bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 24
Joshua 24
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
1
Yoswa n'akuŋŋaanyiza ebika byonna ebya Isiraeri mu Sekemu, n'ayita abakulembeze be nnyumba z'ebika bya baana ba Isiraeri n'emitwe gyabwe n'abalamuzi baabwe, n'abaami baabwe; ne bajja mu maaso ga Katonda.
2
Yoswa n'agamba abantu bonna nti, “Mukama, Katonda wa Isiraeri agamba nti, ‘Edda bajjajjammwe baabeeranga emitala w'Omugga Fulaati, Teera, kitaawe wa Ibulayimu era kitaawe wa Nakoli; ne basinzanga bakatonda abalala.
3
Ne ntwala jjajjammwe Ibulayimu ne mmuggya emitala w'Omugga, ne mmuleeta mu nsi yonna eya Kanani, ne njaza ezzadde lye, ne mmuwa Isaaka.
4
Isaaka n'amuwa Yakobo ne Esawu; ne mpa Esawu Seyiri ensi ey'ensozi okuba eyiye; Yakobo n'abaana be ne baserengeta mu Misiri.
5
Oluvannyuma nnentuma Musa, ne mbonyaabonya Misiri mu ebyo bye n'akolerayo, ne ndyoka mbaggyayo mmwe.
6
Nenzigya bajjajjammwe e Misiri, ne baatuka ku nnyanja emyufu. Abamisiri ne babawondera n'amagaali n'abeebagadde embalaasi.
7
Bajjajjammwe ne bankoowoola nze Mukama mbayambe. Nnenteekawo ekizikiza wakati waabwe n'Abamisiri. Nnenteekawo ekkubo mu nnyanja, bajjajjammwe ne bayitawo, Abamisiri bwe baabawondera ne mbazikiririza mu nnyanja, ne mbasanyawo; era mwalaba na maaso gammwe bye nnakola mu Misiri; era mwamala ennaku nnyingi nnyo mu ddungu.
8
Ne mbaleeta mu nsi ey'Abamoli, abaali ku ludda olw'ebuvanjuba olw'omugga Yoludaani; ne balwana nammwe, ne mbawa mwe okubawangula ne mutwala ensi yaabwe, ne mbazikiririza ddala mu maaso gammwe.
9
Awo Balaki omwana wa Zipoli, kabaka wa Moabu, n'agolokoka n'alwana ne Isiraeri; n'atuma n'ayita Balamu omwana wa Byoli okubakolimira,
10
naye ne ŋŋaana okuwulira Balamu; kyeyava abasabira omukisa nate, bwe ntyo ne mbawonya mu mukono gwa Balaki.
11
Ne musomoka Yoludaani, ne mutuuka ku Yeriko, n'ab'e Yeriko ne balwana nammwe, Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi; ne mbabawa ne mubawangula.
12
Ne ntuma ennumba mu maaso gammwe, ne bagoba mu maaso gammwe bakabaka bombi ab'Abamoli; si na kitala kyo newakubadde omutego gwo.
13
Ne mbawa ensi gye mutakolerera n'ebibuga bye mutaazimba, ne mubibeeramu; era ne mulya ne ku bibala by'ensuku ez'emizabbibu ne z'emizayituuni ze mutaasimba.’
14
Kale kaakano mutyenga Mukama, mumuweerezanga mu mazima awatali bukuusa; era muggyeewo bakatonda bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w'Omugga Fulaati, ne mu Misiri; muweerezenga Mukama.
15
Era oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mulonde leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda bajjajjammwe abaali emitala w'Omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab'Abamoli, bannannyini nsi mwe muli; naye nze n'ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.”
16
Abantu ne baddamu ne bagamba nti, “Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala;
17
kubanga Mukama Katonda waffe, oyo ye yatulinnyisa ffe ne bajjajjaffe okutuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu, era ye yakola obubonero buli obunene mu maaso gaffe, n'atukuuma mu kkubo lyonna lye twayitamu, ne mu mawanga gonna ge twayitangamu wakati;
18
Mukama n'agobamu amawanga gonna mu maaso gaffe, Abamoli abaali mu nsi; era naffe kyetunaava tuweereza Mukama; kubanga ye Katonda waffe.”
19
Yoswa n'agamba abantu nti, “Temuyinza kuweerezanga Mukama; kubanga ye Katonda omutukuvu; ye Katonda ow'obuggya; taasonyiwenga kwonoona kwammwe newakubadde ebibi byammwe.
20
Bwe munaamuvangako ne muweereza bakatonda abalala, anaabakyukiranga mmwe, n'ababonereza, alibazikiriza, newakubadde nga yasooka kubakolera birungi.”
21
Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Nedda; naye tunaaweerezanga Mukama.”
22
Yoswa n'agamba abantu nti, “Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonze Mukama okumuweerezanga.” Ne boogera nti, “Tuli bajulirwa.”
23
“Kale kaakano muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe, mukyuse omutima gwammwe eri Mukama, Katonda wa Isiraeri.”
24
Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Mukama Katonda waffe tunaamuweerezanga, n'eddoboozi lye tunaaliwuliranga.”
25
Bw'atyo Yoswa n'alagaana endagaano n'abantu ku lunaku olwo, n'abateekera etteeka n'ekiragiro mu Sekemu.
26
Yoswa n'awandiika ebigambo ebyo mu kitabo eky'amateeka ga Katonda; n'atwala ejjinja eddene, n'alisimba awo wansi w'omwera ogwali mu kifo ekitukuvu ekya Mukama.
27
Yoswa n'agamba abantu bonna nti, “Laba, ejjinja lino linaabanga mujulirwa gyetuli; kubanga liwulidde ebigambo byonna ebya Mukama by'atugambye; kyerinaavanga libeera mujulirwa gyetuli, muleme okwegaana Katonda wammwe.”
28
Awo Yoswa n'asiibula abantu, buli muntu agende mu butaka bwe.
29
Awo oluvannyuma lw'ebyo Yoswa omwana wa Nuuni, omuweereza wa Mukama, n'alyoka afa, ng'awangadde emyaka kikumi mu kkumi (110).
30
Ne bamuziika mu ttaka lye, lye yagabana e Timunasusera, mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, ku ludda olw'ebukiikakkono obw'olusozi Gaasi.
31
Abaisiraeri ne baweereza Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n'ennaku zonna ez'abakadde abaasigalawo Yoswa ng'amaze okufa, era abaamanya emirimu gyonna egya Mukama, gye yakolera Isiraeri.
32
Amagumba ga Yusufu, abaana ba Isiraeri ge baleeta nga bava e Misiri, ne bagaziika e Sekemu, mu ttaka Yakobo lye yagula ebitundu bya ffeeza ekikumi (100), ku batabani ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu. Ettaka eryo ne liba obusika bw'abaana ba Yusufu.
33
Eriyazaali mutabani wa Alooni n'afa, ne bamuziika e Gibeya, ekibuga kya mutabani we Finekaasi, ekyamuweebwa mu nsi ya Efulayimu.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24