bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 22
Joshua 22
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
1
Awo Yoswa n'ayita Abalewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase,
2
n'abagamba nti, “Mukutte byonna Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira, era muwulidde eddoboozi lyange mu byonna bye nnabalagira;
3
temulese baganda bammwe ennaku ezo ennyingi okutuuka leero, naye mukutte ekiragiro eky'etteeka lya Mukama Katonda wammwe.
4
Ne kaakano Mukama Katonda wammwe awummuzizza baganda bammwe, nga bwe yabagamba; kale kaakano mukyuke muyingire mu weema zammwe (mugende) mu nsi ey'obutaka bwammwe, Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa emitala wa Yoludaani.
5
Naye mwekuumenga nnyo okukwatanga ekiragiro n'etteeka, Musa omuweereza wa Mukama lye yabalagira, okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okukwatanga amateeka ge, n'okwegattanga naye, n'okumuweerezanga n'omutima gwammwe gwonna era n'emmeeme yammwe yonna.”
6
Awo Yoswa n'abasabira omukisa, n'abasindika; ne bayingira mu weema zaabwe.
7
Naye ekitundu ekimu eky'ekika kya Manase Musa yakiwa (obusika) mu Basani; naye ekitundu eky'okubiri Yoswa n'akiwa mu baganda baabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba. Era Yoswa bwe yabasindika mu weema zaabwe, n'abasabira omukisa,
8
n'abagamba nti, “Muddeyo n'ebintu bingi mu weema zammwe, n'ente nnyingi nnyo, n'effeeza, ne zaabu, n'ebikomo, n'ebyuma, n'engoye nnyingi nnyo; mugabane omunyago ogw'abalabe bammwe ne baganda bammwe.”
9
N'abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne baddayo nga bava mu baana ba Isiraeri mu Siiro, ekiri mu nsi ya Kanani, okugenda mu nsi ya Gireyaadi, mu nsi ey'obutaka bwabwe, gye baalya, nga Mukama bwe yalagira okuyita mu Musa.
10
Bwe baatuuka ku lubalama lwa Yoludaani ebugwanjuba mu nsi ya Kanani, abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu ky'ekika kya Manase ne bazimba awo ekyoto ekinene ennyo ekyewuunyisa.
11
Awo abaana ba Isiraeri abalala, bwe bawulira abantu nga boogera nti, “Laba abaana ba Lewubeeni, n'abaana ba Gaadi n'ekitundu kye kika kya Manase, bazimbye ekyoto ku nsalo ye nsi ya Kanani, mu kitundu ky'omugga Yoludaani, ku luuyi olw'abaana ba Isiraeri.”
12
Abaana ba Isiraeri bwe baakiwulira bonna ne bakuŋŋaanira e Siiro babalwanyise.
13
Abaana ba Isiraeri ne batuma Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase, mu nsi ye Gireyaadi;
14
era awamu naye abakulu kkumi, buli kika kya Isiraeri omukulu omu ow'ennyumba ya bakitaabwe; buli omu yali mutwe gw'ennyumba za bakitaabwe mu bika bya Isiraeri.
15
Ne bajja eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase, mu nsi ya Gireyaadi, ne babagamba,
16
“Lwaki mwonoonye bwe mutyo mu maaso ga Mukama Katonda wa Isiraeri? Mukama mumujemedde nga mwezimbira ekyoto kino! mumuvuddeko, temukyamugoberera!
17
Era twongere ku kibi kye twakolera e Peoli, kye tutannaba na kwenaazaako n'okutuusa kaakano, newakubadde nga Mukama yasindika kawumpuli mu bantu be?
18
Mwagala kumuvaako leero? Singa mumujeemera olwa leero, enkya ajja kusunguwalira ekibiina kya Isiraeri kyonna.
19
Naye kaakano oba ng'ensi yammwe tegwanira kusinzizaamu, mujje mu nsi ya Mukama omuli eweema ye, mwefunire ettaka mu ffe, naye temujeemera Mukama, oba okutufuula abajeemu nga muzimba ekyoto ekirala, ng'ate ekyoto kya Mukama Katonda waffe weekiri.
20
Akani mutabani wa Zeera, bwe yagaana okuwulira ekiragiro ekifa ku bintu ebyali eby'okuzikiriza, ekibiina kyonna ekya Isiraeri tekyabonerezebwa? Akani si ye yekka eyafa olw'ekibi kye.”
21
Abaana ba Lewubeeni, n'abaana ba Gaadi n'ekitundu ky'ekika kya Manase ne baddamu abakulu be nnyumba zaba Isiraeri abalala nti,
22
Mukama, Katonda ow'obuyinza, Mukama, Katonda ow'obuyinza; ye amanyi, era nammwe twagala mumanye kye twakola, ddala oba nga twakikola lwa bujeemu, na lwa kw'eggya ku Mukama, ku luno temutusaasira,
23
oba nga twazimba ekyoto lwa kujeemera Mukama, tuleme okumugoberera, oba okukiweerako ekiweebwayo ekyokebwa, oba ekiweebwayo eky'obutta, oba okukiweerako ssaddaaka ezebiweebwayo olw'emirembe, Mukama yennyini atubonereze.
24
Naye twakikola kubanga twatya nti gye bujja abaana bammwe bayinza okubuuza abaana baffe nti, “Mulina nkolagana ki ne Mukama Katonda wa Isiraeri?”
25
Kubanga Mukama yafuula Yoludaani okuba ensalo wakati waffe nammwe abaana ba Lewubeeni n'aba Gaadi, n'olwekyo temulina mugabo eri Mukama. Bwe batyo abaana bammwe bandiziyiza abaana baffe okusinza Mukama.
26
Kyetwava tuzimbe ekyoto, si lwa kuweerako ebyokye oba ssaddaaka,
27
naye kibeere obujulirwa wakati waffe nammwe, n'ab'omu mirembe egiriddawo nti ddala tusinza Mukama era tuwaayo mu maaso ge ebiweebwayo olw'emirembe, gye bujja abaana bammwe baleme okugamba abaana baffe nti, “Temulina mugabo eri Mukama.”
28
Kyetwava twogera nti Bwe balitugamba bwe batyo ffe oba emirembe gyaffe mu biro ebigenda okujja, ne tubaddamu nti, ekyo kye kyoto ekifaanana ekya Mukama, bajjajjaffe kye bazimba, si lwa byokye oba lwa ssaddaaka; naye kibeere obujulirwa wakati waffe nammwe.
29
Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama, n'okukyama leero obutagoberera Mukama, okuzimba ekyoto olw'ebiweebwayo ebyokebwa, oba ebiweebwayo eby'obutta, oba olwa ssaddaaka, okuggyako ekyoto kya Mukama Katonda waffe ekiri mu maaso g'eweema ye.
30
Awo Finekaasi kabona n'abakulembeze b'ennyumba za baana ba Isiraeri abaali awamu naye, bwe baawulira ebigambo abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'abaana ba Manase bye bayogera, ne basanyuka nnyo.
31
Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona n'agamba nti, “Kaakano tutegedde nga Mukama ali wakati mu ffe, kubanga temwamujeemera, muwonyezza Abaisiraeri okubonerezebwa Mukama.”
32
Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona, n'abakulu, ne bakomawo nga bava eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi, mu nsi ya Gireyaadi, ne baddayo, eri abaana ba Isiraeri ne babategeeza ebibaddewo.
33
Ebigambo ebyo ne bisanyusa abaana ba Isiraeri ne batendereza Katonda, ne bataddayo kwogera ku byakugenda kulwanyisa ba Lewubeeni n'aba Gaadi n'okuzikiriza ensi mwe babeera.
34
Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi ne batuuma ekyoto ekyo erinnya Edi; ekitegeeza nti bwe bujjulirwa wakati mu ffe nga Mukama ye Katonda.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24