bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 6
Joshua 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 7 →
1
Yeriko kyali kiggaliddwawo ddala olw'okutya abaana ba Isiraeri; tewaali afuluma, newakubadde ayingira.
2
Mukama n'agamba Yoswa nti, “Laba, Yeriko nkikuwadde mu mukono gwo, ne kabaka waamu, n'abazira ab'amaanyi.
3
Era mulikyetooloola ekibuga, abalwanyi mwenna, nga mukyetooloola omulundi gumu buli lunaku. Bw'onookolanga bw'otyo okumala ennaku mukaaga.
4
Ne bakabona omusanvu balisitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja nga bakulembedde essanduuko. Ku lunaku olw'omusanvu mulyetooloola ekibuga emirundi musanvu, nga bakabona bafuuwa eŋŋombe.
5
Awo, bwe balifuuwa eŋŋombe ez'amayembe ag'endiga ensajja, era bwe muliwulira eddoboozi ery'eŋŋombe, abantu bonna ne balyoka baleekaanira waggulu n'eddoboozi eddene; bbugwe w'ekibuga n'agwiira ddala wansi, olwo eggye lyonna ne liyingira butereevu mu kibuga.”
6
Awo Yoswa, omwana wa Nuuni, n'ayita bakabona, n'abagamba nti, “Musitule essanduuko ey'endagaano, era bakabona omusanvu basitule eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja bakulembere essanduuko ya Mukama.”
7
N'agamba abantu nti, “Mutambule, mwetooloole ekibuga, n'abalina eby'okulwanyisa bakulembere essanduuko ya Mukama.”
8
Awo, Yoswa bwe yamala okwogera n'abantu, bakabona omusanvu abaasitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja mu maaso ga Mukama ne batambula nga bafuuwa eŋŋombe; essanduuko ey'endagaano ya Mukama ng'ebavaako emabega.
9
Abalina eby'okulwanyisa ne bakulembera bakabona abaafuuwa eŋŋombe, ab'emabega ne bagoberera essanduuko, nga bafuuwa eŋŋombe.
10
Yoswa n'alagira abantu nti, “ Temuleekaana n'eddoboozi lyammwe lireme okuwulirwa, n'ekigambo kyonna kireme okuva mu kamwa kammwe, okutuusa ku lunaku lwe ndibalagira okuleekaana; ne mulyoka muleekaana.”
11
Bwe batyo ne beetoolooza essanduuko ya Mukama ekibuga omulundi gumu. Ne baddayo mu lusiisira lwabwe ne basula omwo.
12
Olunaku olwokubiri ku makya Yoswa n'agolokoka, ne bakabona ne basitula essanduuko ya Mukama.
13
Ne bakabona omusanvu abaasitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja ne bakulembera essanduuko ya Mukama, nga bafuuwa eŋŋombe obutasalako; n'abalina eby'okulwanyisa nga babakulembedde. N'abaali emabega w'Essanduuko ya Mukama ne bafuuwa eŋŋombe nga batambula.
14
Ku lunaku olwo olwokubiri ne beetooloola ekibuga omulundi gumu, ne baddayo mu lusiisira. Ne bakola bwe batyo okumala ennaku mukaaga.
15
Awo ku lunaku olw'omusanvu ne bakeera enkya mu matulutulu, ne beetooloola ekibuga emirundi musanvu nga bulijjo. Naye ku lunaku olwo lwokka lwe beetooloola ekibuga emirundi omusanvu.
16
Awo ku mulundi ogw'omusanvu, bakabona bwe baafuuwa eŋŋombe, Yoswa n'agamba abantu nti, “Muleekaane; kubanga Mukama abawadde ekibuga.
17
Ekibuga ne byonna ebikirimu biweereddwayo eri Mukama bizikirizibwe; okuggyako Lakabu omwenzi ne bonna abali awamu naye mu nnyumba ye be baliwona, kubanga Lakabu yakweka abakessi be twatuma.
18
Nammwe mwewalire ddala okutwala ku biweereddwayo eri Mukama okuzikirizibwa muleme okuleetera olusiisira lwa Isiraeri emitawaana n'okuzikirizibwa.
19
Naye effeeza yonna n'ezaabu, n'ebintu eby'ebikomo n'eby'ebyuma, bye bitukuvu eri Mukama; birireetebwa ggwanika lya Mukama.”
20
Awo bwe baafuuwa eŋŋombe, abantu ne bawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, ne baleekaana n'eddoboozi eddene, bbugwe n'agwiira ddala wansi, eggye lyonna neriyingira butereevu mu kibuga.
21
Ne bazikiririza ddala ebyali mu kibuga byonna, abasajja n'abakazi, abato n'abakulu, n'ente, n'endiga, n'endogoyi, ne babitta n'ekitala.
22
Yoswa n'agamba abasajja ababiri abaaketta ensi nti, “Mugende mu nnyumba ey'omukazi omwenzi, mumufulumye n'abantu be bonna ne by'alina byonna nga bwe mwamulayirira.”
23
Abavubuka abakessi ne bayingira, ne bafulumya Lakabu, ne kitaawe, ne nnyina, ne baganda be, n'ekika kye kyonna, ne byonna by'alina; ne babafulumya, ne babateeka ebweru mu lusiisira lwa Isiraeri.
24
Ekibuga ne bakyokya omuliro, n'ebyalimu byonna; naye effeeza n'ezaabu n'ebintu eby'ekikomo, n'eby'ebyuma byonna baabissa mu ggwanika ery'ennyumba ya Mukama.
25
Naye Yoswa n'awonya Lakabu omwenzi, n'ab'ennyumba ya kitaawe, ne byonna bye yalina. Lakabu n'abeera wakati mu Isiraeri, okutuusa kaakano; kubanga yakweka abakessi, Yoswa be yatuma okuketta Yeriko.
26
Yoswa n'abalayiza ekirayiro mu biro ebyo, ng'ayogera nti, “Akolimirwe mu maaso ga Mukama oyo aliyimirira n'azimba ekibuga kino Yeriko.” “Buli alissaawo omusingi gwakyo, alifiirwa omwana we omuggulanda. Buli aliwangamu enzigi zaakyo, alifiirwa omwana we omuggalanda.”
27
Bw'atyo Mukama yabeeranga ne Yoswa; n'ayatiikirira mu nsi yonna.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24