bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 7
Joshua 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
1
Naye abaana ba Isiraeri ne boonoona bwe baamenya ekiragiro kya Mukama eky'obutatwala ku bintu ebyali eby'okuzikirizibwa; kubanga Akani, mutabani wa Kalumi, muzzukulu wa Zabudi, muzzukulu wa Zeera, ow'omukika kya Yuda, yatwala ku bintu ebyali eby'okuzikirizibwa; obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku baana ba Isiraeri.
2
Yoswa n'atuma abantu okuva mu Yeriko okugenda okuketta ekibuga Ayi, ekiriraanye Besaveni, ku luuyi olw'ebuvanjuba bwa Beseri, n'abagamba nti, “Mugende mukette ekitundu ekyo.” Abantu ne bagenda ne baketta Ayi.
3
Awo ne bakomawo eri Yoswa, ne bamugamba nti, “Abantu bonna tekibeetaagisa kugendayo, wabula abantu ng'enkumi bbiri oba ssatu (2,000 oba 3,000), bagende bakirumbe bakikube. Toteganya bantu bonna kugendayo, kubanga abaayo batono.”
4
Awo abalwanyi ng'enkumi ssatu (3,000), ne bagenda ne balumba Ayi, naye ne badduka mu maaso g'ab'e Ayi.
5
Abasajja ab'e Ayi ne bakuba mu bo abantu ng'asatu mu mukaaga (36), ne babagoba okubaggya ku wankaaki w'ekibuga okubatuusa ku Sebalimu, ne babakubira awaserengeterwa, emitima gy'Abaisiraeri ne giterebuka, ne giba ng'amazzi.
6
Awo Yoswa n'ayuza engoye ze, n'agwa ne yeevuunika awali essanduuko ya Mukama n'atuusa olw'eggulo, ye n'abakadde ba Isiraeri; ne beesiiga enfuufu ku mitwe gyabwe.
7
Yoswa n'akaaba nti, “Woowe, ayi Mukama Katonda, lwaki wasomosa abantu bano omugga Yoludaani, okutuwaayo eri Abamoli okutuzikiriza? Singa twasigala emitala wa Yoludaani!
8
Ayi Mukama, naayogera ntya, ng'Abaisiraeri bamaze okudduka abalabe baabwe?
9
Kubanga Abakanani n'abali mu nsi bonna bwe banaakiwulira, banaatuzingiza, ne batusaanyawo okuva ku nsi. Kale onookola otya okukuuma ekitiibwa ky'erinnya lyo?”
10
Mukama n'agamba Yoswa nti, “Situka; kiki ekikwevuunisizza bw'otyo?
11
Abaisiraeri boonoonye; era bamenye endagaano yange gye nnabalagira; batutte ku bintu ebiteekwa okuzikirizibwa. Babbye, bakuusizzakuusizza, era babikwese mu bintu byabwe.
12
Ekyo kye kibalobera abaana ba Isiraeri okuyimirira mu maaso g'abalabe baabwe, ne babadduka, kubanga bafuuse baakuzikirizibwa. Sijja kuddayo kubeera nammwe wabula nga muzikirizza ekyo kye mugugubiddeko.
13
Kale, mutukuze abantu, mubagambe beetukuze, beeteekereteekere olunaku olw'enkya,” kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, “Wakati mu ggwe waliwo ebintu bye nnabalagira okuzikiriza bye mukwese mu byammwe. Temuyinza kuyimirira mu maaso g'abalabe bammwe nga temunnabiggyayo kubizikiriza.”
14
Kale enkya munaasembeza abantu mu bika byammwe; ekika Mukama ky'anaalondamu kinaasembera ng'enda zaakyo bwe ziri; n'enda Mukama gy'anaalondamu eneesembera nga ennyumba zaayo bwe ziri; n'ennyumba Mukama gy'anaalondamu eneesembera buli muntu kinnoomu.
15
Awo olunaatuuka omuntu anaalondebwa mu nnyumba eyo n'asangibwa ng'akwese ekyo Mukama kye yalagira okuzikiriza, anaayokebwa omuliro ne by'alina byonna; kubanga anaaba amenye endagaano ya Mukama, era ng'akoze eky'obusirusiru mu Isiraeri.
16
Awo Yoswa n'agolokoka enkya ku makya, n'asembeza Isiraeri ng'ebika byabwe bwe byali; ekika kya Yuda ne kirondebwamu;
17
Mu kika kya Yuda ne mulondebwamu Enda ya Bazera; n'esembezebwa buli muntu kinnoomu; Zabudi n'alondebwamu.
18
Ennyumba ya Zabudi n'esembezebwa buli muntu kinnoomu. Ne Akani Mutabani wa Kalumi, muzzukulu wa Zabudi era muzzukulu wa Zeera mu kika kya Yuda n'alondebwamu.
19
Yoswa n'agamba Akani nti, “Mwana wange, nkwegayiridde, omuwe ekitiibwa Mukama, Katonda wa Isiraeri, omwatulire; era oŋŋambe kaakano ky'okoze; tokinkisa.”
20
Akani n'addamu Yoswa n'ayogera nti, “Mazima nnyonoonye eri Mukama, Katonda wa Isiraeri, era kino kye nnakola,
21
bwe nnalaba mu munyago ekyambalo ekirungi ekya Sinaali, n'esekeri ez'effeeza bibiri (200), n'ekitole ekya zaabu ekigero kyakyo sekeri ataano (50), ne mbiyaayaanira ne mbitwala ne mbikweka mu ttaka wakati mu weema yange; ng'effeeza eri wansi wabyo.”
22
Awo Yoswa n'atuma ababaka, ne bagenda bunnambiro mu weema ya Akani; ne basanga ng'ebintu ebyo bikwekeddwa mu weema ye, ng'effeeza y'eri wansi.
23
Nabo ne babiggya yo wakati mu weema, ne babireetera Yoswa n'abaana ba Isiraeri bonna; ne babissa wansi mu maaso ga Mukama.
24
Awo Yoswa, n'Abaisiraeri bonna, ne batwala Akani, muzzukulu wa Zeera, n'effeeza, n'ekyambalo, n'ekitole kya zaabu, n'abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'ente ze, n'endogoyi ze, n'endiga ze, n'eweema ye, ne byonna bye yalina; ne babatwala mu kiwonvu Akoli.
25
Yoswa n'ayogera nti, “ Lwaki watuleetera emitawaana? Kaakano naawe Mukama anaakuleetako emitawaana.” Awo Abaisiraeri bonna ne bakuba Akani, n'ab'omunnyumba ye bonna amayinja;
26
Ne bamutuumako entuumu ennene ey'amayinja, ekyaliwo ne kaakano; ekiwonvu ekyo kye kyava kiyitibwa Akoli, ne leero. Mukama n'akyuka n'aleka obusungu bwe obukambwe.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24