bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 15
John 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 16 →
1
“Nze muzabbibu gwennyini, ate Kitange ye mulimi.
2
Buli ttabi eriri mu Nze eritabala bibala aliggyawo, ate buli ttabi eribala ebibala, alisalira liryoke lyeyongere okubala ebibala.
3
Kaakano mmwe muli balongoofu olw'ebigambo bye mbagambye.
4
Mubeere mu nze nange mbeere mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe kityo nammwe, temuyinza kubala bibala, bwe mutabeera mu nze.
5
“Nze muzabbibu, mmwe matabi. Abeera mu nze, nange ne mbeera mu ye, abala ebibala bingi. Nze we ssiri, temuliiko kye muyinza kukola.
6
Atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng'ettabi, era akala. Amatabi ng'ago, bagakuŋŋaanya ne bagasuula mu muliro, ne gookebwa.
7
“Bwe mubeera mu nze, n'ebigambo byange ne bibeera mu mmwe, musabenga kyonna kye mwagala, kinaabakolerwanga.
8
Bwe mubala ebibala ebingi, ne mufuukira ddala bayigirizwa bange, Kitange aweebwa ekitiibwa.
9
Nga Kitange bw'anjagala, nange bwe mbaagala mmwe. Mubeerenga mu kwagala kwange.
10
Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange, nga nze bwe nkwata ebiragiro bya Kitange, ne mbeera mu kwagala kwe.
11
“Ebyo mbibagambye, essanyu lye nnina liryoke libeere ne mu mmwe, era essanyu lyammwe liryoke lituukirire.
12
Ekiragiro kyange kye kino, mwagalanenga, nga nze bwe nabaagala mmwe.
13
Tewali alina kwagala okusinga okw'oyo awaayo obulamu bwe olw'abo b'ayagala.
14
“Mmwe muli mikwano gyange, bwe mukola bye mbalagira.
15
Sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya mukama we by'akola. Naye mbayita mikwano gyange, kubanga byonna bye nawulira eri Kitange, mbibategeezezza mmwe.
16
“Si mmwe mwannonda nze, wabula nze nabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, era ebibala byammwe biremenga kuggwaawo. Era buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, anaakibawanga.
17
Kye mbalagira kye kino, mwagalanenga.
18
“Ensi bw'ebakyawanga mmwe, mumanye nga yasooka kukyawa nze.
19
Singa mubadde ba nsi, ensi yandibaagadde mmwe ng'abaayo. Naye kubanga nze nabalonda, temukyali ba nsi. Ensi kyeva ebakyawa.
20
Mujjukire ekigambo kye nabagamba nti omuddu tasinga mukama we. Oba nga nze banjigganya, nammwe banaabayigganyanga. Oba nga baakwata ebigambo byange, n'ebyammwe banaabikwatanga.
21
Naye ebyo byonna banaabibakolanga olw'okubeera nze, kubanga eyantuma tebamumanyi.
22
“Singa sajja ne njogera nabo, tebandibadde na kibi. Naye kaakano tewali kibaggyako musango gwa kibi kyabwe.
23
Ankyawa, akyawa ne Kitange.
24
Singa saabakoleramu bikolwa ebitakolebwanga mulala, tebandibadde na kibi. Naye kaakano babirabye, ne bankyawa nze, ne Kitange.
25
Naye ekyawandiikibwa mu Mateeka gaabwe nti: ‘Bankyayira bwereere’, kiteekwa okutuukirira.
26
“Bwe ndigenda eri Kitange, ndibatumira mmwe Omubeezi, ye Mwoyo amanyisa abantu amazima, ava mu Kitange. Ye bw'alijja, aliba mujulirwa wange.
27
Era nammwe muli bajulirwa bange, kubanga mubadde nange okuva olubereberye.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21