bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 1
Joshua 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 2 →
1
Awo olwatuuka Musa omuweereza wa Mukama, bwe yamala okufa, Mukama n'agamba Yoswa, omwana wa Nuuni, omuweereza wa Musa, ng'ayogera nti,
2
“Musa, omuweereza wange, afudde; kale kaakano golokoka, osomoke omugga guno Yoludaani, ggwe n'abantu bano bonna, muyingire mu nsi gye mbawa bo, abaana ba Isiraeri.
3
Buli kifo kye mulirinnyamu ekigere kyammwe, nkibawadde mmwe, nga bwe nnasuubiza Musa.
4
Okuva mu ddungu n'olusozi luno Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene Fulaati, ensi yonna ey'Abakiiti, era n'okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw'ebugwanjuba, we waliba esalo yammwe.
5
Tewalibeera muntu yenna aliyimirira mu maaso go ennaku zonna ez'obulamu bwo; nga bwe nnabeeranga ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe; siikwabulirenga so siikulekenga.
6
Ddamu amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe olisobozesa abantu bano okusikira ensi eno gye nnalayirira okuwa bajjajjaabwe.
7
Naye mala okuddamu amaanyi, n'okuguma ennyo omwoyo, weekuumenga okole ng'amateeka gonna bwe gali, Musa, omuweereza wange, ge yakulagira. Togaviirangako ddala n'akatono, olyoke oweebwenga omukisa buli gy'onoogendanga yonna.
8
Ekitabo kino eky'amateeka tekiivenga mu kamwa ko, naye onookirowoolezangamu emisana n'ekiro, olyoke weekuumenga okukola nga byonna bwe biri ebikiwandiikiddwamu; kubanga bw'otyo bw'onooterezanga ekkubo lyo era bw'otyo bw'onooweebwanga omukisa.
9
Si nze nkulagidde? Ddamu amaanyi, guma omwoyo; totyanga, so teweekanganga; kubanga Mukama Katonda wo ali naawe buli gy'onoogendanga yonna.”
10
Yoswa n'alyoka alagira abakulembeze b'abantu nti,
11
“Muyite wakati mu lusiisira, mulagire abantu nti, ‘Mwetegekere emmere; kubanga mu nnaku ssatu mugenda kusomoka omugga guno Yoludaani, okuyingira mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okubeeramu.’ ”
12
Yoswa n'agamba ab'ekika kya Lewubeeni n'ekya Gaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase nti
13
“Mujjukire ekigambo Musa omuweereza wa Mukama kye yabagamba, ng'ayogera nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawa ekifo eky'okuwummula, era alibawa ensi eno.’
14
Bakazi bammwe, n'abaana bammwe abato, n'ebisibo byammwe, balisigala mu nsi eno Musa gye yabawa emitala wa Yoludaani; naye abasajja bonna abazira, abalwanyi, balisomoka nga bakutte eby'okulwanyisa byabwe nga bakulembeddemu baganda baabwe;
15
okutuusa Mukama lw'alimala okuwa baganda bammwe ekiwummulo, awamu nammwe, olwo n'abo baatwale ensi Mukama, Katonda wammwe gy'abawa bo. Olwo ne mulyoka muddayo mu butaka bwammwe bwe mwafuna ebuvanjuba bw'Omugga Yoludaani, Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa.”
16
Ne bamuddamu Yoswa nti, “Byonna by'otulagidde tulibikola, era buli gy'onootutumanga tunaagendanga.
17
Nga bwe twawuliranga Musa mu bigambo byonna, naawe tunaakuwuliranga bwe tutyo; kyokka Mukama Katonda wo abe naawe, nga bwe yali ne Musa.
18
Buli muntu yenna anaajeemeranga ekiragiro kyo, era ataawulirenga bigambo byo mu byonna by'onoomulagiranga, anattibwanga; naye ddamu amaanyi, guma omwoyo.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24