bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 16
John 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 17 →
1
“Ebyo mbibabuulidde, muleme kuterebuka.
2
Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro. Era ekiseera kirituuka, buli abatta n'alowooza nti aweereza Katonda.
3
Ebyo banaabikolanga, kubanga Kitange tebamumanyi, era nange tebammanyi.
4
Naye ebyo mbibabuulidde, ekiseera kyabyo bwe kirituuka, mulyoke mujjukire nga nze nabibabuulira. “Mu kusooka, ebyo saabibabuulira, kubanga nali nkyali wamu nammwe.
5
Naye kaakano ŋŋenda eri oyo eyantuma, era ku mmwe tewali ambuuza nti: ‘Ogenda wa?’
6
Naye kubanga mbabuulidde ebyo, emitima gyammwe gijjudde ennaku.
7
Naye mbategeeza amazima nti kibagasa nze okugenda, kubanga bwe sigenda, Omubeezi talijja gye muli. Kyokka bwe ŋŋenda, ndimubatumira.
8
Ye bw'alijja, alirumiriza abantu b'ensi nti bawubwa ku bikwata ku kibi, ne ku butuukirivu, ne ku kusala omusango;
9
ku bikwata ku kibi, kubanga tebanzikiriza,
10
ku bikwata ku butuukirivu, kubanga ŋŋenda eri Kitange, era munaaba temukyandaba;
11
ku bikwata ku kusala omusango, kubanga omufuzi w'ensi eno asaliddwa omusango.
12
“Nkyalina bingi eby'okubabuulira, naye kaakano temubisobola.
13
Naye Mwoyo amanyisa abantu amazima bw'alijja, anaabaluŋŋamyanga mu by'amazima byonna, kubanga taayogerenga ku bubwe, wabula anaayogeranga by'awulira, era anaababuuliranga ebigenda okujja.
14
Oyo anangulumizanga, kubanga anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe.
15
Byonna byonna Kitange by'alina byange, kyenvudde ŋŋamba nti Mwoyo anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe.
16
“Mu bbanga ttono munaaba nga temukyandaba, ate wanaayita ebbanga ttono, ne mundaba.”
17
Abamu ku bayigirizwa be ne bagambagana nti: “Kiki ekyo ky'atugamba nti: ‘Mu bbanga ttono munaaba nga temukyandaba, ate wanaayita ebbanga ttono ne mundaba,’ era nti: ‘Ŋŋenda eri Kitange?’ ”
18
Ne beebuuza nti: “Kiki ekyo ky'agamba nti ‘Ebbanga ttono?’ Tetumanyi ky'agamba.”
19
Yesu n'amanya nga baagala okumubuuza, n'abagamba nti: “Kino kye mwebuuzaganyaako, kye ŋŋambye nti mu bbanga ttono munaaba temukyandaba, ate wanaayita ebbanga ttono ne mundaba?
20
Mazima ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka. Mmwe mulinakuwala, naye okunakuwala kwammwe kulifuuka essanyu.
21
“Omukazi ng'azaala, aba mu bulumi bungi, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bw'amala okuzaalibwa, omukazi nga takyajjukira bulumi olw'essanyu ery'okuzaala omuntu ku nsi.
22
Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndibalaba, nate emitima gyammwe ne gisanyuka, era essanyu lyammwe tewaliba alibaggyako.
23
“Ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Mazima ddala mbagamba nti Kitange alibawa buli kye mulisaba mu linnya lyange.
24
Okutuusa kati mubadde temusaba mu linnya lyange. Musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire.
25
“Ebyo mbibabuulidde mu ngero. Naye ekiseera kijja kutuuka, nga sikyayogera nammwe mu ngero, wabula nga mbabuulira lwatu ebifa ku Kitange.
26
Ku lunaku luli mulisaba mu linnya lyange. Sso sibagamba nti ndibasabira eri Kitange.
27
Kitange yennyini abaagala, kubanga munjagala era mukkirizza nga nava eri Katonda.
28
Nava eri Kitange ne nzija ku nsi. Kaakano ndeka ensi, ŋŋenda eri Kitange.”
29
Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Kaakano oyogera lwatu, toyogera mu ngero.
30
Kaakano tumanyi ng'omanyi byonna, era nga tekyetaagisa muntu n'omu kukubuuza kibuuzo. Kyetuva tukkiriza nga wava wa Katonda.”
31
Yesu n'abaddamu nti: “Kaakano mukkiriza?
32
Laba, ekiseera kijja, era kimaze n'okutuuka, musaasaane, buli muntu adde ewuwe, mundeke bwomu. Sso siri bwomu, kubanga Kitange ali wamu nange.
33
Ebyo mbibabuulidde, mulyoke mube n'emirembe mu nze. Ku nsi mujja kubonaabona, naye mugume, nze mpangudde ensi.”
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21