bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 4
John 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 5 →
1
Yesu bwe yamanya ng'Abafarisaayo bawulidde nti afuna era abatiza abayigirizwa bangi okusinga Yowanne, (
2
sso nno Yesu yennyini si ye yabatizanga, wabula abayigirizwa be),
3
n'ava mu Buyudaaya, n'addayo e Galilaaya.
4
Yali ateekwa okuyita mu Samariya.
5
Awo n'atuuka mu kibuga eky'e Samariya, ekiyitibwa Sikari, ekiriraanye ennimiro Yakobo gye yawa mutabani we Yosefu.
6
Mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Yesu n'atuula awo ku luzzi, ng'olugendo lumukooyezza. Essaawa zaali nga mukaaga ez'omu ttuntu.
7
Omukazi Omusamariya n'ajja okusena amazzi. Yesu n'amugamba nti: “Mpa ku mazzi nnyweko.”
8
Abayigirizwa ba Yesu baali bagenze mu kibuga okugula emmere.
9
Awo omukazi Omusamariya n'amuddamu nti: “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamariya amazzi okunywa?” (Abayudaaya baali tebatabagana na Basamariya).
10
Yesu n'amuddamu nti: “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, era ng'omanyi oyo akugamba nti: ‘Mpa ku mazzi nnyweko,’ ggwe wandimusabye, era yandikuwadde amazzi amalamu.”
11
Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, tolina ky'osenya, ate oluzzi luwanvu. Onoggya wa amazzi ago amalamu?
12
Ggwe mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno mwe yanywanga ye, n'abaana be, era n'ensolo ze?”
13
Yesu n'amuddamu nti: “Buli muntu anywa ku mazzi gano, aliddamu okulumwa ennyonta.
14
Naye buli anywa ku mazzi ge ndimuwa, taliddayo kulumwa nnyonta emirembe n'emirembe, kubanga amazzi ge ndimuwa, mu ye galifuuka ensulo eneevangamu amazzi amalamu, n'emuwa obulamu obutaggwaawo.”
15
Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, mpa ku mazzi ago, nneme kulumwanga nnyonta, wadde okujjanga wano okusena amazzi.”
16
Yesu n'amugamba nti: “Genda oyite balo, okomewo wano.”
17
Omukazi n'amuddamu nti: “Sirina baze.” Yesu n'amugamba nti: “Oli mutuufu okugamba nti tolina balo,
18
kubanga walina babalo bataano, era oyo gw'olina kati si balo ddala. Ekyo oyogedde kya mazima.”
19
Omukazi n'agamba Yesu nti: “Ssebo, ndaba ng'oli mulanzi.
20
Ffe Abasamariya, bajjajjaffe ku lusozi luno kwe baasinzizanga Katonda. Naye mmwe Abayudaaya mugamba nti Yerusaalemu kye kifo, mwe tuteekwa okusinzizanga Katonda.”
21
Yesu n'amugamba nti: “Mukazi wattu, nzikiriza, ekiseera kirituuka, nga Kitaffe tebakyamusinziza ku lusozi luno, wadde mu Yerusaalemu.
22
Mmwe musinza kye mutamanyi. Ffe tusinza kye tumanyi, kubanga obulokozi buva mu Bayudaaya.
23
Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza mu ngeri entuufu, basinzenga Kitaffe mu mwoyo era mu mazima, kubanga Kitaffe abamusinza bwe batyo, b'ayagala.
24
Katonda Mwoyo, n'abo abamusinza bateekwa okumusinziza mu mwoyo era mu mazima.”
25
Omukazi n'amugamba nti: “Mmanyi nga Messiya, ayitibwa Kristo, ajja. Ye bw'alijja, alitutegeeza ebintu byonna.”
26
Yesu n'amugamba nti: “Ye Nze ayogera naawe.”
27
Amangwago abayigirizwa ba Yesu ne bakomawo. Ne beewuunya okusanga ng'ayogera n'omukazi. Kyokka ne wataba abuuza mukazi nti: “Oyagala ki?” Oba abuuza Yesu nti: “Lwaki oyogera naye?”
28
Olwo omukazi n'aleka awo ensuwa ye, n'addayo mu kibuga, n'agamba abantu nti:
29
“Mujje mulabe omuntu antegeezezza byonna bye nakolanga. Ayinza okuba nga ye Kristo!”
30
Ne bava mu kibuga, ne bagenda eri Yesu.
31
Mu kiseera ekyo, abayigirizwa baali nga beegayirira Yesu, nga bagamba nti: “Muyigiriza, lya ku mmere.”
32
Ye n'abaddamu nti: “Nze nnina emmere gye ndya, mmwe gye mutamanyi.”
33
Awo abayigirizwa ne beebuuzaganya nti: “Waliwo omuntu amuleetedde emmere?”
34
Yesu n'abagamba nti: “Emmere yange, kwe kukola ebyo eyantuma by'ayagala, n'okutuukiriza omulimu gwe.
35
Mmwe temulina njogera egamba nti: ‘Esigaddeyo emyezi ena, amakungula gatuuke?’ Nze mbagamba nti muyimuse amaaso, mulabe ennimiro. Ebibala byengedde, bituuse okukungula.
36
“Omuntu akungula aweebwa empeera, obulamu obutaggwaawo n'abukuŋŋaanyiza ebibala. Oyo asiga, n'oyo akungula, ne balyoka basanyukira wamu,
37
kubanga enjogera eno ya mazima egamba nti: ‘Asiga mulala, n'akungula mulala.’
38
Nze mbatumye okukungula kye mutaateganira. Abalala be baategana, mmwe ne musanga ebibala by'entuuyo zaabwe.”
39
Bangi ku Basamariya ab'omu kibuga ekyo, ne bakkiriza Yesu, olw'ekigambo ky'omukazi kye yabagamba nti: “Antegeezezza byonna bye nakolanga.”
40
Awo Abasamariya bwe baatuuka Yesu w'ali ne bamwegayirira abeereko ewaabwe. N'amalayo ennaku bbiri.
41
Bwe yayogera nabo, n'abalala bangi ne bamukkiriza.
42
Ne bagamba omukazi nti: “Kaakano tukkiriza, si lwa bigambo byo, wabula kubanga tumwewuliridde ffe ffennyini, ne tumanya ng'ono, ddala ye Mulokozi w'ensi.”
43
Ennaku ezo ebbiri bwe zaayitawo, Yesu n'avaayo, n'agenda e Galilaaya.
44
Yesu yennyini yakakasa nti: “Omulanzi tassibwamu kitiibwa mu nsi y'ewaabwe.”
45
Awo bwe yatuuka e Galilaaya, Abagalilaaya ne bamwaniriza, kubanga nabo baali bagenze e Yerusaalemu, ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ne balaba byonna bye yakola ku Mbaga eyo.
46
Awo Yesu n'addayo e Kaana eky'e Galilaaya, gye yafuulira amazzi omwenge ogw'emizabbibu. Waaliyo omukungu wa kabaka, eyalina mutabani we, ng'alwalidde e Kafarunawumu.
47
Bwe yawulira nti Yesu avudde mu Buyudaaya atuuse mu Galilaaya, n'agenda gy'ali, n'amwegayirira aserengete e Kafarunawumu, awonye mutabani we, eyali ng'ali kumpi okufa.
48
Awo Yesu n'amugamba nti: “Bwe mutalaba byewuunyo na bya magero, temukkiriza.”
49
Omukungu n'amuddamu nti: “Ssebo, serengetayo ng'omwana wange tannafa.”
50
Yesu n'amugamba nti: “Genda, omwana wo mulamu.” Omuntu oyo n'akkiriza ekigambo Yesu ky'amugambye, n'agenda.
51
Bwe yali ng'akyali mu kkubo, abaddu be ne bamusisinkana, ne bamutegeeza nti omwana we mulamu.
52
N'ababuuza essaawa mwe yatandikidde okuba obulungi. Ne bamugamba nti: “Omusujja gwamuwonako jjo, ku ssaawa musanvu.”
53
Awo kitaawe w'omwana n'ajjukira nti eyo ye ssaawa yennyini, Yesu mwe yamugambira nti: “Omwana wo mulamu.” Awo ye, awamu n'ab'omu maka ge bonna, ne bakkiriza.
54
Kino kye kyewuunyo ekyokubiri Yesu kye yakola, ng'akomyewo e Galilaaya okuva e Buyudaaya.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21