, ne ku nsi, ne wansi w'ensi, ne mu nnyanja n'ebirimu byonna nga bigamba nti, “Eri oyo atudde ku ntebe, n'eri Omwana gw'Endiga, omukisa n'ettendo, ekitiibwa n'amaanyi byabwe emirembe n'emirembe.”
14
N'ebiramu ebina ne byogera nti, “Amiina.” N'abakadde ne bavuunama ne basinza.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22