bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 9
John 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 10 →
1
Yesu bwe yali ng'ayitawo, n'alaba omuntu eyazaalibwa nga muzibe.
2
Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Muyigiriza, ono okuzaalibwa nga muzibe, ani yayonoona, ono yennyini, oba bazadde be?”
3
Yesu n'addamu nti: “Ono teyayonoona, wadde abazadde be, wabula yazaalibwa nga muzibe, eby'amaanyi Katonda by'akola biryoke biragibwe ku ye.
4
Ffe tuteekwa okukola emirimu gy'oyo eyantuma, ng'obudde bukyali misana. Ekiro kijja, omuntu ky'atayinza kukoleramu.
5
Nga nkyali ku nsi, ndi kitangaala ekigyakira.”
6
Bwe yamala okwogera ebyo, n'awanda amalusu ku ttaka, n'atabula ettaka n'amalusu, n'asiiga muzibe ettaka eryo ku maaso,
7
n'amugamba nti: “Genda onaabe mu kidiba ky'e Silowaamu” (ekitegeeza “Eyatumibwa”). Awo omuntu oyo n'agenda, n'anaaba, n'adda ng'alaba.
8
Ab'omuliraano n'abalala abaamulabanga ng'asabiriza, ne bagamba nti: “Ono si ye wuuyo eyatuulanga n'asabiriza?”
9
Abamu ne bagamba nti: “Ye wuuyo.” Abalala ne bagamba nti: “Nedda, amufaanana bufaananyi.” Ye n'agamba nti: “Ye nze.”
10
Ne bamubuuza nti: “Kale amaaso go gaazibuka gatya?”
11
Ye n'addamu nti: “Omuntu ayitibwa Yesu yatabula ettaka, n'alinsiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti: ‘Genda ku Silowaamu onaabe.’ Ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne nsobola okulaba.”
12
Ne bamubuuza nti: “Ali ludda wa oyo?” N'addamu nti: “Simanyi.”
13
Awo eyali muzibe ne bamutwala eri Abafarisaayo.
14
Olunaku olwo, Yesu lwe yatabulirako ettaka, n'azibula omuntu oyo amaaso, lwali lwa Sabbaato.
15
Awo Abafarisaayo nabo ne babuuza omuntu oyo nga bwe yazibuka amaaso. N'abagamba nti: “Yansiiga ttaka ku maaso, ne nnaaba, ne nsobola okulaba.”
16
Abafarisaayo abamu ne bagamba nti: “Omuntu oyo eyakola ekyo tayinza kuba nga yava wa Katonda, kubanga takwata tteeka lya Sabbaato.” Naye abalala ne bagamba nti: “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola ebyewuunyo ebyenkanidde awo?” Ne wabaawo obutakkiriziganya mu bo.
17
Awo eyali muzibe ne baddamu okumubuuza nti: “Oyo nga bwe yakuzibula amaaso, ggwe omuyita otya?” Ye n'addamu nti: “Mulanzi.”
18
Naye Abayudaaya ne batakkiriza ng'omuntu oyo yali muzibe, oluvannyuma n'asobola okulaba, okutuusa lwe baayita bazadde be,
19
ne bababuuza nti: “Ono ye mwana wammwe, gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe? Kale kaakano kiki ekimusobozesezza okulaba?”
20
Abazadde be ne baddamu nti: “Tumanyi ng'ono ye mwana waffe, era nga yazaalibwa nga muzibe.
21
Naye tetumanyi kimusobozesezza kulaba kaakano, era eyamuzibula amaaso, ffe tetumumanyi. Mumubuuze, muntu mukulu, aneeyogerera.”
22
Bazadde be baayogera bwe batyo lwa kutya Bayudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamaze okukkaanya nti buli muntu ayatula nti Yesu ye Kristo, wa kugobebwa mu kkuŋŋaaniro.
23
Bazadde be kyebaava bagamba nti: “Muntu mukulu, mubuuze ye.”
24
Omulundi ogwokubiri ne bayita oyo eyali muzibe, ne bamugamba nti: “Gulumiza Katonda, oyogere amazima. Ffe tumanyi ng'omuntu oyo mwonoonyi.”
25
Ye n'addamu nti: “Oba mwonoonyi, simanyi. Kye mmanyi, nali muzibe, naye kaakano ndaba.”
26
Ne bamubuuza nti: “Kiki kye yakukolako? Yakuzibula atya amaaso?”
27
N'abaddamu nti: “Nababuulidde dda ne mutawuliriza. Kiki ate ekibaagaza okuwulira omulundi ogwokubiri? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?”
28
Ne bamuvuma, era ne bagamba nti: “Ggwe muyigirizwa we. Naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa.
29
Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa. Naye oyo tetumanyi gy'ava.”
30
Omuntu ono n'abaddamu nti: “Kino kitalo, mmwe obutamanya gy'ava, sso nga yanzibula amaaso!
31
Tumanyi nga Katonda aboonoonyi tabawulira, wabula awulira abo abamussaamu ekitiibwa, era abakola by'ayagala.
32
Okuva edda n'edda tewawulirwanga yali azibudde maaso ga muntu yazaalibwa nga muzibe.
33
Omuntu oyo singa teyava wa Katonda, teyandiyinzizza kukola kintu na kimu.”
34
Ne bamugamba nti: “Ggwe eyazaalibwa era eyakulira mu bibi, ggwe oyigiriza ffe?” Ne bamusindiikiriza ebweru.
35
Yesu n'awulira nga bamusindiikirizza ebweru. Bwe yamusanga n'amugamba nti: “Ggwe okkiriza Omwana w'Omuntu?”
36
Ye n'amuddamu nti: “Ssebo, ye ani mmukkirize?”
37
Yesu n'amugamba nti: “Omulabye! Ye wuuyo ayogera naawe.”
38
Ye n'agamba nti: “Mukama wange, nzikiriza.” N'asinza Yesu.
39
Yesu n'agamba nti: “Najja ku nsi okusala omusango, ababadde batalaba balabe, ate ababadde balaba, babe bamuzibe.”
40
Abafarisaayo abamu abaali awo ne Yesu, ne bawulira ng'ayogera bw'atyo, ne bamubuuza nti: “Kwe kugamba naffe tuli bamuzibe?”
41
Yesu n'abagamba nti: “Singa mubadde bamuzibe, temwandibadde na kibi. Naye kaakano nga bwe mugamba nti: ‘Tulaba’, ekibi kyammwe kibasigalako.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21