bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 14
Joshua 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
1
Buno bwe butaka; Eriyazaali kabona, Yoswa, mutabani wa Nuuni, n'abakulu be bika; bwe bagabira abaana ba Isiraeri mu nsi ya Kanani,
2
Obutaka buno bwagabirwa ebika omwenda n'ekitundu nga bakuba kalulu nga Mukama bwe yalagira Musa.
3
Musa yali amaze okugabira ebika ebibiri n'ekitundu obutaka bwabyo obuvanjuba bwa Yoludaani; naye Abaleevi bo teyabagabira butaka.
4
Bo abaana ba Yusufu bavaamu ebika bibiri, ekya Manase ne Efulayimu; Abaleevi bo tebaweebwa butaka wabula ebibuga eby'okutuulamu, n'ebyalo ebyali biriraanye ettale ery'okulundiramu ente zaabwe n'ebintu byabwe.
5
Abaana ba Isiraeri bagabana ensi nga Mukama bwe yalagira Musa.
6
Lumu ab'omu kika kya Yuda ne bajja eri Yoswa e Girugaali. Kalebu omu kubo mutabani wa Yefune Omukenizi, n'agamba Yoswa nti, “ Omanyi ekigambo Mukama kye yagamba Musa omuddu wa Katonda mu Kadesubanea ekikwata ku nze naawe.
7
Nali mpeza emyaka ana (40). Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva mu Kadesubanea okuketta ensi; naamuleetera amawulire ag'ebintu nga bwe byali ku mutima gwange.
8
Naye baganda bange benagenda nabo ne batiisa abantu, wabula nze nnagobererera ddala Mukama Katonda wange kyayagala.
9
Ku lunaku olwo Musa nandayirira nga agamba nti, ‘nga bw'okoledde ddala ekyo Mukama Katonda wange kyayagala, ekitundu ky'ensi kyolinyemu ekigere kyo kye kiriba obutaka bwo gwe n'abaana bo emirembe gyonna.’
10
Era kaakano, giweze emyaka ana mu etaano (45), kasookedde Mukama agamba Musa ebigambo ebyo. Mu biseera ebyo Isiraeri yali ekyatambulira mu ddungu. Era Mukama ankumye nga ndi mulamu nga bweyasuubiza, kati mpezeza emyaka kinaana mu etaano (85).
11
Era kaakano nkyali wa maanyi nga ku lunaku luli Musa lwe yantumirako, nkyasobola okulwana oba okukola ekintu ekirala kyonna.
12
Kale kaakano mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogerako ku lunaku luli; kubanga wawulira ku lunaku luli; kubanga wawulira ku lunaku luli nga Abanaki bwe baali mu bibuga ebinene ebiriko ebigo, osanga Mukama anaabeera nange, ne mbagobamu, nga Mukama bwe yayogera.”
13
Awo Yoswa n'asabira Kalebu omwana wa Yefune omukisa n'amuwa Kebbulooni okuba obutaka bwe.
14
Okuva olwo Kebbulooni ne kibeera ekya Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi, okutuusa ne kaakano, kubanga Kalebu yagoberera ddala Mukama, Katonda wa Isiraeri.
15
Edda Kebbulooni kyayitibwanga Kiriasualaba, Aluba oyo ye yali asinga obukulu mu ba Anaki. Awo ensi n'ewummula entalo.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24