bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 4
Joshua 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
1
Awo eggwanga lyonna bwe lyamala okuyitira ddala mu Yoludaani, Mukama n'agamba Yoswa, ng'ayogera nti,
2
“Mwerondere abasajja kkumi na babiri (12), mu buli kika omu,
3
era mubalagire, balonde amayinja kkumi n'abiri (12) wakati mu Yoludaani, mu kifo kye nnyini bakabona we baayimiridde mugatwale mugateeke mu kifo kye munaasulamu ekiro kino.”
4
Awo Yoswa n'ayita abasajja kkumi na babiri (12), be yateekateeka mu baana ba Isiraeri, mu buli kika omu;
5
Yoswa n'abagamba nti, “Mukulembere essanduuko ya Mukama Katonda wammwe wakati mu Yoludaani, buli muntu mu mmwe asitule ejjinja ku kibegabega kye, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli.
6
Ako kabeere akabonero mu mmwe, abaana bammwe bwe banaabuuzanga mu biro ebigenda okujja, nga boogera nti, ‘Amayinja gano amakulu gaago ki? ’ ”
7
“Kubanga amazzi ga Yoludaani gaavaawo ne gasegulira essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bwe yayita mu Yoludaani; era amayinja gano galibeera ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri emirembe egitaggwaawo.”
8
Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira, ne balonda amayinja kkumi n'abiri (12) wakati mu Yoludaani, nga Mukama bwe yagamba Yoswa, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli; ne bagasomosa ne bagateeka mu kifo mwe baasula.
9
Yoswa n'asimba amayinja kkumi n'abiri wakati mu Yoludaani, mu kifo ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano mwe byayimirira; era weegali ne kaakano.
10
Kubanga bakabona abaasitula essanduuko baayimirira wakati mu Yoludaani, ne kituukirira buli kigambo Mukama kye yalagira Yoswa okubuulira abantu, nga byonna bwe byali Musa bye yalagira Yoswa; abantu ne banguwa okusomoka.
11
Awo, abantu bonna bwe baamala okusomoka bakabona abaali n'Essanduuko ya Mukama nabo ne balyoka basomoka, ne batambula ne bakulemberamu abantu.
12
Abaana ba Lewubeeni, n'abaana ba Gaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase, ne bakulembera abaana ba Isiraeri nga bakutte eby'okulwanyisa, nga Musa bwe yabagamba;
13
abantu ng'emitwalo ena (40,000) abeeteeseteese okulwana olutalo ne bayita mu maaso ga Mukama mu lusenyi olw'e Yeriko.
14
Ku lunaku olwo Mukama n'akuza Yoswa mu maaso g'Abaisiraeri bonna; ne bamutya, nga bwe baatyanga Musa, ennaku zonna ez'obulamu bwe.
15
Mukama n'agamba Yoswa ng'ayogera nti,
16
“Lagira bakabona abasitula essanduuko ey'obujulirwa bambuke okuva mu Yoludaani.”
17
Awo Yoswa n'alagira bakabona ng'ayogera nti, “Mwambuke muve mu Yoludaani.”
18
Awo, bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe baamala okwambuka okuva mu Yoludaani; n'ebigere bya bakabona bwe byalinnya ku lukalu, amazzi ga Yoludaani, ne gaddamu okukulukuta n'okwanjaala ku mbalama zaagwo ng'edda.
19
Abantu ne basomoka Yoludaani ku lunaku olw'ekkumi mu mwezi ogwolubereberye, ne basula e Girugaali mu buvanjuba bwa Yeriko.
20
N'amayinja gali ekkumi n'abiri (12) ge baggya mu Yoludaani, Yoswa n'agasimba mu Girugaali.
21
N'agamba abaana ba Isiraeri nti, “Abaana bammwe bwe banaabuuzanga bakitaabwe mu biro ebigenda okujja, nti, ‘Amakulu g'amayinja gano ki?’
22
ne mulyoka mutegeezanga abaana bammwe, nga mwogera nti, ‘Abaisiraeri baasomoka omugga guno Yoludaani nga mukalu.’
23
Kubanga Mukama Katonda wammwe yakaliza amazzi ga Yoludaani mu maaso gammwe, okutuuka bwe mwamala okusomoka, nga Mukama Katonda wammwe bwe yakola Ennyanja Emmyufu, gye yakaliza mu maaso gaffe, okutuuka bwe twamala okusomoka,
24
amawanga gonna ag'ensi galyoke gamanye omukono gwa Mukama nga gwa maanyi; batyenga Mukama Katonda wammwe emirembe egitaggwaawo.”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24