bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 20
Joshua 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
1
Mukama n'agamba Yoswa nti,
2
“Gamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Mwerondere ebibuga eby'okuddukirangamu bye nnabagambako nga mpita mu Musa.
3
Oyo anaabanga asse omuntu nga tagenderedde, anaddukiranga eyo okuwona oyo amunoonya okuwoolera eggwanga.
4
Era anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo, anaayimiriranga ku muzigo gwa wankaaki ow'ekibuga, n'ategeeza abakadde be kibuga ekyo ensonga ze; nabo banaamutwalanga mu kibuga gyebali, ne bamuwa ekifo eky'okubeeramu, era anaasigalanga n'abo.
5
Oyo anoonya okuwoolera eggwanga bw'anamulumbangayo, ab'omukibuga ekyo, tebaamuwengayo mu mikono gye, banaakuumanga eyatta, kubanga omuntu yamutta nga tagenderedde, naye nga si lwa kumukyawa.
6
Oyo eyatta omuntu anaabeeranga mu kibuga omwo, okutuusa nga amaze okuwozesebwa n'okusalirwa omusango mu maaso g'ekibiina ky'abantu, okutuusa nga kabona asinga obukulu aliwo mu biseera ebyo amaze okufa; Olwo omussi oyo n'alyoka addayo mu kibuga kye, ne mu nnyumba ye, gye yava okudduka.’ ”
7
Bino by'ebibuga bye balonda okuddukirangamu: Kedesi eky'omu Ggaliraaya mu nsi ey'ensozi eya Nafutaali, Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ne Kiriasualuba ye Kebbulooni mu nsi ey'ensozi eya Yuda.
8
Ku ludda olw'ebuvanjuba olw'omugga Yoludaani ne balonda: Bezeri ekya b'ekika kya Lewubeeni ekiri mu lusenyi olw'eddungu mu buvanjuba bwa Yeriko, Lamosi ekya b'ekika kya Gaadi mu Gireyaadi ne Golani ekya b'ekika kya Manase mu Basani.
9
Ebyo bye bibuga ebyalondebwa abaana ba Isiraeri okuba eby'okuddukirangamu. Omuntu yenna oba mu Isiraeri oba munnaggwanga anattanga omuntu nga tagenderedde addukirenga omwo, aleme okuttibwa oyo awooleera eggwanga, okutuusa nga amaze okuwozesebwa mu maaso g'ekibiina.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24