bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 11
Joshua 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
1
Awo, Yabini kabaka w'e Kazoli bwe yawulira obuwanguzi bwa Isiraeri, n'atumira Yobabu kabaka w'e Madoni, ne kabaka w'e Simuloni, ne kabaka w'e Akusafu,
2
ne bakabaka abaali ku luuyi olw'obukiikakkono, mu nsi ey'ensozi, ne mu Alaba ku luuyi olw'obukiikaddyo olw'e Kinnerosi, ne mu nsenyi, ne mu nsozi ez'e Doli ku luuyi olw'ebugwanjuba.
3
Era n'atumira n'Abakanani ab'ebuvanjuba n'ebugwanjuba, n'Abamoli, n'Abakiiti, n'Abaperizi, n'Abayebusi ab'omu nsi ey'ensozi, n'Abakiivi mu nsi ey'e Mizupa, olusozi Kerumooni gye lusimba.
4
Awo ne bajja, buli omu n'eggye lye, ne baba bangi ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja, n'embalaasi n'amagaali bingi nnyo.
5
Awo bakabaka abo bonna ne bakuŋŋaana; ne bajja ne basiisira wamu ku mazzi ag'e Meromu, okulwana ne Isiraeri.
6
Mukama n'agamba Yoswa nti, “Tobatya abo, kubanga enkya nga kaakano nnaaba mmaze okubawaayo eri Isiraeri nga bafu. Embalaasi zaabwe onoozitema enteega, n'amagaali gaabwe onoogokya omuliro.”
7
Awo Yoswa n'ajja, n'abalwanyi be bonna n'abazinduukiriza ku mazzi g'e Meromu nga tebamanyi.
8
Mukama n'abawaayo mu mukono gwa Isiraeri, ne babakuba, ne babawondera okutuuka ku Sidoni ekinene, ne ku Misurefosumayimu, ne ku kiwonvu eky'e Mizupe mu buvanjuba. Ne babatta obutalekaawo n'omu nga mulamu.
9
Yoswa n'abakola nga Mukama bwe yamulagira; n'atema embalaasi zaabwe enteega, n'amagaali gaabwe n'agokya omuliro.
10
Mu biro ebyo, Yoswa n'adda emabega n'akuba Kazoli, ne kabaka waamu n'amutta n'ekitala. Edda Kazoli kye kyali ekibuga ekikulu eky'obwakabaka obwo bwonna.
11
Ne batta abantu bonna abaalimu ne batalekaawo n'omu nga mulamu, n'ekibuga ne bakyokya omuliro.
12
Yoswa n'awamba ebibuga ne bakabaka baamu bonna, n'atta buli muntu obutalekaawo n'omu, nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira.
13
Naye ebibuga ebyazimbimbwa ku bifunvu, Abaisiraeri tebaayokyako n'ekimu, okuggyako Kazoli kyokka, Yoswa kye yayokya.
14
Abaana ba Isiraeri ne beetwalira omunyago gw'ebibuga ebyo awamu n'ente, naye ne batta buli muntu yenna obutalekaawo n'omu.
15
Nga Mukama bwe yalagira Musa omuweereza we, bw'atyo ne Musa bwe yalagira Yoswa; ne Yoswa bw'atyo bwe yakola n'ataleka kintu kyonna obutakikola mu byonna Mukama bye yalagira Musa.
16
Bw'atyo Yoswa bwe yawamba ensi eyo yonna, ensi ey'ensozi, n'ey'obukiikakkono n'ey'obukiikaddyo, n'ekitundu kyonna ekya Goseni, n'ensi ey'ensenyi, ne Alaba, n'ensi ey'ensozi eya Isiraeri n'ekiwonvu kyayo;
17
n'okuva ku lusozi Kalaki, okwambuka e Seyiri, n'okutuuka e Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni ekiri wansi w'olusozi Kerumooni. Bakabaka baayo bonna n'abawamba, n'abafumita n'abatta.
18
Yoswa yalwawo ng'alwana ne bakabaka abo bonna.
19
Tewali kibuga ekyalagaana emirembe n'abaana ba Isiraeri, okuggyako Abakiivi abaali mu Gibyoni. Ebibuga ebirala byonna babiwambira mu kulwana.
20
Kubanga Mukama yabakakanyaza emitima gyabwe, okujja okulwana ne Isiraeri, alyoke abazikiririze ddala, awatali kisa, nga Mukama bwe yalagira Musa.
21
Mu biro ebyo Yoswa n'agenda n'azikiririza ddala Abanaki mu nsi ey'ensozi, mu Kebbulooni, mu Debiri, mu Anabi, ne mu nsi yonna ey'ensozi eya Yuda, ne mu nsi yonna ey'ensozi eya Isiraeri; Yoswa n'abazikiririza ddala, wamu n'ebibuga byabwe.
22
Tewaali b'Anaki abaasigalawo mu nsi ey'abaana ba Isiraeri; wabula mu Gaza, mu Gaasi, ne mu Asudodi, mwe mwasigala abamu.
23
Bw'atyo Yoswa n'awamba ensi eyo yonna, nga Mukama bwe yagamba Musa. Yoswa n'awa Abaisiraeri ensi eyo okuba obusika bwabwe, nga buli kika akiwa ekitundu ekyakyo. Awo ensi n'ewummula okulwana.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24