bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 2
John 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 3 →
1
Bwe waayitawo ennaku bbiri, ne wabaawo embaga ey'obugole mu Kaana eky'e Galilaaya. Nnyina Yesu yaliyo.
2
Yesu naye n'ayitibwa ku mbaga, awamu n'abayigirizwa be.
3
Omwenge ogw'emizabbibu bwe gwaggwaawo, nnyina n'amugamba nti: “Tebakyalina mwenge ogw'emizabbibu.”
4
Yesu n'amugamba nti: “Maama, ndeka! Ekiseera kyange tekinnatuuka”
5
Nnyina n'agamba abaweereza nti: “Kyonna ky'anaabagamba mukikole.”
6
Waaliwo amatogero mukaaga ag'amayinja, agaateekebwawo, olw'omukolo gw'Abayudaaya ogw'okwetukuza, buli limu nga livaamu lita kikumi oba kikumi mu ataano.
7
Yesu n'abagamba nti: “Amatogero mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuliza ddala okutuuka ku migo.
8
Awo n'abagamba nti: “Kaakano musene, mutwalire omugabuzi w'embaga.” Ne bamutwalira.
9
Omugabuzi w'embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse omwenge ogw'emizabbibu, n'atamanya gye guvudde, sso abaweereza abaasena amazzi, bo nga bamanyi. N'ayita awasizza omugole, n'amugamba nti:
10
“Buli muntu asooka kugabula mwenge ogw'emizabbibu mulungi, abantu bwe bamala okukkuta, n'aleeta ogutali mulungi. Ggwe waterese omwenge ogw'emizabbibu omulungi okutuusa kaakano!”
11
Mu byewuunyo Yesu bye yakola, kino kye kyasooka. Yakikolera mu Kaana eky'e Galilaaya, n'alaga ekitiibwa kye, abayigirizwa be ne bamukkiriza.
12
Ebyo bwe byaggwa, Yesu ne baganda be n'abayigirizwa be, era ne nnyina, ne baserengeta e Kafarunawumu, ne bamalayo ennaku ntonotono.
13
Embaga y'Abayudaaya Ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, Yesu n'ayambuka e Yerusaalemu.
14
Mu Ssinzizo n'asangamu abatunda ente n'endiga n'enjiibwa, era n'abo abawaanyisa ensimbi.
15
N'akwata emiguwa, n'agikolamu obuswanyu, n'abagoba bave mu Ssinzizo, era n'agobamu endiga n'ente. Era n'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi, ensimbi zaabwe n'aziyiwa.
16
N'agamba abaali batunda enjiibwa nti: “Bino mubiggye wano. Ennyumba ya Kitange muleme kugifuula ya kusuubuliramu.”
17
Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti: “Okwagala ennyumba yo, ayi Mukama, kulindya.”
18
Awo Abayudaaya ne bamugamba nti: “Kyewuunyo ki ky'okola okutulaga nti olina obuyinza okukola bino?”
19
Yesu n'abaddamu nti: “Mumenyeewo Essinzizo lino, nze ndirizimbira ennaku ssatu.”
20
Awo Abayudaaya ne bagamba nti: “Essinzizo lino lyazimbirwa emyaka amakumi ana mu mukaaga. Naye ggwe olirizimbira ennaku ssatu?”
21
Kyokka Yesu, Essinzizo lye yayogerako, gwe mubiri gwe.
22
Bwe yamala okuzuukira, olwo abayigirizwa be ne bajjukira nti yakyogera, ne bakkiriza ebyawandiikibwa, era n'ebigambo Yesu bye yayogera.
23
Yesu bwe yali e Yerusaalemu ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, bangi bwe baalaba ebyewuunyo bye yakola, ne bamukkiriza.
24
Kyokka Yesu n'atabeeyabizaamu, kubanga yamanya abantu bonna.
25
Yali teyeetaaga mulala kumubuulira ebifa ku bantu, kubanga ye yennyini yali amanyi ebiri mu mitima gy'abantu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21