bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 6
John 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 7 →
1
Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'alaga emitala w'ennyanja ey'e Galilaaya, ey'e Tiberiya.
2
Abantu bangi nnyo ne bamugoberera, kubanga baalaba ebyewuunyo bye yakola, mu kuwonya abalwadde.
3
Yesu n'alinnya ku lusozi, n'atuula eyo wamu n'abayigirizwa be.
4
Embaga y'Abayudaaya Ejjuukirirwako Okuyitako, yali kumpi okutuuka.
5
Yesu bwe yasitula amaaso, n'alaba abantu bangi nnyo nga bajja gy'ali, n'agamba Filipo nti: “Tunaagula wa emmere, abantu bano gye banaalya?”
6
Ekyo yakyogera kumugeza, ye ng'amanyi ky'agenda okukola.
7
Filipo n'amuddamu nti: “Emmere egula denaari ebikumi ebibiri teyinza kubabuna, buli muntu okulyako wadde akatono.”
8
Omulala ku bayigirizwa be, Andereya muganda wa Simooni Peetero, n'amugamba nti:
9
“Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya bbaale, n'ebyennyanja bibiri. Naye bino binaagasa ki, ku bantu abangi bwe bati?”
10
Yesu n'agamba nti: “Mutuuze abantu.” Waaliwo essubi lingi mu kifo ekyo. Awo abantu bonna ne batuula. Abasajja baali ng'enkumi ttaano.
11
Awo Yesu n'atoola emigaati, ne yeebaza Katonda, n'agigabira abantu abatudde. Ne ku byennyanja n'akola bw'atyo. Bonna ne bafuna nga bwe baagala.
12
Bwe baamala okukkuta, n'agamba abayigirizwa be nti: “Mukuŋŋaanye obutundutundu obusigaddewo, buleme kwonooneka.”
13
Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri eby'obutundutundu obw'emigaati etaano egya bbaale, obwasigalawo nga bamaze okulya.
14
Abantu bwe baalaba ekyewuunyo Yesu kye yakola, ne bagamba nti: “Ddala ono ye mulanzi alindirirwa okujja mu nsi!”
15
Yesu bwe yategeera nga baali banaatera okujja okumukwata bamufuule kabaka, n'addayo ku lusozi, n'abeera eyo yekka.
16
Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne baserengeta ku nnyanja,
17
ne basaabala mu lyato, ne bawunguka okugenda e Kafarunawumu. Obudde bwali nga buzibye, ate nga ne Yesu tannajja gye bali.
18
Awo omuyaga ne gukunta mungi, ennyanja n'esiikuuka.
19
Bwe baamala okuvugako kilomita nga nnya oba ttaano, ne balaba Yesu ng'atambula ku mazzi, ng'asemberera eryato, ne batya.
20
Ye n'abagamba nti: “Ye Nze, temutya!”
21
Baali baagala okumuyingiza mu lyato, amangwago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.
22
Ku lunaku olwaddirira, abantu bangi abaali basigadde emitala w'ennyanja, ne balaba nga waliwo eryato limu, era ne bamanya nga Yesu yali tasaabadde mu lyato wamu n'abayigirizwa be, wabula abayigirizwa be nga baagenze bokka.
23
Awo amaato amalala ne gava e Tiberiya, ne gagoba okumpi n'ekifo abantu we baaliira emigaati, nga Mukama waffe amaze okwebaza Katonda.
24
Abantu bwe baalaba nga Yesu taliiwo, wadde abayigirizwa be, nabo ne basaabala mu maato, ne bajja e Kafarunawumu nga bamunoonya.
25
Abantu bwe baasanga Yesu emitala w'ennyanja, ne bamubuuza nti: “Muyigiriza, wazze ddi wano?”
26
Yesu n'abaddamu nti: “Mazima ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba ebyewuunyo bye nkola, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta.
27
Muleme kuteganira mmere eggwaawo, naye muteganire emmere ey'olubeerera, ewa abantu obulamu obutaggwaawo, Omwana w'Omuntu gy'alibawa. Katonda Kitaawe yamussaako akabonero akalaga obuyinza bwe.”
28
Awo ne bamubuuza nti: “Tukole ki okutuukiriza ebyo Katonda by'ayagala?”
29
Yesu n'abaddamu nti: “Katonda ky'ayagala mukole, kwe kukkiriza oyo gwe yatuma.”
30
Ne bamugamba nti: “Kyewuunyo ki ggwe ky'okola, tukirabe tulyoke tukkirize? Kiruwa ky'okola?
31
Bajjajjaffe baalya mannu mu ddungu, nga bwe kyawandiikibwa nti: ‘Yabawa omugaati oguva mu ggulu balye.’ ”
32
Awo Yesu n'abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa omugaati oguva mu ggulu, wabula Kitange ye abawa omugaati ddala oguva mu ggulu,
33
kubanga omugaati Katonda gw'agaba, gwe gwo oguva mu ggulu, era oguleetera abantu obulamu.”
34
Awo bo ne bamugamba nti: “Ssebo, tuwenga bulijjo omugaati ogwo.”
35
Yesu n'abagamba nti: “Nze mugaati ogw'obulamu. Ajja gye ndi talumwa njala. Anzikiriza talumwa nnyonta n'akatono.
36
“Nabagamba dda nti mundabye ne mutakkiriza.
37
Buli muntu Kitange gw'ampa, alijja we ndi, era buli ajja gye ndi, sirimugobera bweru n'akatono,
38
kubanga nava mu ggulu okukola eyantuma ky'ayagala, sso si nze kye njagala.
39
Kino eyantuma ky'ayagala, ku bonna be yampa, nneme kufiirwako n'omu, wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw'enkomerero.
40
Kitange ky'ayagala kye kino: buli alaba nze Omwana we n'anzikiriza, abe n'obulamu obutaggwaawo, era ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero.”
41
Awo Abayudaaya ne beemulugunyiza Yesu kubanga yagamba nti: “Nze mugaati ogwava mu ggulu.”
42
Ne bagamba nti: “Ono si ye Yesu omwana wa Yosefu? Kitaawe ne nnyina tubamanyi. Kale ayinza atya okugamba nti: ‘Nava mu ggulu?’ ”
43
Yesu n'abaddamu nti: “Muleke kwemulugunya.
44
Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma ye amusise, ate nze ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero.
45
Kyawandiikibwa mu kitabo ky'abalanzi nti: ‘Bonna Katonda alibayigiriza.’ Buli eyawulira Kitange n'ayiga, ajja gye ndi.
46
Si kwe kugamba nti waliwo eyali alabye Kitange. Oyo eyava ewa Katonda ye yekka eyalaba Kitange.
47
“Mazima ddala mbagamba nti oyo akkiriza, aba n'obulamu obutaggwaawo.
48
Nze mugaati ogw'obulamu.
49
Bajjajjammwe baalya mannu mu ddungu, ne bafa.
50
Guno gwe mugaati oguva mu ggulu, buli agulyako aleme kufa.
51
Nze mugaati oguwa obulamu ogwava mu ggulu. Omuntu bw'alya ku mugaati guno, aliba mulamu emirembe n'emirembe. Era omugaati gwe ndigaba okuwa abantu obulamu, gwe mubiri gwange.”
52
Awo Abayudaaya ne bawakana bokka na bokka nga bagamba nti: “Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?”
53
Yesu n'abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, era bwe mutanywa musaayi gwe, mu mmwe temuba na bulamu.
54
Oyo alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, aba n'obulamu obutaggwaawo. Era ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero.
55
Omubiri gwange kyakulya ddala, n'omusaayi gwange kyakunywa ddala.
56
“Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, aba mu nze, nange ne mba mu ye.
57
Nga nze eyatumibwa Kitange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange, n'oyo andya aliba mulamu ku bwange.
58
Guno gwe mugaati ogwava mu ggulu. Teguli ng'ogwo bajjajjammwe gwe baalya ne bafa. Alya omugaati guno, aliba mulamu emirembe n'emirembe.”
59
Ebyo Yesu yabyogera ng'ayigiriza mu kuŋŋaaniro e Kafarunawumu.
60
Awo bangi ku bayigirizwa be bwe baawulira, ne bagamba nti: “Ekigambo ekyo nga kizibu! Ani ayinza okukiwuliriza?”
61
Yesu bwe yategeera ng'abayigirizwa be beemulugunya olw'ekyo, n'abagamba nti: “Ekyo kibeesittaza?
62
Kale ate bwe muliraba Omwana w'Omuntu ng'alinnya gye yali olubereberye?
63
Omwoyo gwe guwa obulamu, omubiri teguliiko kye gugasa. Ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo era bwe bulamu.
64
Naye waliwo ku mmwe abatakkiriza.” (Okuviira ddala mu kusooka, Yesu yamanya abo abatakkiriza, era yamanya agenda okumulyamu olukwe).
65
Awo n'agamba nti: “Kyenvudde mbagamba nti: ‘Tewali ayinza kujja gye ndi, wabula nga Kitange ye amusobozesezza okujja.’ ”
66
Okuva olwo bangi ku bayigirizwa be ne bamuvaako, ne bataddayo kuyitanga naye.
67
Awo Yesu n'abuuza abayigirizwa be ekkumi n'ababiri nti: “Nammwe mwagala kugenda?”
68
Simooni Peetero n'amuddamu nti: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe olina ebigambo eby'obulamu obutaggwaawo.
69
Ffe tukkiriza, era tumanyi nga ggwe Mutuukirivu wa Katonda.”
70
Yesu n'abaddamu nti: “Si nze nabalonda mmwe ekkumi n'ababiri? Naye omu ku mmwe Sitaani!”
71
Yayogera ku Yuda, omwana wa Simooni Yisikaryoti, kubanga ye yali agenda okumulyamu olukwe, newaakubadde nga yali omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21