bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
John 19
John 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 20 →
1
Awo Pilaato n'atwala Yesu, n'amukuba n'embooko eriko amalobo agasuna.
2
Abaserikale ne bawetaaweta amaggwa, ne bakolamu engule, ne bagimuteeka ku mutwe, ne bamwambaza olugoye olwa kakobe,
3
ne bajja w'ali, ne bagamba nti: “Wangaala, Kabaka w'Abayudaaya!” Ne bamukuba empi.
4
Pilaato era n'afuluma ebweru, n'agamba abantu nti: “Laba, mmubaleetera ebweru, mutegeere nga siraba musango ku ye.”
5
Awo Yesu n'afuluma ng'atikkiddwa engule ey'amaggwa, era ng'ayambadde olugoye olwa kakobe. Pilaato n'abagamba nti: “Mulabe, omuntu wuuno!”
6
Bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba, ne baleekaana nti “Mukomerere ku musaalaba, mukomerere ku musaalaba!” Pilaato n'abagamba nti: “Mumutwale mmwe, mumukomerere ku musaalaba. Nze siraba musango ku ye.”
7
Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Ffe tulina etteeka, era okusinziira ku tteeka eryo, ateekwa okuttibwa, kubanga yeefuula Omwana wa Katonda.”
8
Pilaato bwe yawulira ekyo, ne yeeyongera okutya.
9
N'ayingira mu lubiri, n'abuuza Yesu nti: “Oli wa wa?” Kyokka Yesu n'atamuddamu.
10
Awo Pilaato n'amugamba nti: “Tonziramu? Tomanyi nga nnina obuyinza okukuta, era nga nnina obuyinza okukukomerera ku musaalaba?”
11
Yesu n'amuddamu nti: “Tewandibadde na buyinza ku nze n'akatono, singa tebwakuweebwa Katonda. N'olwekyo ampaddeyo gy'oli ye alina ekibi ekisinga.”
12
Okuva mu kaseera ako Pilaato n'asala amagezi okuta Yesu. Naye Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti: “Oyo bw'omuta, nga toli mukwano gwa Kayisaari. Buli muntu eyeefuula kabaka, awakanya Kayisaari.”
13
Pilaato bwe yawulira ebigambo ebyo, n'afulumya Yesu ebweru, n'atuula ku ntebe ey'obulamuzi, mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, naye mu Lwebureeyi, Gabbata.
14
Lwali lunaku lwa kuteekateeka Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Essaawa zaali nga mukaaga ez'omu ttuntu. Pilaato n'agamba Abayudaaya nti: “Kabaka wammwe wuuno!”
15
Bo ne baleekaana nti: “Muggyeewo, muggyeewo, mukomerere ku musaalaba!” Pilaato n'ababuuza nti: “Kabaka wammwe gwe mba nkomerera ku musaalaba?” Bakabona abakulu ne baddamu nti: “Tetulina kabaka mulala, wabula Kayisaari.”
16
Awo Pilaato n'abawa Yesu okumukomerera ku musaalaba. Awo ne bakwata Yesu, ne bamutwala,
17
n'afuluma nga yeetisse omusaalaba gwe, n'atuuka mu kifo ekiyitibwa eky'Ekiwanga, mu Lwebureeyi ekiyitibwa Golugoota.
18
Ne bamukomerera ku musaalaba, mu kifo ekyo. Era ne bakomerera n'abalala babiri ku misaalaba, eruuyi n'eruuyi, Yesu nga ye ali wakati.
19
Pilaato n'awandiika ekiwandiiko, n'akiteeka ku musaalaba, nga kiwandiikiddwa nti: “YESU OMUNAZAAREETI, KABAKA W'ABAYUDAAYA.”
20
Ekifo kye baakomereramu Yesu ku musaalaba, kyali kumpi n'ekibuga. N'olwekyo Abayudaaya bangi ne basoma ekiwandiiko ekyo. Kyali kiwandiikiddwa mu Lwebureeyi, ne mu Lulattini, ne mu Luyonaani.
21
Awo bakabona abakulu ab'Abayudaaya ne bagamba nti: “Towandiika nti: ‘Kabaka w'Abayudaaya,’ naye nti: ‘Oyo yagamba nti: Nze Kabaka w'Abayudaaya.’ ”
22
Pilaato n'addamu nti: “Ekyo kye mpandiise, kye mpandiise.”
23
Abaserikale bwe baamala okukomerera Yesu ku musaalaba, ne batwala engoye ze, ne baziteeka emiteeko ena, buli muserikale n'afunako gumu. Ne batwala n'ekkanzu ye, eyali tetungiddwa, naye ng'erukiddwa bulukibwa yonna.
24
Abaserikale ne bagambagana nti: “Tuleme kugiyuzaamu, naye tugikubire akalulu, tulabe anaaba nnyiniyo.” Kino kyabaawo, okutuukiriza ekyawandiikibwa, ekigamba nti: “Baagabana engoye zange, ekkanzu yange ne bagikubira akalulu.” Abaserikale ekyo kyennyini kye baakola.
25
Okumpi n'omusaalaba gwa Yesu, waali wayimiriddewo nnyina, ne muganda wa nnyina, Mariya muka Kuloopaasi, ne Mariya Magudaleena.
26
Yesu bwe yalaba nnyina, era n'omuyigirizwa, ye Yesu gwe yayagalanga, ng'ayimiridde awo, n'agamba nnyina nti: “Maama, laba, omwana wo wuuyo.”
27
Ate n'agamba omuyigirizwa nti: “Laba, nnyoko wuuyo.” Okuva olwo omuyigirizwa oyo n'amutwala eka ewuwe.
28
Ebyo bwe byaggwa, Yesu ng'amanyi nti kaakano byonna biwedde, olw'okwagala okutuukiriza ekyawandiikibwa, n'agamba nti: “Ennyonta ennuma.”
29
Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde omwenge omukaatuufu. Ne bannyika ekyangwe mu mwenge ogwo, ne bakiteeka ku kati akayitibwa yisopu, ne bakituusa ku mumwa gwe.
30
Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge omukaatuufu, n'agamba nti: “Kiwedde.” N'akutamya omutwe, n'afa.
31
Olunaku nga bwe lwali olw'okweteekateeka, Abayudaaya ne batayagala mirambo kusigala ku misaalaba ku lwa Sabbaato, kubanga olunaku lwa Sabbaato eyo, lwali lukulu nnyo. Kyebaava basaba Pilaato, abaakomererwa ku misaalaba bamenyebwe amagulu, era bawanulweyo.
32
Awo abaserikale ne bajja, ne bamenya amagulu ag'omubereberye, n'ag'omulala eyakomererwa ne Yesu.
33
Bwe baatuuka ku Yesu, ne balaba nga yafudde dda, ne batamumenya magulu,
34
naye omu ku baserikale n'amufumita effumu mu mbiriizi, amangwago ne muvaamu omusaayi n'amazzi.
35
Kino eyakiraba nga kibaawo ye yakyogera, nammwe mulyoke mukkirize. Ky'ayogera kya mazima, era amanyi ng'ayogera mazima.
36
Ebyo byabaawo, ekyawandiikibwa kituukirire nti: “Talimenyebwa ggumba na limu.”
37
Era ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti: “Balimulaba gwe baafumita.”
38
Ebyo bwe byaggwa, Yosefu ow'e Arimataya, eyali omuyigirizwa wa Yesu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, ne yeegayirira Pilaato, amukkirize okutwala omulambo gwa Yesu. Pilaato n'akkiriza. Awo Yosefu n'ajja n'agutwala.
39
Nikodemo, olumu eyagenda eri Yesu ekiro, naye n'ajja, ng'aleese kilo ng'amakumi asatu mu ssatu ez'ebyakawoowo ebitabule, ebya mirra ne alowe.
40
Ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye enjeru wamu n'ebyakawoowo, ng'empisa y'Abayudaaya ey'okuziika bwe yali.
41
Mu kifo, Yesu we yakomererwa ku musaalaba, waaliwo ennimiro omwali entaana empya ey'empuku, eyali teziikibwangamu muntu.
42
Nga bwe lwali olunaku olw'okweteekateeka kw'Abayudaaya, ate entaana eno nga eri kumpi, Yesu ne bamuteeka omwo.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21