bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 18
John 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 19 →
1
Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'afuluma n'abayigirizwa be, ne balaga emitala w'akagga Kedurooni awaali ennimiro, n'agiyingiramu awamu n'abayigirizwa be.
2
Ne Yuda, eyamulyamu olukwe, yali amanyi ekifo ekyo, kubanga emirundi mingi, Yesu yagendangayo n'abayigirizwa be.
3
Awo Yuda n'ajja mu nnimiro ng'ali n'ekibinja ky'abaserikale, n'abakuumi b'Essinzizo, abaatumibwa bakabona abakulu n'Abafarisaayo. Baalina ettaala n'emimuli, n'ebyokulwanyisa.
4
Awo Yesu ng'amanyi byonna ebigenda okumujjira, n'avaayo, n'abagamba nti: “Munoonya ani?”
5
Ne bamuddamu nti: “Yesu Omunazaareeti.” Yesu n'abagamba nti: “Ye Nze.” Yuda eyamulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo.
6
Yesu bwe yabagamba nti: “Ye Nze”, ne badda emabega ne bagwa wansi.
7
Yesu n'ababuuza omulundi ogwokubiri nti: “Munoonya ani?” Ne bagamba nti: “Yesu Omunazaareeti.”
8
Yesu n'addamu nti: “Mbabuulidde nti Ye Nze. Kale oba nga munoonya Nze, bano mubaleke bagende.”
9
Ekigambo kye yayogera nti: “Ku abo be wampa saabuzaako n'omu,” ne kituukirira.
10
Simooni Peetero yalina ekitala. N'akisowolayo, n'atema omuddu wa Ssaabakabona, n'amukutulako okutu okwa ddyo. Erinnya ly'omuddu oyo nga ye Maluko.
11
Yesu n'agamba Peetero nti: “Ekitala kizze mu kiraato kyakyo. Ekikopo eky'okubonaabona. Kitange ky'ampadde siikinywe?”
12
Awo ekibinja ky'abaserikale n'omuduumizi waabwe, n'abaweereza b'Abayudaaya, ne bakwata Yesu, ne bamusiba.
13
Ne bamutwala eri Anna okusooka, kubanga ye yali kitaawe wa muka Kayaafa, eyali Ssaabakabona mu mwaka ogwo.
14
Kayaafa oyo ye yali awadde Abayudaaya amagezi nti kisaana omuntu omu okufiirira bonna.
15
Simooni Peetero n'omuyigirizwa omulala ne bagoberera Yesu. Omuyigirizwa oyo yali amanyiddwa ssaabakabona, n'ayingira ne Yesu mu luggya lwa Ssaabakabona.
16
Peetero n'asigala wabweru ku luggi. Omuyigirizwa oli omulala eyali amanyiddwa ssaabakabona, n'afuluma, n'ayogera n'omuwala omuggazi w'oluggi, n'ayingiza Peetero.
17
Awo omuwala omuggazi w'oluggi, n'agamba Peetero nti: “Naawe oli omu ku bayigirizwa b'omuntu oyo?” Peetero n'addamu nti: “Nedda.”
18
Abaddu n'abaweereza baali bakumye ekyoto ky'omuliro, nga bayimiridde awo boota, kubanga obudde bwali bunnyogovu. Ne Peetero yali ayimiridde nabo ng'ayota omuliro.
19
Awo Ssaabakabona n'abuuza Yesu ku bayigirizwa be, ne ku by'ayigiriza.
20
Yesu n'amuddamu nti: “Nze nayogeranga lwatu mu bantu, bulijjo nayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu Ssinzizo, Abayudaaya bonna mwe bakuŋŋaanira. Soogeranga kintu na kimu mu kyama.
21
Lwaki obuuza nze? Buuza abo abaawulira bye nabagambanga. Bamanyi bye nayogeranga.”
22
Yesu bwe yayogera ebyo, omu ku baweereza eyali ayimiridde okumpi naye, n'amukuba oluyi nga bw'agamba nti: “Bw'otyo bw'oddamu Ssaabakabona?”
23
Yesu n'amuddamu nti: “Oba njogedde bubi, laga ekibi kye njogedde. Naye oba njogedde bulungi, onkubira ki?”
24
Awo Anna n'aweereza Yesu nga musibe eri Kayaafa, Ssaabakabona.
25
Simooni Peetero yali ayimiridde ng'ayota omuliro. Ne bamugamba nti: “Naawe oli omu ku bayigirizwa be?” Ye ne yeegaana n'agamba nti: “Nedda.”
26
Omu ku baddu ba ssaabakabona, era muganda w'oyo, Peetero gwe yakutulako okutu, n'agamba nti: “Nze saakulabye naye mu nnimiro?”
27
Peetero n'addamu okwegaana. Amangwago enkoko n'ekookolima.
28
Awo Yesu ne bamuggya ewa Kayaafa, ne bamutwala mu lubiri lw'omufuzi Omurooma. Obudde bwali bwakakya. Abayudaaya ne batayingira mu lubiri, baleme kusobya mukolo gwa kwetukuza, naye basobole okulya Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
29
Awo Pilaato n'afuluma n'agenda gye bali, n'ababuuza nti: “Musango ki gwe muwawaabira omuntu ono?”
30
Ne bamuddamu nti: “Singa abadde talina musango gwe yazza, tetwandimuleese gy'oli.”
31
Pilaato n'abagamba nti: “Kale nno mmwe mumutwale, mumusalire omusango ng'amateeka gammwe bwe gali.” Abayudaaya ne bamugamba nti: “Ffe tetukkirizibwa kutta muntu n'omu.”
32
Ekyo Yesu kye yayogera, ng'alanga engeri gye yali agenda okufaamu, ne kituukirira.
33
Awo Pilaato n'addayo mu lubiri, n'ayita Yesu, n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?”
34
Yesu n'addamu nti: “Ekyo okyogedde ku bubwo, oba balala be bakubuulidde ebifa ku nze?”
35
Pilaato n'addamu nti: “Nze ndi Muyudaaya? Abantu b'eggwanga lyo, ne bakabona baabwe abakulu, be bakuleese gye ndi. Okoze ki?”
36
Yesu n'addamu nti: “Obwakabaka bwange si bwa ku nsi kuno. Singa obwakabaka bwange bubadde bwa ku nsi kuno, abantu bange bandirwanye, ne siweebwayo mu Bayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa ku nsi kuno.”
37
Awo Pilaato n'amubuuza nti: “Kwe kugamba oli Kabaka?” Yesu n'addamu nti: “Nga bw'oyogedde. Ndi kabaka. Nze nazaalibwa ne nzija ku nsi, nga nzijiridde kino: okumanyisa amazima. Buli ayagala amazima, awulira eddoboozi lyange.”
38
Pilaato n'amugamba nti: “Amazima kye ki?” Pilaato bwe yamala okwogera ebyo, n'afuluma nate, n'agenda awali Abayudaaya, n'abagamba nti: “Siraba musango ku ye.
39
Naye mwamanyiira, nze okubateeranga omusibe omu ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Kale mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?”
40
Awo ne baleekaana nti: “Si oyo, wabula Barabba!” Barabba oyo yali munyazi.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21