bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 13
John 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 14 →
1
Lwali lunaku olukulembera Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Yesu yamanya ng'ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno, agende eri Kitaawe. Yayagala ababe abaali mu nsi, era yabaagala okutuusiza ddala ku nkomerero.
2
Baali balya kyaggulo. Sitaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda omwana wa Simooni Yisikaryoti, ekirowoozo eky'okulyamu Yesu olukwe.
3
Yesu yamanya nga Kitaawe amuwadde obuyinza obujjuvu. Era yamanya nga yava wa Katonda, ate ng'adda wa Katonda.
4
Awo n'ava we yali atudde ng'alya, ne yeeggyako omunagiro gwe, n'akwata ekiremba, ne yeesiba ekimyu.
5
N'ateeka amazzi mu bbenseni, n'atandika okunaaza abayigirizwa ebigere, n'okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye.
6
Awo n'atuuka ku Simooni Peetero, Peetero n'amugamba nti: “Mukama wange, ggwe onaaza nze ebigere?”
7
Yesu n'amuddamu nti: “Kye nkola, ggwe kaakano tokitegeera, naye olikitegeera oluvannyuma.”
8
Peetero n'amugamba nti: “Tolinnaaza bigere mulundi na gumu!” Yesu n'amuddamu nti: “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.”
9
Simooni Peetero n'amugamba nti: “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka, naye n'emikono n'omutwe!”
10
Yesu n'amugamba nti: “Anaabye omubiri, aba mulongoofu yenna, era teyeetaaga kunaaba, okuggyako okunaaba ebigere. Nammwe muli balongoofu, naye si mwenna.”
11
Kyeyava agamba nti: “Muli balongoofu, naye si mwenna,” kubanga yamanya oyo eyali agenda okumulyamu olukwe.
12
Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere, ne yezzaako omunagiro gwe, n'addayo n'atuula, n'abagamba nti: “Kye mbakoze mukitegedde?
13
Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe. Mwogera kituufu, kubanga ddala bwe ndi.
14
Kale oba nga nze Mukama wammwe, era Omuyigiriza wammwe mbanaazizza ebigere, nammwe kibagwanidde buli omu okunaazanga munne ebigere,
15
kubanga mbawadde ekyokulabirako. Nga bwe nkoze ku mmwe, nammwe bwe mubanga mukola.
16
Mazima ddala mbagamba nti omuddu takira mukama we, n'omutume tasinga yamutuma.
17
Oba nga ebyo mubimanyi, muli ba mukisa bwe mubituukiriza.
18
“Soogera ku mmwe mwenna. Nze mmanyi be nalondamu. Naye ekyawandiikibwa kiteekwa okutuukirira nti: ‘Alya ku mmere yange, anneefuukidde.’
19
Kino nkibabuulira kaakano nga tekinnabaawo, bwe kinaamala okubaawo, mulyoke mukkirize nti Ye Nze.
20
Mazima ddala mbagamba nti ayaniriza buli gwe ntuma, aba ayanirizza nze, ate ayaniriza nze, aba ayanirizza oli eyantuma.”
21
Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'anyolwa mu mwoyo, n'ayatula, n'agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.”
22
Abayigirizwa ne batunulaganako, nga tebamanyi gw'ayogerako.
23
Omu ku bayigirizwa, Yesu gwe yayagalanga, yali agalamidde ng'aliraanye ekifuba kya Yesu.
24
Simooni Peetero n'amuwenya, n'amugamba nti: “Tubuulire gw'ayogerako.”
25
Ye bwe yaddayo okugalamira ng'aliraanye ekifuba kya Yesu, n'amubuuza nti: “Mukama wange, gw'oyogerako ye ani?”
26
Yesu n'addamu nti: “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa, nga ye wuuyo.” Awo n'akwata ekitole, n'akikoza, n'akiwa Yuda, omwana wa Simooni Yisikaryoti.
27
Yuda bwe yamala okufuna ekitole ekyo, Sitaani n'amuyingiramu. Awo Yesu n'amugamba nti: “Ky'okola, kikole mangu!”
28
Ku baali balya, tewali n'omu yategeera kyeyava amugamba bw'atyo.
29
Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yali atereka ensawo, Yesu amugambye nti: “Genda ogule bye twetaaga ku Mbaga”, oba nti: “Baako ky'ogabira abaavu.”
30
Yuda bwe yamala okufuna ekitole, amangwago n'afuluma ebweru. Obudde bwali bwa kiro.
31
Yuda bwe yamala okufuluma, Yesu n'agamba nti: “Kaakano Omwana w'Omuntu agulumiziddwa, ne Katonda agulumiziddwa mu ye.
32
Era oba nga Katonda agulumiziddwa mu ye, ne Katonda anaagulumiza Omwana w'Omuntu mu ye yennyini, era anaamugulumiza amangwago.
33
Baana bange, akaseera katono ke nkyali awamu nammwe. Mulinnoonya, naye nga bwe nagamba Abayudaaya nti: ‘Nze gye ŋŋenda, mmwe temuyinza kujjayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.
34
“Mbawa ekiragiro ekiggya, mwagalanenga. Nga nze bwe nabaagala mmwe, nammwe bwe muba mwagalananga.
35
Bwe munaayagalananga, bonna kwe banaategeereranga, nga muli bayigirizwa bange.”
36
Simooni Peetero n'amubuuza nti: “Mukama wange, ogenda wa?” Yesu n'addamu nti: “Gye ŋŋenda, toyinza kungoberera kaakano, naye olingoberera gye bujja.”
37
Peetero n'amubuuza nti: “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.”
38
Yesu n'addamu nti: “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Mazima ddala nkugamba nti enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21