bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Revelation 11
Revelation 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 12 →
1
Ne mpeebwa olumuli olufaanana ng'omuggo, malayika n'aŋŋamba nti, “Golokoka, opime Yeekaalu ya Katonda, n'ekyoto, n'abasinzizaamu.
2
Naye oluggya oluli ebweru wa Yeekaalu luleke tolupima, kubanga lwaweebwa ab'amawanga, balirinnyirira ekibuga ekitukuvu okumala emyezi ana mu ebiri.
3
Nange ndibawa amaanyi abajulirwa bange babiri nga bambadde ebibukutu, okwogera obunnabbi okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga (1,260).”
4
Abo gye mizeyituuni ebiri n'ettaala ebbiri eziyimirira mu maaso ga Mukama w'ensi.
5
Era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, omuliro guva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe, era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa.
6
Abo balina obuyinza okusiba eggulu, enkuba eremenga okutonnya mu nnaku ez'okutegeeza kwabwe, era balina obuyinza ku mazzi okugafuula omusaayi, era n'okubonyaabonya ensi n'ebibonyoobonyo byonna, emirundi emingi nga bwe baagala.
7
Era bwe baliba nga bamaze okutegeeza kwabwe, ensolo eva mu bunnya obutakoma erirwana nabo, era eribawangula, era eribatta.
8
Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo z'ekibuga ekinene, ekiyitibwa mu mwoyo Sodomu ne Misiri, era Mukama waabwe mwe yakomererwa.
9
Era okumala ennaku ssatu n'ekitundu emirambo gyabwe girirabibwa abantu n'ebika n'ennimi n'amawanga mu nguudo z'ekibuga, era emirambo gyabwe tegirikkirizibwa kuziikibwa mu ntaana.
10
N'abo abatuula ku nsi balisanyuka ku lwabwe, ne bajaguza; era baliweerezagana ebirabo; kubanga bannabbi abo ababiri baabonyaabonya abatuula ku nsi.
11
Oluvannyuma lw'ennaku ziri essatu n'ekitundu, omwoyo gw'obulamu oguva eri Katonda ne guyingira mu bo, ne bayimirira ku bigere byabwe, okutya kungi ne kugwa ku bo abaabalaba.
12
Ne bawulira eddoboozi ddene eriva mu ggulu, nga libagamba nti, “Mulinnye okutuuka wano.” Ne balinnya mu ggulu mu kire; n'abalabe baabwe ne ba balaba.
13
Ne mu ssaawa eri ne wabaawo ekikankano ekinene, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ekibuga ne kigwa; ne battibwa abantu kasanvu (7,000) mu kikankano: n'abo abaasigalawo ne bakwatibwa entiisa, ne bawa ekitiibwa Katonda ow'omu ggulu.
14
Ekibonyoobonyo eky'okubiri kiyise, laba, ekibonyoobonyo eky'okusatu kijja mangu.
15
Malayika ow'omusanvu n'afuuwa; ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti, “Obwakabaka bw'ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we, era anaafuganga emirembe n'emirembe.”
16
N'abakadde abiri mu bana (24), abatuula mu maaso ga Katonda ku ntebe zaabwe ez'obwakabaka, ne bavuunama amaaso gaabwe, ne basinza Katonda,
17
nga boogera nti, “Tukwebaza, ggwe Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna, abaawo era eyabaawo, kubanga otutte amaanyi go amangi, n'ofuga.
18
Amawanga ne gasunguwala, n'obusungu bwo ne bujja, n'entuuko ez'okusaliramu omusango gw'abafu, n'ez'okuweeramu empeera yaabwe abaddu bo bannabbi, n'abatukuvu, n'abatya erinnya lyo, abato n'abakulu; n'ez'okwonooneramu aboonoona ensi.”
19
Ne Yeekaalu ya Katonda ey'omu ggulu n'ebikkulwa; ne walabika mu Yeekaalu ye essanduuko y'endagaano ye; ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka n'ekikankano n'omuzira mungi.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22