bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 10
John 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 11 →
1
Yesu n'agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi.
2
Oyo ayita mu mulyango ye musumba w'endiga.
3
Omuggazi amuggulirawo, n'endiga ziwulira eddoboozi lye. Endiga ze aziyita amannya, n'azifulumya ebweru.
4
Bw'amala okuzifulumya, azikulembera, ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye.
5
Omulala tezimugoberera, wabula zidduka mudduke, kubanga tezimanyi ddoboozi lye.”
6
Yesu yabagerera olugero olwo, naye bo ne batategeera ky'agambye.
7
Awo Yesu n'abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti nze mulyango gw'endiga.
8
Abalala bonna abansooka okujja babbi era banyazi, naye endiga tezaabawuliriza.
9
Nze mulyango. Buli ayingirira mu Nze aliba bulungi. Aliyingira, n'afuluma, n'aliisibwa mu ddundiro.
10
Omubbi ajjirira kubba, na kutta, na kuzikiriza. Nze najja, abantu balyoke babe n'obulamu, era babe nabwo nga bujjuvu.
11
“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga.
12
Oyo alundira empeera, atali musumba era atali nnannyini ndiga, bw'alaba omusege nga gujja, endiga azireka n'adduka, omusege ne guzirumba, ne guzisaasaanya.
13
Adduka, kubanga alundira mpeera. Endiga tazifaako.
14
“Nze musumba omulungi. Ntegeera endiga zange, era n'endiga zange zintegeera.
15
Nga Kitange bw'antegeera, era nange bwe ntyo bwe ntegeera Kitange, era mpaayo obulamu bwange okukuuma endiga zange.
16
Nnina n'endiga endala ezitali za mu kisibo kino. Nteekwa nazo okuzireeta. Ziriwulira eddoboozi lyange, era waliba ekisibo kimu n'omusumba omu.
17
“Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize.
18
Tewali abunzigyako, nze mbuwaayo nzennyini. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddiza. Ekyo Kitange kye yandagira okukola.”
19
Empaka ne zisituka nate mu Bayudaaya olw'ebigambo ebyo.
20
Bangi ku bo ne bagamba nti: “Aliko omwoyo omubi, era alaluse. Lwaki mumuwuliriza?”
21
Abalala ne bagamba nti: “Ebigambo bino si bya muntu aliko mwoyo mubi. Omwoyo omubi guyinza okuzibula amaaso ga muzibe?”
22
Mu Yerusaalemu, yali mbaga ey'Okutukuza Essinzizo, era bwali budde bwa butiti.
23
Yesu yali atambulatambula mu kisasi kya Solomooni mu Ssinzizo.
24
Awo Abayudaaya ne bamwetooloola, ne bamugamba nti: “Olituusa ddi okutuleka mu kubuusabuusa? Tubuulire oba nga ggwe Kristo.”
25
Yesu n'abaddamu nti: “Nababuulira dda, naye temukkiriza. Ebyo bye nkola mu buyinza bwa Kitange, bye binjogerera.
26
Naye mmwe temukkiriza, kubanga temuli ndiga zange.
27
Endiga zange ziwuliriza eddoboozi lyange. Nze nzitegeera, era zingoberera.
28
Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezirizikirira emirembe n'emirembe. Tewali n'omu ayinza kuzinnyagako.
29
Kitange eyazimpa, ye asinga bonna obuyinza, era tewali ayinza kuzimunyagako.
30
Nze ne Kitange tuli omu.”
31
Awo Abayudaaya ne bakwata amayinja okukuba Yesu.
32
Ye n'abagamba nti: “Mwalaba ebirungi bingi Kitange bye yansobozesa okukola. Kiruwa ku byo kye musinziirako okunkuba amayinja?”
33
Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Tetukukuba mayinja lwa birungi by'okola, naye lwa kuvvoola Katonda, era kubanga ggwe omuntu obuntu, weefuula Katonda.”
34
Yesu n'abaddamu nti: “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti Katonda yagamba nti: ‘Muli balubaale?’
35
Katonda, abo abaaweebwa ekigambo kye, yabayita balubaale, ate ng'ebyawandiikibwa bisigala nga bya mazima bulijjo.
36
Nze, Kitange yantukuza, n'antuma mu nsi. Kale lwaki mugamba nti nzivoola Katonda, kubanga ŋŋambye nti ndi Mwana wa Katonda?
37
Oba nga sikola ebyo Kitange by'ayagala nkole, temunzikiriza.
38
Naye oba nga mbikola, newaakubadde Nze temunzikiriza, waakiri mukkirize ebyo bye nkola, mulyoke mumanye era mutegeere nga Kitange ali mu Nze, nga nange ndi mu Kitange.”
39
Ne bagezaako nate okumukwata, kyokka n'abasumattuka.
40
N'agenda nate emitala w'Omugga Yorudaani, mu kifo Yowanne gye yali olubereberye ng'abatiza. N'abeera eyo.
41
Abantu bangi ne bajja gy'ali, ne bagamba nti: “Yowanne teyakola byewuunyo, kyokka byonna Yowanne bye yayogera ku ono bya mazima.”
42
Bangi abaali eyo ne bamukkiriza
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21