bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 5
John 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 6 →
1
Ebyo bwe byaggwa, ne wabaawo embaga y'Abayudaaya. Yesu n'ayambuka e Yerusaalemu.
2
Mu Yerusaalemu, okumpi n'Omulyango gw'Endiga, waaliwo ekidiba, mu Lwebureeyi ekiyitibwa Betizata, ekyazimbibwako ebigango bitaano.
3
Mu bigango ebyo, mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo, abazibe b'amaaso, abalema, n'abakoozimbye, [nga balindirira amazzi okutabuka.
4
Malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu, n'atabula amazzi. Oyo eyasookanga okukka mu kidiba amazzi nga gamaze okutabulwa, yawonyezebwanga buli bulwadde bwonna bwe yabanga nabwo.]
5
Waaliwo omuntu, ng'amaze emyaka amakumi asatu mu munaana nga mulwadde.
6
Yesu bwe yalaba omuntu oyo ng'agalamidde awo, era n'amanya ng'abadde awo okumala ebbanga ddene, n'amugamba nti: “Oyagala okuwonyezebwa?”
7
Omulwadde n'amuddamu nti: “Ssebo, sirina muntu anteeka mu kidiba, amazzi nga gatabuse. Nze wentuukirayo, ng'omulala yansoose dda.”
8
Yesu n'amugamba nti: “Golokoka, weetikke akatanda ko, otambule.”
9
Amangwago omuntu oyo n'awonyezebwa, ne yeetikka akatanda ke, n'atambula. Olunaku olwo lwali lwa Sabbaato.
10
Abayudaaya ne bagamba oyo awonyezeddwa nti: “Olwaleero lwa Sabbaato, tokkirizibwa kwetikka katanda ko.”
11
Ye n'abaddamu nti: “Oli amponyezza, ye yaŋŋambye nti: ‘Weetikke akatanda ko, otambule.’ ”
12
Ne bamubuuza nti: “Omuntu oyo ye ani eyakugambye nti: ‘Weetikke akatanda ko, otambule?’ ”
13
Kyokka eyawonyezebwa yali tamumanyi, kubanga Yesu yali abulidde mu bantu abangi abaali mu kifo ekyo.
14
Oluvannyuma, Yesu n'asanga omuntu oyo mu Ssinzizo, n'amugamba nti: “Laba, kati owonyezeddwa, toddangayo okwonoona, akabi akasinga kaleme kukubaako.”
15
Omuntu oyo n'agenda n'abuulira Abayudaaya nti Yesu ye yamuwonya.
16
Abayudaaya kyebaava bayigganya Yesu, kubanga yakola ebintu ebiri ng'ekyo ku Sabbaato.
17
Yesu n'abaddamu nti: “Kitange bulijjo akola, nange nteekwa okukola.”
18
Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya Sabbaato kyokka, naye yeeyita n'Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanankana ne Katonda.
19
Awo Yesu n'abaddamu nti: “Mazima ddala mbagamba nti Omwana talina ky'ayinza kukola ku bubwe, wabula ekyo ky'alaba nga Kitaawe akikola, kubanga ye by'akola, n'Omwana by'akola.
20
Kitaawe w'Omwana oyo, amwagala, amulaga byonna ye yennyini by'akola. Era alimulaga n'ebisinga ku ebyo, mulyoke mwewuunye.
21
“Nga Kitaawe bw'azuukiza abafu n'abazzaamu obulamu, bw'atyo n'Omwana awa obulamu abo b'ayagala okubuwa.
22
Era Kitaawe talina n'omu gw'asalira musango, wabula Omwana gwe yawa okusala emisango gyonna,
23
bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa, nga bwe bakissa mu Kitaawe. Atassaamu Mwana kitiibwa, nga ne Kitaawe eyamutuma, tamutaddeemu kitiibwa.
24
“Mazima ddala mbagamba nti awulira ebigambo byange, n'akkiriza oyo eyantuma, aba n'obulamu obutaggwaawo, era tasalirwa musango. Aba avudde mu kufa, ng'atuuse mu bulamu.
25
Mazima ddala mbagamba nti ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda. Era abo abaliwulira, baliba balamu.
26
“Nga Katonda bw'ali ensibuko y'obulamu, bw'atyo bwe yawa Omwana we okuba ensibuko y'obulamu.
27
Era yamuwa obuyinza okusala emisango, kubanga ye Mwana w'Omuntu.
28
Ekyo temukyewuunya, kubanga ekiseera kijja, bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye,
29
ne bazivaamu. Abo abaakolanga ebirungi, barizuukira ne baba balamu. Abo abaakolanga ebibi, balizuukira ne basingibwa omusango.
30
“Nze siyinza kubaako kye nkola ku bwange. Nsala omusango, nga Katonda bw'andagira okugusala. N'olwekyo ensala yange eba ntuufu, kubanga sikolera ku kye njagala, wabula ku ekyo eyantuma ky'ayagala.
31
“Singa nneewaako obujulirwa, obujulirwa bwange tebuba bwa mazima.
32
Waliwo omulala ampaako obujulirwa, era mmanyi nti obujulirwa bw'ampaako bwa mazima.
33
Mmwe mwatuma ababaka eri Yowanne, n'ayogera eky'amazima.
34
Si lwa kuba nti njagala okujulirwa omuntu obuntu, naye njogera ebyo mulyoke mulokolebwe.
35
Yowanne yali ttaala eyaka era emulisa. Naye mmwe mwayagala kumala kaseera buseera, nga musanyukira mu kitangaala kye.
36
“Naye nnina obujulirwa obusinga n'obwa Yowanne bwe yawa. Ebyo byennyini bye nkola, Kitange bye yandagira okutuukiriza, bye biraga nti Kitange ye yantuma.
37
Ne Kitange eyantuma, naye yennyini anjulira. Mmwe temuwuliranga ku ddoboozi lye n'akatono, wadde okulaba bw'afaanana.
38
Era ekigambo kye temukikuuma mu mitima gyammwe, kubanga temukkiriza oyo gwe yatuma.
39
“Mwekenneenya ebyawandiikibwa, kubanga mulowooza nti mu byo, mwe muli obulamu obutaggwaawo. Sso nabyo byennyini binjogerako,
40
era mmwe ne musigala nga temwagala kujja gye ndi, okufuna obulamu.
41
“Sinoonya kusiimibwa bantu.
42
Naye mmwe mbamanyi nga temuliimu kwagala Katonda.
43
Nze najja mu linnya lya Kitange, naye mmwe temunnyaniriza. Omulala bw'ajja ku bubwe, oyo mujja kumwaniriza.
44
Kale muyinza mutya okukkiriza, nga munoonya kutendebwa bantu bannammwe, sso nga temufa ku kutendebwa Katonda Omu yekka?
45
“Temulowooza nti nze ndibawawaabira eri Kitange. Alibawawaabira ye Musa, mmwe gwe mulinamu essuubi.
46
Singa mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza, kubanga yawandiika ebinjogerako.
47
Kale oba nga temukkiriza bye yawandiika, munakkiriza mutya ebigambo byange?”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21