bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 7
John 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 8 →
1
Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'atambula mu Galilaaya. Teyayagala kutambula mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali basala amagezi okumutta.
2
Embaga y'Abayudaaya ey'Ensiisira yali eneetera okutuuka.
3
Baganda ba Yesu ne bamugamba nti: “Va wano ogende e Buyudaaya, abayigirizwa bo nabo balabe ku ebyo by'okola,
4
kubanga tewali akweka ekyo ky'akola, bw'aba ng'ayagala amanyike mu lwatu. Ggwe nga bw'okola bino, leka ensi yonna ekumanye.” (
5
Ne baganda be bennyini tebaamukkiriza).
6
Awo Yesu n'abagamba nti: “Ekiseera ekyange tekinnatuuka, naye ekiseera ekyammwe bulijjo kibaawo.
7
Mmwe ensi teyinza kubakyawa, naye nze enkyawa, kubanga ngitegeeza nti ebikolwa by'ekola bibi.
8
Mmwe mwambuke ku mbaga. Nze sinnatuusa kwambuka ku mbaga eyo, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”
9
Bwe yamala okubagamba ebyo, n'asigala mu Galilaaya.
10
Baganda be bwe baamala okwambuka ku mbaga, naye n'ayambuka, si mu lwatu, wabula mu kyama.
11
Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga, nga beebuuza nti: “Ali ludda wa?”
12
Ne wabaawo oluvuuvuumo lungi ku ye mu bantu. Abamu nga bagamba nti: “Mulungi.” Abamu nga bagamba nti: “Nedda, akyamya abantu.”
13
Kyokka olw'okutya Abayudaaya, ne wataba amwogerako mu lwatu.
14
Awo mu makkati g'ekiseera eky'embaga, Yesu n'ayambuka mu Ssinzizo, n'ayigiriza.
15
Abayudaaya ne beewuunya, ne bagamba nti: “Ono amanyi atya ebingi bwe bityo, sso nga tayigangako?”
16
Yesu n'abaddamu nti: “Bye njigiriza si byange, wabula by'oyo eyantuma.
17
Buli ayagala okukola Katonda by'ayagala, alitegeera oba nga bye njigiriza biva wa Katonda, oba nga byange ku bwange.
18
Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, wabula anoonya ekitiibwa ky'oyo eyamutuma, aba wa mazima, era tabaamu bukuusa.
19
Musa teyabawa Amateeka? Naye ku mmwe tewali akwata Mateeka ago. Lwaki musala amagezi okunzita?”
20
Ekibiina ky'abantu ne kiddamu nti: “Oliko omwoyo omubi! Ani asala amagezi okukutta?”
21
Yesu n'addamu nti: “Nakola ekikolwa kimu, mwenna ne mwewuunya.
22
Kale Musa yabalagira okukomolebwa (newaakubadde tekwatandikira ku Musa, wabula ku bajjajjammwe). Ne ku lunaku lwa Sabbaato mukomola omuntu.
23
Oba ng'omuntu akomolebwa ku Sabbaato, etteeka lya Musa lireme kumenyebwa, lwaki nze munsunguwalira olw'okuwonya omuntu ku Sabbaato, n'aba mulamu ddala?
24
Mulekenga kusala musango nga musinziira ku bya kungulu, naye musalenga omusango, nga mugoba ensonga.”
25
Awo abamu ku bantu ab'omu Yerusaalemu ne bagamba nti: “Ono si gwe banoonya okutta?
26
Ate wuuno ayogera mu lwatu, era tebaliiko kye bamugamba. Ab'obuyinza bandiba nga bategeeredde ddala ng'ono ye Kristo?
27
Naye ono tumanyi gy'ava, sso nga Kristo bw'alijja, tewali alimanya gy'ava.”
28
Awo Yesu n'akangula ku ddoboozi ng'ayigiriza mu Ssinzizo, n'agamba nti: “Nze mummanyi, era ne gye nva mumanyiiyo, sso sajja ku bwange, wabula oyo eyantuma ddala gyali, kyokka mmwe temumumanyi.
29
Nze mmumanyi, kubanga nava gy'ali, era ye yantuma.”
30
Awo ne basala amagezi okumukwata, kyokka tewaali amukwatako, kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka.
31
Era bangi mu kibiina ky'abantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti: “Kristo bw'alijja, alikola ebyewuunyo bingi okusinga ono by'akola?”
32
Abafarisaayo ne bawulira abantu nga boogera ku Yesu mu bwama. Awo bakabona abakulu n'Abafarisaayo ne batuma abaserikale okumukwata.
33
Awo Yesu n'agamba nti: “Nja kumala nammwe ebbanga ttono, ndyoke ŋŋende eri oyo eyantuma.
34
Mulinnoonya, naye temulindaba, nga gye ndi mmwe temuyinza kutuukayo.”
35
Awo Abayudaaya ne bagambagana nti: “Ono ayagala kugenda wa gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Buyonaani, ayigirize Abayonaani?
36
Ategeeza ki bw'agamba nti: ‘Mulinnoonya, naye temulindaba,’ era nti: ‘Gye ndibeera temuyinza kutuukayo?’ ”
37
Ku lunaku olw'embaga olusembayo era olusingira ddala obukulu, Yesu n'ayimirira, n'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka, n'agamba nti: “Buli alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe.
38
Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba, ‘Emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu mutima gwe.’ ”
39
Ekyo Yesu yakyogera ku Mwoyo Mutuukirivu, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna, kubanga Mwoyo oyo yali tannagabibwa, olw'okubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.
40
Abamu mu kibiina ky'abantu ekyo bwe baawulira ebigambo ebyo, ne bagamba nti: “Ddala ono ye mulanzi oli.”
41
Abalala ne bagamba nti: “Ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti: “Kristo asibuka mu Galilaaya?
42
Ekyawandiikibwa tekigamba nti Kristo wa kuva mu zzadde lya Dawudi, era wa kuzaalibwa mu Betilehemu, ekibuga Dawudi mwe yali?”
43
Awo ekibiina ky'abantu ne kyawukanamu olwa Yesu.
44
Abamu ku bo ne baagala okumukwata, kyokka ne wataba amukwatako.
45
Awo abaserikale ne baddayo eri bakabona abakulu n'Abafarisaayo. Bo ne bababuuza nti: “Lwaki temumuleese?”
46
Abaserikale ne baddamu nti: “Tewali muntu yali ayogedde ng'oyo bw'ayogera!”
47
Abafarisaayo ne babaddamu nti: “Era nammwe abakyamizza?
48
Mu bakulembeze, wadde mu Bafarisaayo, ani yali amukkiriza?
49
Ekibiina ky'abantu kino tekitamanyi mateeka, era kikolimiddwa!”
50
Nikodemo, omu ku bo, eddako eyagenda eri Yesu, n'abagamba nti:
51
“Amateeka gaffe gakkiriza okusalira omuntu omusango nga tebannaba kumuwozesa, n'okutegeera ky'akoze?”
52
Ne bamuddamu nti: “Kazzi naawe wava Galilaaya? Weetegereze ebyawandiikibwa, ojja kulaba nti e Galilaaya tesibuka mulanzi.” [
53
Buli muntu n'addayo ewuwe.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21