bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 11
John 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 12 →
1
Awo omuntu ayitibwa Laazaro, eyali e Betaniya, n'alwala. Betaniya kye kibuga Mariya ne muganda we Marita mwe baali.
2
Mariya oyo, ye yasiiga Mukama waffe omuzigo ogw'akawoowo ku bigere, n'abisiimuuza enviiri ze, era ye yali mwannyina wa Laazaro omulwadde.
3
Bannyina ba Laazaro abo, ne batumira Yesu nga bagamba nti: “Ssebo, mukwano gwo alwadde.”
4
Kyokka Yesu bwe yawulira, n'agamba nti: “Ekigendereddwa mu bulwadde buno, si kufa, wabula kitiibwa kya Katonda, era Omwana wa Katonda bujja kumuweesa ekitiibwa.”
5
Yesu yali mukwano gwa Laazaro ne Marita era ne Mariya.
6
Bwe yawulira nga Laazaro alwadde, gye yali n'asigalayo ate ennaku endala ssatu.
7
Oluvannyuma n'agamba abayigirizwa be nti: “Tuddeyo mu Buyudaaya.”
8
Abayigirizwa ne bamugamba nti: “Muyigiriza, Abayudaaya baali baagala kukukuba mayinja, ate eyo gy'oyagala okudda?”
9
Yesu n'addamu nti: “Essaawa ez'emisana teziba kkumi na bbiri? Omuntu bw'atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba ekitangaala ky'ensi eno.
10
Naye omuntu bw'atambula ekiro, yeesittala, kubanga taba na kitangaala.”
11
Bwe yamala okwogera ebyo, n'abagamba nti: “Mukwano gwaffe Laazaro yeebase, wabula ŋŋenda okumuzuukusa.”
12
Abayigirizwa ne bamugamba nti: “Mukama waffe, oba yeebase, anaazuukuka.”
13
Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaro, naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo.
14
Awo Yesu n'alyoka ababuulira lwatu nti:
15
“Laazaro afudde. Ku lw'obulungi bwammwe nsanyuse kubanga saaliyo, n'olwekyo mujja kukkiriza. Kale tugende gy'ali.”
16
Awo Tomasi ayitibwa Omulongo, n'agamba bayigirizwa banne nti: “Naffe ka tugende tufiire wamu naye.”
17
Yesu bwe yatuukayo, n'asanga nga Laazaro amaze ennaku nnya mu ntaana.
18
Betaniya kyali kumpi ne Yerusaalemu, kilomita nga ssatu.
19
Abayudaaya bangi, baali bazze ewa Marita ne Mariya okubakubagiza olw'okufiirwa mwannyinaabwe.
20
Marita bwe yawulira nti Yesu ajja, n'agenda okumusisinkana, Mariya ye ng'ali mu nnyumba.
21
Marita n'agamba Yesu nti: “Ssebo, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde!
22
Naye mmanyi nti ne kaakano, byonna Katonda by'onoomusaba, anaabikuwa.”
23
Yesu n'amugamba nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.”
24
Marita n'amugamba nti: “Mmanyi nti alizuukira mu kuzuukira okw'olunaku olw'enkomerero.”
25
Yesu n'amugamba nti: “Nze kuzuukira, era nze bulamu. Anzikiriza, ne bw'afa, aliba mulamu.
26
Era buli mulamu anzikiriza, talifa emirembe n'emirembe. Ekyo okikkiriza?”
27
Ye n'amuddamu nti: “Weewaawo Ssebo, nze nzikiriza nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda, ow'okujja mu nsi.”
28
Marita bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda n'ayita muganda we Mariya, n'amugamba mu kyama nti: “Omuyigiriza azze, akuyita.”
29
Mariya bwe yawulira, n'asituka mangu, n'agenda okusisinkana Yesu.
30
Yesu yali tannatuuka mu kibuga, ng'akyali mu kifo Marita kye yamusangamu.
31
Awo Abayudaaya abaali ne Mariya mu nnyumba nga bamukubagiza, bwe baalaba ng'asituse mangu n'afuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti alaga ku ntaana, akaabire eyo.
32
Awo Mariya bwe yatuuka awali Yesu, n'amulaba, n'agwa kumpi n'ebigere bye, n'amugamba nti: “Ssebo, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde!”
33
Yesu bwe yalaba Mariya ng'akaaba, n'Abayudaaya abazze naye nabo nga bakaaba, n'anyolwa mu mutima, n'ajjula obuyinike,
34
n'ababuuza nti: “Mwamuteeka wa?” Ne bamugamba nti: “Ssebo, jjangu olabeyo.”
35
Yesu n'akaaba amaziga.
36
Awo Abayudaaya ne bagamba nti: “Mulabe nga bw'abadde amwagala!”
37
Naye abamu ku bo ne bagamba nti: “Ono eyazibula amaaso ga muzibe, teyandiyinzizza kubaako ky'akola, Laazaro n'atafa?”
38
Awo Yesu n'addamu okujjula obuyinike, n'atuuka ku ntaana. Yali mpuku, ng'eggaliddwawo n'ejjinja.
39
Yesu n'agamba nti: “Muggyeewo ejjinja.” Marita mwannyina w'omufu, n'agamba Yesu nti: “Ssebo, kaakano awunya, kubanga amaze ennaku nnya!”
40
Yesu n'amugamba nti: “Sikugambye nti bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?”
41
Ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'agamba nti: “Kitange, nkwebaza kubanga ompulidde.
42
Nze mmanyi ng'ompulira bulijjo, naye njogedde olw'abantu abali wano, balyoke bakkirize nga ggwe wantuma.”
43
Bwe yamala okwogera ebyo, n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Laazaro, fuluma ojje!”
44
Eyali afudde n'avaayo ng'amagulu ge n'emikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga n'ekiremba kisibiddwa ku maaso ge. Yesu n'abagamba nti: “Mumusumulule, mumuleke agende.”
45
Awo bangi mu Bayudaaya abaali bazze ewa Mariya, bwe baalaba Yesu ky'akoze, ne bamukkiriza.
46
Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafarisaayo, ne bababuulira Yesu ky'akoze.
47
Awo bakabona abakulu n'Abafarisaayo ne batuuza olukiiko, ne bagamba nti: “Tukole ki? Omuntu ono akola ebyamagero bingi.
48
Bwe tumuleka bwe tutyo, bonna bajja kumukkiriza, n'Abarooma balijja ne bazikiriza ekibuga kyaffe n'eggwanga lyaffe!”
49
Awo omu ku bo, Kayaafa, eyali Ssaabakabona mu mwaka ogwo, n'abagamba nti: “Mmwe temuliiko kye mumanyi.
50
Temulaba nti kibagasa omuntu omu okufiirira abantu, eggwanga lyonna lireme kuzikirira?”
51
Ekyo teyakyogera ku bubwe, wabula nga bwe yali Ssaabakabona omwaka ogwo, yalanga nti Yesu agenda okufiirira eggwanga eryo,
52
sso si ggwanga eryo lyokka, naye n'okukuŋŋaanya abaana ba Katonda abaasaasaana.
53
Okuva ku lunaku olwo, ne bakola olukwe okutta Yesu.
54
N'olwekyo Yesu n'atatambula mu Buyudaaya mu lwatu, wabula n'avaayo, n'alaga mu kifo ekiriraanye eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efurayimu, n'abeera eyo n'abayigirizwa.
55
Embaga y'Abayudaaya Ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, bangi ne bava mu byalo, ne bambuka e Yerusaalemu, okukola omukolo ogw'okwetukuza, ng'Embaga tennatuuka.
56
Ne banoonya Yesu. Era nga bakuŋŋaanidde mu Ssinzizo, ne beebuuzaganya nti: “Mulowooza mutya? Tajje ku Mbaga?”
57
Bakabona abakulu n'Abafarisaayo baali balagidde nti bwe wabaawo amanyi Yesu w'ali, ababuulire, balyoke bamukwate.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21