bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 14
John 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 15 →
1
Yesu n'agamba nti: “Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkirize Katonda, era nange munzikirize.
2
Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi, era ŋŋenda okubategekera ekifo. Singa si bwe kiri, sandibagambye bwe ntyo.
3
Bwe ndimala okugenda ne mbategekera ekifo, ndikomawo ne mbatwala gye ndi, nammwe mubeere eyo, nze gye mbeera.
4
Era gye ŋŋenda, ekkubo mulimanyi.”
5
Tomasi n'amugamba nti: “Mukama waffe, tetumanyi gy'ogenda. Tuyinza tutya okumanya ekkubo erigendayo?”
6
Yesu n'amuddamu nti: “Nze kkubo, nze mazima, era nze bulamu. Tewali atuuka eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze.
7
Singa nze mummanyi, ne Kitange mwandimumanye. Era okuva kati mumumanyi, era mumulabye.”
8
Filipo n'amugamba nti: “Mukama waffe, tulage ku Kitaawo, kinaatumala.”
9
Yesu n'amuddamu nti: “Kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna, tontegeeranga, Filipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange. Ate lwaki ogamba nti: ‘Tulage ku Kitaawo’?
10
Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, era nga Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba mmwe, sibyogera ku bwange. Kitange ali mu nze, ye akola yennyini.
11
“Munzikirize nti nze ndi mu Kitange, era nti ne Kitange ali mu nze. Oba si ekyo, munzikirize olw'ebikolwa byennyini bye nkola.
12
Mazima ddala mbagamba nti anzikiriza, alikola bye nkola, era alikola n'ebisingawo, kubanga nze ŋŋenda eri Kitange.
13
Era buli kye munaasabanga mu linnya lyange, nnaakikolanga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana.
14
Bwe munaasabanga ekintu mu linnya lyange, nnaakikolanga.
15
“Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange.
16
Era ndisaba Kitange, n'abawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe.
17
Oyo ye Mwoyo amanyisa abantu amazima, ensi gw'eteyinza kukkiriza kufuna, kubanga temulaba, era temumanyi. Mmwe mumumanyi, kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe.
18
“Siribaleka nga bamulekwa. Ndikomawo gye muli.
19
Mu bbanga ttono, ensi eneeba tekyandaba, naye mmwe nga mundaba. Kubanga nze ndi mulamu, nammwe muliba balamu.
20
Ku lunaku olwo mulitegeera nga nze ndi mu Kitange, era nga nammwe muli mu nze, ate nga nange ndi mu mmwe.
21
“Awulira ebiragiro byange n'abikwata, oyo ye anjagala. Kitange anaayagalanga oyo anjagala, nange nnaamwagalanga, era nnaamulabikiranga.”
22
Yuda, atali oli Yisikaryoti, n'amugamba nti: “Mukama waffe, ekyo kiri kitya, ggwe okulabikira ffe, n'otolabikira nsi?”
23
Yesu n'amuddamu nti: “Buli anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange, era anaayagalibwanga Kitange. Tulijja gy'ali ne tubeera mu ye.
24
Atanjagala, takwata bigambo byange. Ate ekigambo kye muwulira, si kyange, wabula kya Kitange eyantuma.
25
“Ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe.
26
Naye Omubeezi, ye Mwoyo Mutuukirivu, Kitange gw'alituma mu linnya lyange, alibayigiriza byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba.
27
“Mbalekera emirembe. Mbawa emirembe gyange. Sigibawadde ng'ensi bw'ewa. Temweraliikiriranga era temutyanga.
28
Muwulidde bwe mbagambye nti ŋŋenda, era ndikomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse nga ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange ansinga ekitiibwa.
29
Ekyo nkibabuulidde kaakano nga tekinnabaawo, bwe kiribaawo mulyoke mukkirize.
30
Sikyayogedde bingi nammwe, kubanga omufuzi w'ensi eno ajja, kyokka tanninaako buyinza.
31
Naye nkola nga Kitange bwe yandagira, ensi eryoke emanye nti Kitange mmwagala. “Musituke, tuve wano.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21