bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 20
John 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 21 →
1
Mu makya g'olunaku olusooka mu wiiki, Mariya Magudaleena n'alaga ku ntaana, ng'obudde tebunnalaba bulungi, n'alaba ejjinja nga liggyiddwa ku mulyango, gw'entaana.
2
N'olwekyo n'adduka, n'agenda eri Simooni Peetero, n'eri omuyigirizwa oli omulala, Yesu gwe yayagalanga, n'abagamba nti: “Mukama waffe bamuggyeemu mu ntaana, era tetumanyi gye bamutadde!”
3
Awo Peetero n'omuyigirizwa oli omulala ne bafuluma ne balaga ku ntaana.
4
Bombi baagenda badduka nga bali wamu, wabula omuyigirizwa oli omulala n'asinga Peetero okudduka, n'amusooka ku ntaana.
5
N'akutama, n'alaba engoye enjeru, nga ziteekeddwa awo, kyokka n'atayingira.
6
Olwo ne Simooni Peetero n'atuuka ng'amugoberera. N'ayingira mu ntaana, n'alaba engoye enjeru, nga ziteekeddwa awo.
7
N'alaba n'ekitambaala ekyali ku mutwe gwa Yesu. Kyali tekiteekeddwa wamu na ngoye, wabula kyali kizingiddwa, era nga kiteekeddwa waakyo.
8
Olwo omuyigirizwa oli eyasooka okutuuka ku ntaana, naye n'ayingira. N'alaba, era n'akkiriza.
9
Ddala baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti: Yesu ateekwa okuzuukira.
10
Awo abayigirizwa ne baddayo ewaabwe.
11
Mariya Magudaleena yali ayimiridde wabweru w'entaana, ng'akaaba. Yali akyakaaba, n'akutama n'alingiza mu ntaana,
12
n'alaba bamalayika babiri, nga bali mu ngoye njeru, nga batudde, omu emitwetwe, n'omulala emirannamiro w'ekifo, omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa.
13
Ne bamubuuza nti: “Owange omukyala, okaabira ki?” Ye n'abaddamu nti: “Mukama wange bamuggyeemu, era simanyi gye bamutadde!”
14
Bwe yamala okwogera ebyo, n'akyuka n'atunula emabega, n'alaba Yesu ng'ayimiridde awo, kyokka n'atamanya nti ye Yesu.
15
Yesu n'amubuuza nti: “Owange omukyala, okaabira ki? Onoonya ani?” Mariya n'alowooza nti omuntu oyo, ye mukuumi w'ennimiro, era n'amugamba nti: “Ssebo, oba nga ggwe wamuggyeemu, mbuulira gye wamutadde, ŋŋende mmuggyeyo.”
16
Yesu n'amugamba nti: “Mariya!” Mariya n'akyukira Yesu, n'amugamba mu Lwebureeyi nti: “Rabbooni!” (ekitegeeza nti: “Omuyigiriza”).
17
Yesu n'amugamba nti: “Tonneekwatako, kubanga sinnalinnya mu ggulu eri Kitange. Naye genda eri baganda bange, obategeeze nti: ‘Nninnya mu ggulu eri Kitange era Kitammwe, eri Katonda wange era Katonda wammwe.’ ”
18
Mariya Magudaleena n'agenda, n'abuulira abayigirizwa nti alabye Mukama, era n'abategeeza Mukama by'amugambye.
19
Ku lunaku olwo olusooka mu wiiki, obudde bwe bwali buwungedde, abayigirizwa we baali, enzigi zaali nsibe, olw'okutya Abayudaaya. Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti: “Emirembe gibe na mmwe.”
20
Bwe yamala okwogera ebyo, n'abalaga ebibatu bye n'embiriizi ze. Abayigirizwa ne basanyuka okulaba Mukama waabwe.
21
N'abagamba nate nti: “Emirembe gibe na mmwe. Nga Kitange bwe yantuma, nange bwe mbatuma mmwe.”
22
Bwe yamala okwogera ebyo, n'abafuuwako omukka, n'abagamba nti: “Mufune Mwoyo Mutuukirivu,
23
ebibi by'abantu bye munaasonyiwanga, nga bisonyiyiddwa. Eby'abo bye munaagaananga okusonyiwa, abo nga tebibasonyiyiddwa.”
24
Tomasi, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, ayitibwa Didimo (Omulongo), teyali na banne, Yesu bwe yajja.
25
Abayigirizwa banne ne bamugamba nti: “Tulabye Mukama waffe.” Kyokka ye n'abagamba nti: “Okuggyako nga ndabye enkovu ez'emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo, era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.”
26
Bwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu ng'era bali mu nnyumba, Tomasi naye ng'ali nabo, Yesu n'ajja, enzigi nga nsibe, n'ayimirira wakati mu bo, n'agamba nti: “Emirembe gibe na mmwe.”
27
Awo n'agamba Tomasi nti: “Leeta wano olunwe lwo, era laba ebibatu byange. Era leeta ekibatu kyo, okiteeke mu mbiriizi zange. Leka kuba atakkiriza, naye akkiriza.”
28
Tomasi n'amuddamu nti: “Mukama wange, era Katonda wange!”
29
Yesu n'amugamba nti: “Olw'okuba ng'ondabye, kyovudde okkiriza? Ba mukisa abakkiriza nga tebalabye.”
30
Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng'abayigirizwa be balaba, ebitawandiikiddwa mu kitabo kino.
31
Naye bino biwandiikiddwa, mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda, era olw'okukkiriza okwo, mulyoke mufune obulamu mu ye.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21