bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 8
Joshua 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 9 →
1
Mukama n'agamba Yoswa nti, “Totya, so toterebuka; twala abalwanyi bonna olumbe Ayi. Nkuwadde okuwangula kabaka w'e Ayi n'abantu be, n'ekibuga kye, n'ensi ye;
2
era olikola Ayi ne kabaka waamu nga bwe wakola Yeriko ne kabaka waamu. Naye omunyago gwakyo awamu n'ente zaakyo mulibyetwalira okuba omunyago gwammwe. Muteegere ekibuga emabega waakyo.”
3
Awo Yoswa n'abalwanyi be bonna ne bagenda okulumba Ayi; Yoswa n'alonda abalwanyi, abazira, emitwalo esatu (30,000), n'abasindika ekiro.
4
N'abalagira nti, “Laba munaategeera ekibuga emabega waakyo, naye nga temuli wala nakyo, mwetegeke mwenna okulumba.
5
Nze n'abantu bonna abali nange tunaasemberera ekibuga; awo, bwe banajja okutulumba, ng'olubereberye, ne tulyoka tudduka okuva mu maaso gaabwe;
6
Bajja kutuwondera okutuusa nga tumaze okubasendasenda beesuule nnyo ekibuga. Bajja kulowooza nti tubadduse nga bwe twakola olwasooka;
7
nammwe munaagolokoka we muteegedde, ne muwamba ekibuga; kubanga Mukama Katonda wammwe anaakibawa ne mukiwangula.
8
Awo, bwe munaamala okuwamba ekibuga, ne mu kyokya omuliro nga Mukama bwe yabagamba. Nze mbalagidde.”
9
Yoswa n'abasindika; ne bagenda we banaateegera, ne babeera wakati wa Neseri ne Ayi, ku luuyi olw'ebugwanjuba olw'e Ayi; naye ekiro ekyo, Yoswa n'asula n'abantu mu lusiisira.
10
Yoswa n'akeera enkya n'akuŋŋaanya abantu wamu n'abakadde ba Isiraeri, n'abakulembera ne bagenda e Ayi.
11
Abalwanyi bonna abaali naye, ne basembera mu maaso g'ekibuga ne basiisira ku luyi olw'obukiikakkono obwa Ayi; nga waliwo ekiwonvu wakati waabwe ne Ayi.
12
N'atwala abantu ng'enkumi ttaano (5,000), n'abateekateeka ne bategeera wakati wa Beseri ne Ayi, ku luuyi lw'ekibuga olw'ebugwanjuba.
13
Bwe batyo bwe baateekateeka abalwanyi, eggye eddene lyali mu bukiikakkono obw'ekibuga, ate n'abateezi baabwe nga baali ebugwanjuba obw'ekibuga; Yoswa ye, n'agenda ekiro ekyo wakati mu kiwonvu.
14
Awo olwatuuka kabaka we Ayi bwe yalaba abalwanyi ba Yoswa, ye n'abantu be bonna ab'omukibuga ne bayanguwa ku makya okugenda okulwana ne Yoswa n'abalwanyi be abaali mu kiwonvu Alaba. Naye Kabaka teyamanya nti waaliwo abaali bamuteeze emabega w'ekibuga.
15
Yoswa n'Abaisiraeri bonna ne beefuula ng'ababatidde ne baddukira mu kkubo ery'eddungu.
16
N'abantu bonna abaali mu kibuga ne bakuŋŋaanyizibwa okubawondera. Ne bagoba Yoswa; naye ne yeyongerayo okutuusa lwe beesuulira ddala ekibuga.
17
Ne mutasigala muntu mu Ayi newakubadde mu Beseri, ataagenda kugoba Isiraeri; ekibuga ne kisigala nga kiggule.
18
Mukama n'agamba Yoswa nti, “Galula omuwunda oguli mu mukono gwo ku Ayi; kubanga nnaakikuwa mu mukono gwo. Yoswa n'agalula omuwunda ogwali mu mukono gwe eri ekibuga.”
19
Yoswa bwe yamala okugalula omuwunda, abateezi ne bafubutuka okuva we baali bateegedde, ne bayingira ekibuga, ne bakimenya mangu ne bakyokya omuliro.
20
Ab'e Ayi, abaali bagoba Yoswa, bwe baatunula emabega waabwe, ne balaba omukka oguva mu kibuga nga gunyookera mu bbanga ne baggwamu amaanyi nga tebalina wakuddukira. Awo Abaisiraeri be baali bagoba ne babakyukira okubalumba.
21
Yoswa n'Abaisiraeri bonna bwe baalaba ng'abateezi baabwe bamenye ekibuga, nga n'omukka gunyooka mu kibuga awo nabo ne bakyuka nate, ne batta ab'e Ayi.
22
Abaisiraeri abaali mu kibuga ne bavaayo okubalumba; Abe Ayi ne babeera wakati mu ba Isiraeri eruuyi n'eruuyi; ne babakuba, obutaganya muntu n'omu okusigalawo newakubadde okudduka.
23
Kabaka we Ayi ne bamukwata nga mulamu, ne bamuleeta eri Yoswa.
24
Awo, Abaisiraeri bwe baamala okuttira ddala ab'e Ayi abaali babawondedde mu ddungu ne baggweerawo ddala, ne balyoka bakomawo mu kibuga ne batta bonna abaali basigaddewo.
25
Abantu bonna abaali mu Ayi, abasajja n'abakazi abattibwa ku lunaku olwo, baali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000).
26
Yoswa teyassa mukono gwe, gwe yagaluza omuwunda okutuusa lwe yamala okuzikiririza ddala abantu bonna abaali mu Ayi.
27
Wabula ente n'ebintu ebirala byonna Abaisiraeri bye baggya mu kibuga, ne babyetwalira okuba omunyago ng'ekigambo kya Mukama kye yalagira Yoswa bwe kyali.
28
Yoswa n'ayokya Ayi bw'atyo, n'akireka nga matongo, ne kaakano.
29
Yoswa n'awanika kabaka we Ayi ku muti, okutuusa enjuba bwe yagwa. Awo n'alagira omulambo gwe okuggyibwa ku muti, ne bagusuula ku wankaaki w'ekibuga ne bagutuumako entuumu ennene ey'amayinja, ekyaliwo ne kaakano.
30
Awo Yoswa n'alyoka azimbira Mukama, Katonda wa Isiraeri ekyoto ku lusozi Ebali.
31
N'akizimba ng'agoberera ebiragiro bya Musa omuweereza wa Mukama, bye yawa abaana ba Isiraeri, era nga bwe byawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka ga Musa nti, “Ekyoto kinaazimbibwanga n'amayinja amalamba agatayasibbwangako na kyuma kyonna.” Awo ne balyoka bakiweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, n'ebiweebwayo eby'emirembe.
32
Awo Yoswa n'awandiika ku mayinja ago amateeka ga Musa ng'abaana ba Isiraeri balaba.
33
Awo abaana ba Isiraeri bonna, enzaalwa ne bannamawanga ababeera mu bo, n'abakadde baabwe, n'abaami, n'abalamuzi baabwe, ne bayimirira eruuyi n'eruuyi lw'Essanduuko, nga batunuulidde bakabona Abaleevi, abasitudde Essanduuko eyo ey'Endagaano ya Mukama. Ekitundu kyabwe ekimu eky'okubiri, baayimirira nga batunuulidde olusozi Gerizimu, n'ekitundu ekirala nga batunuulidde olusozi Ebali. Bw'atyo Musa omuweereza wa Mukama bwe yabalagira okusookanga okukola, nga bagenda okusabira abantu ba Isiraeri omukisa.
34
Oluvannyuma Yoswa n'asoma ebigambo byonna eby'amateeka, omukisa n'okukolimirwa, nga byonna bwe byawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka.
35
Tewaali kigambo mu byonna Musa bye yalagira, Yoswa ky'ataasomera kibiina ky'abaana ba Isiraeri, omwali abakazi, abaana, ne bannamawanga abaatambuliranga mu bo.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24