bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 1
John 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 2 →
1
Ensi bwe yali nga tennatondebwa, Kigambo nga w'ali. Kigambo yali ne Katonda, era nga ye omu ne Katonda.
2
Okuviira ddala olubereberye, Kigambo yali ne Katonda.
3
Katonda yayita mu ye okutonda ebintu byonna. Tewali kintu na kimu ku bitonde, ekyatondebwa w'atali.
4
Obulamu bwali mu ye, era obulamu obwo ne buleeta ekitangaala mu bantu.
5
Ekitangaala ne kyakira mu kizikiza, ekizikiza ne kitasobola kuwangula kitangaala.
6
Katonda yatuma omuntu, erinnya lye Yowanne,
7
n'ajja okutegeeza abantu ebifa ku kitangaala. Yajja okubategeeza, bonna balyoke bawulire era bakkirize.
8
Yowanne ono si ye yali ekitangaala, wabula yajja ategeeze abantu ebifa ku kitangaala.
9
Ekitangaala kyennyini, ekyakira buli muntu, kyali kijja mu nsi.
10
Kigambo yali mu nsi. Katonda yatonda ensi ng'ayita mu ye. Naye Kigambo bwe yali mu nsi, ensi teyamutegeera.
11
Yajja mu nsi ye, abantu be ne batamwaniriza.
12
Naye abo abaamwaniriza ne bamukkiriza, yabasobozesa okufuuka abaana ba Katonda.
13
Baafuuka abaana ba Katonda, mu ngeri eteri ya bulijjo abantu gye bazaalibwamu, wabula Katonda yennyini ye Kitaabwe.
14
Kigambo yafuuka omuntu, n'abeera wamu naffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng'ajjudde ekisa era n'amazima. Ekitiibwa ekyo, kye yafuna ye, Omwana omu bw'ati yekka owa Katonda.
15
Yowanne yakangula eddoboozi ng'amwogerako nti: “Ono gwe nayogerako, bwe nagamba nti: ‘Oyo anvaako emabega ye ansinga obuyinza, kubanga yabaawo nga nze sinnabaawo.’ ”
16
Ku bugagga bwe obutakoma, ffenna kwe twagabana, ng'atuwa ebirabo eby'okumukumu.
17
Katonda yawa Amateeka ng'ayita mu Musa, kyokka okusaasira era n'amazima byajja nga biyita mu Yesu Kristo.
18
Tewali yali alabye Katonda, wabula Omwana we omu yekka, nga ye omu ne Katonda era abeerera ddala okumpi ne Kitaawe, ye yatubuulira Katonda bw'ali.
19
Bino bye bigambo Yowanne Omubatiza bye yayogera, Abayudaaya ab'omu Yerusaalemu bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti: “Ggwe ani?”
20
Teyagaana kuddamu, wabula yayatulira ddala nti: “Si nze Kristo.”
21
Ne bamubuuza nti: “Kale ggwe ani? Ggwe Eliya?” Yowanne n'addamu nti: “Nedda.”
22
Awo ne bamugamba nti: “Abaatutumye tunaabagamba nti ggwe ani? Weeyita otya?”
23
N'addamu nti: “Nze ddoboozi ly'oyo ayogerera mu ddungu nti: ‘Mutereeze ekkubo lya Mukama,’ nga Yisaaya omulanzi bwe yayogera.”
24
Abaatumibwa baali ba mu Bafarisaayo.
25
Awo ne babuuza Yowanne nti: “Kale lwaki obatiza oba nga si ggwe Kristo oba Eliya, oba Omulanzi oli?”
26
Yowanne n'abaddamu nti: “Nze mbatiza na mazzi, naye wakati mu mmwe wayimiriddewo gwe mutamanyi,
27
anvaako emabega, nze sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.”
28
Ebyo byabaawo e Betaniya, emitala w'omugga Yorudaani. Yowanne gye yabatirizanga.
29
Ku lunaku olwaddirira, Yowanne n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti: “Laba, Omwana gw'Endiga owa Katonda wuuyo, aggyawo ebibi by'ensi.
30
Ye wuuyo gwe nayogerako nti: ‘Waliwo omuntu anvaako emabega, ye ansinga obuyinza, kubanga ye yaliwo nga nze sinnabaawo.’
31
Nange nali simumanyi, wabula nze najja okubatiza n'amazzi, ye alyoke amanyibwe abantu ba Yisirayeli.”
32
Yowanne n'ayatula ng'agamba nti: “Nalaba Mwoyo ng'ava mu ggulu, ng'afaanana ng'enjiibwa, ng'akka ku ye.
33
Nze nali sinnamumanya, wabula Katonda eyantuma okubatiza n'amazzi, ye yaŋŋamba nti: ‘Gw'oliraba nga Mwoyo akka n'abeera ku ye, ye wuuyo abatiza ne Mwoyo Mutuukirivu.’
34
Ekyo nakiraba, era mbategeeza nti oyo ye Mwana wa Katonda.”
35
Ku lunaku olwaddirira, era Yowanne yali akyali awo ng'ayimiridde wamu n'ababiri ku bayigirizwa be,
36
n'alaba Yesu ng'atambula, n'agamba nti: “Laba Omwana gw'Endiga owa Katonda wuuyo!”
37
Abayigirizwa bombi ne bamuwulira ng'ayogera, ne bagoberera Yesu.
38
Awo Yesu n'akyuka n'atunula emabega, n'abalaba nga bamugoberera, n'ababuuza nti: “Munoonya ki?” Ne bamuddamu nti: “Rabbi, osula wa?” (Rabbi, amakulu gaakyo, Muyigiriza).
39
Yesu n'abagamba nti: “Mujje mulabeyo.” Ne bagenda ne balaba gy'asula, ne bamala naye olunaku olwo. Obudde bwali nga essaawa kkumi ez'olweggulo.
40
Omu ku abo abaawulira Yowanne ng'ayogera ne bagenda ne Yesu, yali Andereya, muganda wa Simooni.
41
Ono yasooka kusanga muganda we Simooni, n'amugamba nti: “Messiya, tumulabye.” (Messiya, kwe kugamba nti “Kristo,” ekitegeeza nti “Eyafukibwako Omuzigo”).
42
N'aleeta Simooni eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti “Ggwe Simooni, omwana wa Yona, onooyitibwanga Keefa” (Keefa ye Peetero, ekitegeeza nti “Lwazi”).
43
Ku lunaku olwaddirira, Yesu n'asalawo okugenda e Galilaaya. N'asanga Filipo, n'amugamba nti: “Yitanga nange.”
44
Filipo yali w'e Betusayida, ekibuga Andereya ne Peetero gye baabeeranga.
45
Filipo n'asanga Natanayili, n'amugamba nti: “Oyo Musa gwe yayogerako mu Kitabo ky'Amateeka, era n'abalanzi gwe baayogerako mu bye baawandiika, tumulabye. Ye Yesu ow'e Nazaareeti.”
46
Natanayili n'amubuuza nti: “E Nazaareeti eyinza okuvaayo akalungi?” Filipo n'amuddamu nti: “Jjangu olabe.”
47
Yesu bwe yalaba Natanayili ng'ajja gy'ali, n'amwogerako nti: “Laba Omuyisirayeli wawu, ataliimu bukuusa!”
48
Natanayili n'amubuuza nti: “Wammanyira wa?” Yesu n'amuddamu nti: “Nakulabye ng'oli wansi w'omuti omutiini, Filipo nga tannakuyita.”
49
Natanayili n'amuddamu nti: “Muyigiriza, ggwe Mwana wa Katonda, ggwe Kabaka wa Yisirayeli!”
50
Yesu n'amugamba nti: “Okkirizza olw'okuba nga nkugambye nti nakulabye ng'oli wansi w'omuti omutiini? Oliraba ebisinga ebyo.”
51
Era n'amugamba nti: “Mazima ddala nkugamba nti muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakka ku Mwana w'Omuntu.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21