bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 17
John 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 18 →
1
Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'ayimusa amaaso eri eggulu, n'agamba nti: “Kitange, ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, Omwana wo alyoke akugulumize,
2
kubanga wamuwa obuyinza ku bantu bonna, alyoke abawe obulamu obutaggwaawo.
3
Obulamu obutaggwaawo bwe buno, abantu bonna okukumanya ggwe Katonda omu wekka ow'amazima, n'okumanya Yesu Kristo, gwe watuma.
4
Nze nkugulumizza ku nsi. Mmalirizza omulimu gwe wampa okukola.
5
Kitange, kaakano mpa ekitiibwa mu maaso go, kye nalina ng'ensi tennabaawo.
6
“Nkumanyisizza mu bantu be wampa ng'obaggya mu nsi. Baali babo, n'obampa. Bakutte ekigambo kyo.
7
Kaakano bamanyi nga byonna bye wampa byava gy'oli,
8
kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde, ne babikkiriza, ne bamanyira ddala nga nava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma.
9
“Nze mbasabira abo. Sisabira nsi, wabula abo be wampa, kubanga babo.
10
Byonna bye nnina bibyo, n'ebibyo byange, era ngulumizibwa mu bo.
11
Kaakano nzija gy'oli. Sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi. Kitange omutuukirivu, bakuumenga mu buyinza bwo bwe wampa, babeerenga bumu nga ffe.
12
“Bwe nali nabo, nabakuuma mu buyinza bwo bwe wampa, ne kutabula n'omu ku bo, wabula oyo eyali ateekwa okubula, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire.
13
Naye kaakano nzija gy'oli, era ebyo mbyogerera mu nsi, essanyu lyange liryoke libajjule.
14
“Nabawa ekigambo kyo, ensi n'ebakyawa, kubanga si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.
15
Sikusaba kubaggya mu nsi, wabula bakuumenga, obawonye Omubi.
16
Si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi.
17
Batukuze mu mazima. Ekigambo kyo ge mazima.
18
Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe mbatuma mu nsi.
19
Nze nneewaayo gy'oli ku lwabwe, nabo bennyini balyoke beeweereyo ddala gy'oli.
20
“Sisabira bano bokka, naye n'abo abanzikiriza olw'obubaka bwa bano.
21
Bonna babeerenga bumu. Kitange, nga ggwe bw'oli mu nze, nange bwe ndi mu ggwe, nabo babeerenga mu ffe, ensi eryoke ekkirize nga ggwe wantuma.
22
Era ekitiibwa kye wampa nkibawadde, balyoke babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu,
23
nze mu bo, naawe mu nze, balyoke babeerere ddala bumu, ensi etegeere nga ggwe wantuma, era ng'obaagala nga bw'onjagala.
24
“Kitange, be wampa, njagala we ndi, nabo we baba babeeranga, balabe ekitiibwa kyange kye wampa. Wanjagala ng'ensi tennatondebwa.
25
Kitange omutuukirivu, ensi teyakumanya, naye nze nkumanyi, na bano bamanyi nga ggwe wantuma.
26
Era nabamanyisa erinnya lyo, era nja kwongera okulimanyisa, okwagala kwe wanjagala, kubeere mu bo, nange mbeere mu bo.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21