bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 10
Joshua 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 11 →
1
Awo, Adonizedeki kabaka w'e Yerusaalemi bwe yawulira engeri Yoswa gye yamenya Ayi, era n'akizikiririza ddala, era n'akola Ayi ne kabaka wakyo; kye yakola Yeriko ne kabaka waamu, era n'awulira nti abantu b'e Gibyoni baalagaana n'Abaisiraeri endagaano ey'emirembe era nga babeera mu bo.
2
Kabaka n'abantu be, ne balyoka batya nnyo, kubanga Gibyoni kyali kibuga kinene, ng'ebibuga bya bakabaka bwe byali, era nga kyali kisinga Ayi obunene, n'abantu baayo bonna baali bazira.
3
Adonizedeki, kabaka w'e Yerusaalemi, kyeyava atumira Kokamu, kabaka w'e Kebbulooni, Piramu, kabaka w'e Yalamusi, Yafiya, kabaka w'e Lakisi, ne Debiri, kabaka w'e Eguloni, ng'ayogera nti,
4
“Mujje munnyambe tukube Gibyoni; kubanga abaayo baalagaana endagaano ey'emirembe ne Yoswa n'abaana ba Isiraeri.”
5
Awo bakabaka abataano ab'Abamoli, kabaka w'e Yerusaalemi, kabaka w'e Kebbulooni, kabaka w'e Yalamusi, kabaka w'e Lakisi, ne kabaka w'e Eguloni, ne begatta wamu ne batwala eggye lyabwe lyonna, ne basiisira okwebungulula Gibyoni bakirwanyise.
6
N'ab'e Gibyoni ne batumira Yoswa mu lusiisira e Girugaali ne bamugamba nti, “Totulekerera, jjangu mangu otudduukirire, otuwonye, kubanga bakabaka bonna ab'Abamoli abatuula mu nsi ey'ensozi batulumbye okutuzikiriza.”
7
Awo Yoswa n'ava e Girugaali n'ajja ng'ali n'abalwanyi be bonna, abazira abamaanyi.
8
Mukama n'agamba Yoswa nti, “Tobatya; kubanga mbakuwadde mu mikono gyo, tewaabe muntu mu bo anaayimirira mu maaso go.”
9
Awo Yoswa najja mangu gyebali, ng'atambudde ekiro kyonna okuva e Girugaali.
10
Mukama n'aleetera Abamoli encukwe mu maaso ga Isiraeri, ne battira ddala bangi, mu bo e Gibyoni; abaasigalawo ne babawondera mu kkubo eryambuka e Besukolooni, ne babakuba okutuusiza ddala e Azeka n'e Makedda.
11
Awo, Abamoli bwe baali nga badduka Abaisiraeri, Mukama n'atonnyesa amayinja amanene ag'omuzira, ne gabakuba. Abattibwa amayinja ago ag'omuzira, ne basinga obungi abo abaana ba Isiraeri be batta n'ekitala.
12
Awo Yoswa n'ayogera ne Mukama ku lunaku Mukama lwe yawaayo Abamoli mu maaso g'abaana ba Isiraeri; n'ayogera mu maaso ga Isiraeri nti, “Ggwe enjuba yimirira waggulu wa Gibyoni; Naawe omwezi, yimirira waggulu w'ekiwonvu Ayalooni.”
13
Enjuba n'eyimirira, Omwezi ne gulinda, Okutuusa eggwanga lwe lyamala okuwangula abalabe baalyo. Kino kyawandiikibwa mu Kitabo kya Yasali. Enjuba yalindira ku ggulu wakati, n'etayanguyiriza kugwa, okumala ng'olunaku lulamba.
14
Tewabangawo lunaku era tewaliba lulala olwenkana ng'olwo, Mukama okuwulira omuntu; kubanga Mukama yalwanirira Isiraeri.
15
Ebyo bwe byaggwa, Yoswa n'akomawo n'Abaisiraeri bonna mu lusiisira e Girugaali.
16
Awo bakabaka abo abataano (5) ne badduka, ne beekweka mu mpuku e Makkeda.
17
Ne babuulira Yoswa nti, “Bakabaka abataano (5) tubalabye, nga beekwese mu mpuku e Makkeda.”
18
Yoswa n'ayogera nti, “Muyiringisirize amayinja amanene ku mulyango gw'empuku, mugiteekeko abantu bagikuume;
19
naye mmwe temulinda; muwondere abalabe bammwe, mubakube nga mubava emabega; temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe; kubanga Mukama Katonda wammwe ababawadde mmwe okubawangula.”
20
Awo Yoswa n'abaana ba Isiraeri ne batta abantu bangi nnyo, kumpi kubamalirawo ddala, okuggyako abo abaayingira mu bibuga ebiriko ebigo.
21
Awo abantu bonna ne balyoka bakomawo mu lusiisira eri Yoswa e Makkeda n'emirembe; tewaali muntu n'omu mu nsi eyo eyaguma okwogera obubi ku baana ba Isiraeri.
22
Awo Yoswa n'alyoka agamba nti, “ Mugguleewo omulyango gw'empuku, muggyemu bakabaka bali abataano (5).”
23
Ne bakola bwe batyo, ne baggyamu bakabaka bali abataano (5) ne babamuleetera, ow'e Yerusaalemi, ow'e Yalamusi, ow'e Lakisi, n'ow'e Eguloni.
24
Awo, bwe baggyamu bakabaka bali ne babaleetera Yoswa, Yoswa n'ayita abasajja bonna aba Isiraeri, n'agamba abakulembeze ab'abalwanyi abaagenda naye nti, “Mujje, musse ebigere byammwe mu bulago bwa bakabaka bano.” Ne bajja, ne bassa ebigere byabwe mu bulago bwabwe.
25
Yoswa n'abagamba nti, “Temutya, so temukankana; muddemu amaanyi, mugume omwoyo; kubanga Mukama bw'alibakola bw'atyo abalabe bammwe bonna be mulirwana nabo.”
26
Oluvannyuma Yoswa n'abafumita, n'abatta, n'abawanika ku miti etaano okutuusa olweggulo.
27
Awo enjuba bwe yali egwa, Yoswa n'alagira, ne baggya emirambo gyabwe ku miti, ne bagisuula mu mpuku mwe baali beekwese olubereberye, ne bateeka amayinja amanene ku mulyango gw'empuku, agakyaliwo ne kaakano.
28
Yoswa n'amenya Makkeda ku lunaku olwo, n'akizikiriza ne kabaka waamu n'amutta n'obwogi bw'ekitala; n'azikiririza ddala abantu bonna abaakirimu, n'atalekawo n'omu, n'akola kabaka w'e Makkeda nga bwe yakola kabaka w'e Yeriko.
29
Awo Yoswa n'ava e Makkeda n'Abaisiraeri bonna, n'alumba Libuna okulwana nakyo.
30
Mukama nakyo n'akiwaayo, ne bakiwangula ne kabaka waamu; ne batta bonna abaakirimu obutasigalamu muntu n'omu. Yoswa n'akola kabaka waamu nga bwe yakola kabaka w'e Yeriko.
31
Yoswa n'ava e Libuna, n'alumba Lakisi n'akyebungulula n'akirwanyisa.
32
Era Mukama n'awaayo, Lakisi mu mukono gwa Isiraeri, Yoswa n'akiwangula ku lunaku olwokubiri; n'atta abantu bonna abaakirimu n'ekitala, nga bwe yakola Libuna.
33
Kolamu kabaka w'e Gezeri, n'ajja okuyamba Lakisi; Yoswa n'amukuba n'abantu be bonna obutalekaawo n'omu.
34
Awo Yoswa n'Abaisiraeri bonna, ne bava e Lakisi ne balumba Eguloni ne bakyebungulula ne bakirwanyisa;
35
ne bakimenya ku lunaku olwo, ne batta abantu bonna abaakirimu ku lunaku olwo obutalekaawo n'omu nga bwe baakola Lakisi.
36
Awo Yoswa n'Abaisiraeri bonna ne bava mu Eguloni ne balumba Kebbulooni ne bakirwanyisa.
37
Ne bakimenya ne batta kabaka waamu n'abantu bonna abaali mu bibuga byakyo byonna, ne batalekaawo muntu yenna nga bwe baakola Eguloni.
38
Yoswa n'akomawo, n'Abaisiraeri bonna, ate n'alumba Debiri n'akirwanyisa;
39
n'akimenya, n'atta abantu bonna abaali mu bibuga byakyo obutalekaawo n'omu. Yoswa n'akola Debiri ne kabaka waamu, nga bwe yakola Kebbulooni ne Libuna ne bakabaka baamu.
40
Bw'atyo Yoswa n'awangula ensi zonna ezo, ensi ey'ensozi, ey'obukiikaddyo, ey'ensenyi, ey'ebiwonvu; ne bakabaka baamu bonna, n'atta abantu bonna abaazirimu, obutalekaawo n'omu, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yalagira.
41
Yoswa n'abawangula okuva e Kadesubanea okutuuka ku Gaza; n'azingiramu ensi yonna ey'e Goseni okutuuka e Gibyoni.
42
Ne bakabaka abo bonna n'ensi zaabwe, Yoswa n'abawangula omulundi gumu, kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, yalwanirira Isiraeri.
43
Awo Yoswa n'eggye lyonna erya Isiraeri ne bakomawo mu lusiisira e Girugaali.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24