bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Revelation 9
Revelation 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 10 →
1
Malayika ow'okutaano n'afuuwa, ne ndaba emmunyeenye ng'eva mu ggulu ng'egwa ku nsi, n'aweebwa ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma.
2
N'asumulula obunnya obutakoma; n'omukka ne guva mu bunnya ne gulinnya ng'omukka gw'enkoomi ennene, n'enjuba n'ebbanga ne bibuna enzikiza olw'omukka ogwava mu bunnya.
3
Ne mu mukka ne muvaamu enzige okujja ku nsi, ne ziweebwa obuyinza, ng'enjaba ez'obusagwa ez'omu nsi bwe zirina obuyinza.
4
Ne zigambibwa obutayonoona muddo gwa nsi, newakubadde ekintu kyonna ekibisi newakubadde omuti gwonna, wabula abantu bokka abataliiko nvumbo ya Katonda ku byenyi byabwe.
5
Ne ziweebwa obutabatta, wabula okubalumira emyezi etaano, n'okuluma kwazo kwali ng'okuluma kw'enjaba ey'obusagwa bw'eruma omuntu.
6
Mu nnaku ezo abantu balinoonya okufa, so tebalikulaba n'akatono; era balyegomba okufa, era okufa nga kubadduka.
7
Enzige zino mu ndabika zaali zifaanana ng'embalaasi ezitegekeddwa olutalo, ne ku mitwe gyazo nga kuli ng'okutikkiddwa engule eza zaabu, n'ebyenyi byazo nga biri ng'eby'abantu.
8
Era obwoya bwazo nga buli ng'enviiri z'abakazi, n'amannyo gaazo gaali ng'ag'empologoma.
9
Zaali zibikiddwako eby'omu kifuba nga biringa eby'ekyuma, n'eddoboozi ly'ebiwaawaatiro byazo nga liringa eddoboozi lya nnamuziga w'amagaali ag'embalaasi ennyingi nga zifubutuka okuyingira mu lutalo.
10
Era zirina emikira egifaanana ng'enjaba ez'obusagwa nga giriko n'enkato, ne mu mikira gyazo nga mulimu obuyinza obw'okulumira abantu emyezi etaano.
11
Zirina kabaka waazo malayika ow'obunnya obutakoma, erinnya mu Lwebbulaniya ye Abadoni, ne mu Luyonaani erinnya nga ye Apolwoni.
12
Eky'entiisa ekisooka ne kiyita, naye ng'ekyaliyo bya mirundi ebiri ebijja!
13
Malayika ow'omukaaga n'afuuwa, ne mpulira eddoboozi nga lyogera okuva mu mayembe ana agali ku kyoto ekya zaabu ekiri mu maaso ga Katonda,
14
ng'aligamba malayika ow'omukaaga eyalina akagombe nti, “Sumulula bamalayika abana abasibirwa ku mugga omunene Fulaati.”
15
Bamalayika abana ne basumululwa abaali bateegekeddwa essaawa n'olunaku n'omwezi n'omwaka, okutta ekitundu eky'okusatu eky'abantu.
16
Ne mpulira omuwendo gw'eggye ery'abeebagala embalaasi gwali obukadde bibiri (200,000,000).
17
Era bwe nti bwe nnalaba embalaasi mu kwolesebwa kuno, n'abo abaali bazituddeko, nga bambadde eby'omu kifuba ng'eby'omuliro n'ebya kazigizigi n'eby'ekibiriiti: n'emitwe egy'embalaasi gyali gifaanana ng'emitwe gy'empologoma, ne mu bumwa bwazo ne muva omuliro n'omukka n'ekibiriiti.
18
Mu bibonyoobonyo ebyo byonsatule, kwe kugamba nti omuliro n'omukka n'ekibiriiti ebyava mu bumwa bwazo, ne bitta ekitundu ekimu eky'okusatu eky'abantu.
19
Kubanga obuyinza bw'embalaasi ezo bwali mu kamwa kaazo, ne mu mikira gyazo, kubanga emikira gyazo gyali gifaanana ng'emitwe gy'emisota, era nga gye zirumisa.
20
N'abantu abaasigalawo, abatattibwa mu bibonyoobonyo ebyo, tebeenenya mu bikolwa by'emikono gyabwe, obutasinza balubaale, n'ebifaananyi ebya zaabu n'ebya ffeeza n'eby'ebikomo n'eby'amayinja n'eby'emiti, ebitayinza kulaba newakubadde okuwulira, newakubadde okutambula,
21
ne bateenenya mu bussi bwabwe, newakubadde mu bulogo bwabwe, newakubadde mu bwenzi bwabwe, newakubadde mu bubbi bwabwe.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22