bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 12
John 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 13 →
1
Bwe waali nga wakyabulayo ennaku mukaaga, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako etuuke, Yesu n'ajja e Betaniya, awaali Laazaro, gwe yazuukiza.
2
Ne bamufumbirayo ekyeggulo, Marita n'aweereza. Laazaro yali omu ku baali batudde ne Yesu okulya.
3
Awo Mariya n'addira eccupa erimu omuzigo omulungi oguyitibwa narudo, oguwunya akawoowo, era ogw'omuwendo ennyo, n'agusiiga ku bigere bya Yesu, n'abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba n'ejjula akawoowo ak'omuzigo ogwo.
4
Naye Yuda Yisikaryoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali agenda okumulyamu olukwe, n'agamba nti:
5
“Lwaki omuzigo guno tegutundiddwa denaari ebikumi bisatu, ne zigabirwa abaavu?”
6
Yayogera ekyo, si lwa kulumirwa baavu, wabula kubanga yali mubbi. Ye yakwatanga ensawo, era bye baateekangamu, ng'abitwala.
7
Yesu n'agamba nti: “Omukazi mumuleke, omuzigo aguterekere olunaku lw'okuziikibwa kwange.
8
Abaavu ba kuba nammwe bulijjo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo.”
9
Awo ekibiina kinene eky'Abayudaaya, ne kitegeera nti Yesu ali Betaniya. Ne kijja, si lwa Yesu yekka, naye n'okulaba Laazaro, Yesu gwe yazuukiza.
10
Bakabona abakulu ne basala amagezi okutta ne Laazaro,
11
kubanga ku lulwe, Abayudaaya bangi baabavangako, ne bakkiriza Yesu.
12
Ku lunaku olwaddirira, abantu abangi abaali bazze ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, bwe baawulira nti Yesu ajja e Yerusaalemu,
13
ne bakwata amatabi g'enkindu, ne bagenda okumusisinkana, ne baleekaana nti: “Mukama atenderezebwe! Ajja mu linnya lya Mukama, aweereddwa omukisa. Ye Kabaka wa Yisirayeli.”
14
Awo Yesu n'asanga endogoyi, n'agyebagalako, nga bwe kyawandiikibwa nti:
15
“Mmwe abantu b'e Siyooni, temutya. Laba, Kabaka wammwe ajja, nga yeebagadde omwana gw'endogoyi.”
16
Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira, ng'ebyo byawandiikibwa nga bifa ku ye, era nga baabimukolera.
17
Ekibiina ky'abantu ekyaliwo nga Yesu ayita Laazaro okuva mu ntaana n'amuzuukiza, kyanyumya ebibaddewo.
18
Abantu bangi kyebaava bajja okumusisinkana, kubanga baali bawulidde nga yakola ekyewuunyo ekyo.
19
Awo Abafarisaayo ne bagambagana nti: “Mulabe bwe tulemeddwa! Ensi yonna emusenze!”
20
Mu abo abaayambuka e Yerusaalemu, mu budde obw'Embaga okusinza Katonda, mwalimu Abayonaani abamu.
21
Bano ne bajja eri Filipo, eyava e Betusayida eky'omu Galilaaya, ne bamusaba nti: “Ssebo, twagala okulaba Yesu.”
22
Filipo n'agenda n'abuulira Andereya, bombi ne bategeeza Yesu.
23
Yesu n'abaddamu nti: “Ekiseera kituuse Omwana w'Omuntu agulumizibwe.
24
Mazima ddala mbagamba nti empeke y'eŋŋaano bw'etegwa mu ttaka n'efa, ebeerera awo yokka. Naye bw'efa, ebala ebibala bingi.
25
Buli ayagala obulamu bwe, alibufiirwa. Naye akyawa obulamu bwe mu nsi muno, alibusigaza okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.
26
Oyo ampeereza, angoberere. Nze we ndi, n'omuweereza wange w'anaabeeranga. Kitange aliwa ekitiibwa oyo ampeereza.
27
“Kaakano omutima gwange gweraliikiridde, era njogere ki? Ŋŋambe nti: ‘Kitange, mponya akaseera kano?’ Naye ate ekyandeeta, kwe kuyita mu kaseera kano ak'okubonaabona!
28
Kitange gulumiza erinnya lyo.” Awo eddoboozi ne liva mu ggulu, nti: “Naligulumiza, era ndirigulumiza nate.”
29
Ekibiina ky'abantu, ekyali kiyimiridde awo bwe kyawulira, ne kigamba nti: “Laddu ye bwatuse!” Abalala ne bagamba nti: “Malayika ayogedde naye.”
30
Yesu n'abagamba nti: “Eddoboozi lino terizze ku lwange, wabula ku lwammwe.
31
Kaakano ensi ejja kusalirwa omusango, kaakano omufuzi w'ensi eno, ajja kugoberwa ebweru.
32
Ate nze bwe ndisitulibwa ku nsi, ndisika bonna ne mbazza gye ndi.”
33
Ekyo yakyogera, ng'ategeeza enfa gy'alifaamu.
34
Awo ekibiina ky'abantu ne kimuddamu nti: “Ffe mu Mateeka twawulira nti Kristo wa kubeerawo emirembe n'emirembe. Ate ggwe lwaki ogamba nti Omwana w'Omuntu ateekwa okusitulibwa? Omwana w'Omuntu oyo ye ani?”
35
Yesu n'abagamba nti: “Ekitangaala kinaabeera nammwe okumala ekiseera kitono. Mutambule nga mukyalina ekitangaala, ekizikiza kireme kubakwatira mu kkubo, kubanga atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda.
36
Mukkirize ekitangaala nga mukyakirina, mulyoke mube abaana b'ekitangaala.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda n'abeekweka.
37
Newaakubadde yakola ebyewuunyo ebyenkanidde awo mu maaso gaabwe, era tebaamukkiriza.
38
Ekigambo kya Yisaaya omulanzi ne kituukirira, ekigamba nti: “Mukama, ani yakkiriza bye tugamba? Era Mukama yalaga ani obuyinza bwe?”
39
Kyebaava balema okukkiriza, kubanga Yisaaya yagamba era nti:
40
“Katonda yabaziba amaaso, n'abakakanyaza emitima, amaaso gaabwe galeme okulaba, n'emitima gyabwe gireme okutegeera, era baleme kukyuka mbawonye.”
41
Ebyo Yisaaya yabyogera, kubanga yalaba ekitiibwa kya Yesu, n'amwogerako.
42
Sso era bangi mu bakungu Abayudaaya abaamukkiriza. Naye olw'okutya Abafarisaayo, tebaakyatula, baleme okugobwa mu kkuŋŋaaniro.
43
Baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu, okusinga ekitiibwa ekibaweebwa Katonda.
44
Awo Yesu n'ayogera mu ddoboozi ery'omwanguka, n'agamba nti: “Anzikiriza, takkiriza Nze, wabula akkiriza oli eyantuma.
45
Era alaba nze, ng'alabye oli eyantuma.
46
Nze najja mu nsi nga ndi kitangaala, buli anzikiriza, aleme kubeera mu kizikiza.
47
Awulira ebigambo byange n'atabikolerako, Nze simusalira musango, kubanga sajja kusalira nsi musango, wabula okugirokola.
48
Agaana Nze, n'atakkiriza bigambo byange, alina amusalira omusango. Ebigambo bye nayogera bye birimusalira omusango ku lunaku olw'enkomerero,
49
kubanga Nze saayogeranga ku bwange, wabula Kitange eyantuma, ye yandagira bye nteekwa okugamba, n'okwogera.
50
Era mmanyi ng'ekiragiro kye, bwe bulamu obutaggwaawo. Kale Nze bye njogera, mbyogera nga Kitange bwe yabiŋŋamba.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21