bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 2
Joshua 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 3 →
1
Yoswa omwana wa Nuuni n'atuma abantu babiri mu nkiso okuva mu Sittimu, ng'ayogera nti, “Mugende, mukette ensi naddala Yeriko.” Ne bagenda, ne bayingira mu nnyumba ey'omwenzi, erinnya lye Lakabu, ne basulayo.
2
Kabaka w'e Yeriko ne bamubuulira, nga boogera nti, “Laba, wayingidde muno ekiro ku baana ba Isiraeri okuketta ensi.”
3
Kabaka w'e Yeriko n'atumira Lakabu, ng'ayogera nti, “Goba abantu abazze gy'oli, abaayingidde mu nnyumba yo; kubanga bazze okuketta ensi yonna.”
4
Naye omukazi n'abatwala bombi, n'abakweka; n'ayogera nti, “Weewaawo, abantu bazze gye ndi, naye nnabadde simanyi gye bavudde;
5
awo obudde bwe bwatuuse okuggalawo wankaaki, ng'enzikiza ekutte, abantu ne bagenda; abantu gye bazze simanyi, mubagoberere mangu; kubanga munaabatuukako.”
6
Naye yali abalinnyisizza ku kasolya, n'ababikkako obuti obw'obugoogwa, bwe yali ateeseteese obulungi ku kasolya.
7
Abantu ne babagoberera mu kkubo erya Yoludaani okutuuka ku musomoko, abaabagoberera bwe baamala okuvaayo, ne balyoka baggalawo wankaaki.
8
Bo nga tebanneebaka, n'alinnya gyebali ku kasolya;
9
n'agamba abantu nti, “Mmanyi nga Mukama abawadde ensi, era ng'entiisa yammwe etukutte, era ng'abali mu nsi bonna batekemuse ku lwammwe.
10
Kubanga twawulira Mukama bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu mu maaso gammwe, bwe mwava mu Misiri; era kye mwakola bakabaka ababiri ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni ne Ogi, be mwazikiririza ddala.
11
Naffe bwe twakiwulira, emitima gyaffe ne giryoka gitekemuka, so tewali muntu asigalamu omwoyo gwonna, ku lwammwe; kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo ye Katonda waggulu mu ggulu, era wansi ku nsi.
12
Kale kaakano, mbeegayiridde, mundayirire Mukama, kubanga mbakoze bulungi, nammwe okugikola obulungi ennyumba ya kitange, era mumpe akabonero akankakasa ekyo,
13
era n'okuwonya kitange ne mmange ne bannyinaze ne baganda bange ne byonna bye balina, n'okulokola obulamu bwaffe mu kufa.”
14
Abantu ne bamugamba nti, “Obulamu bwaffe buligatta obulamu bwammwe! bwe mutalibuulira bigambo byaffe bino, awo Mukama bw'alituwa ensi, ne tulyoka tukukolera ekisa n'amazima.”
15
Awo n'abassa n'omugwa ng'abayisa mu ddirisa; kubanga ennyumba ye yali ekwataganye ku bbugwe ow'ekibuga, naye yabeeranga ku bbugwe.
16
N'abagamba nti, “Mugende ku lusozi, ababagoberedde baleme okubasanga; era mwekwekereyo ennaku ssatu, okutuusa ababagoberedde lwe balikomawo; oluvannyuma muliyinza okugenda.”
17
Abantu ne bamugamba nti, “Tetulimenya kirayiro kyo kino ky'otulayizizza.
18
Laba, bwe tulijja mu nsi, olisiba akagwa kano akamyufu mu ddirisa ly'otuyisizzaamu; era olikuŋŋaanyiza mu nnyumba gy'oli kitaawo ne nnyoko ne baganda bo, n'ennyumba yonna eya kitaawo.
19
Bwe kityo, omuntu yenna aliva mu miryango egy'ennyumba yo ku luguudo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe, naffe tetulizza musango; era omuntu yenna alibeera naawe mu nnyumba yo ku luguudo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe, naffe tetulizza musango, era omuntu yenna alibeera naawe mu nnyumba, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwaffe, bw'alikwatibwa omukono gwonna.
20
Naye bw'olibuulira ebigambo byaffe bino, tetulizza musango olw'ekirayiro kyo ky'otulayizizza.”
21
N'ayogera nti, “Ng'ebigambo byammwe bwe biri, kibeere bw'ekityo.” N'abasindika, ne bagenda, n'asiba akagwa akamyufu mu ddirisa.
22
Ne bagenda ne batuuka ku lusozi, ne babeera eyo ennaku ssatu, okutuusa abaabagoberera lwe baamala okukomawo, kubanga, abaabagoberera baabanoonya mu kkubo lyonna, ne batabalaba.
23
Awo abantu ababiri ne bakomawo, ne baserengeta ku lusozi, ne basomoka, ne bajja eri Yoswa omwana wa Nuuni; ne bamubuulira byonna ebyababaako.
24
Ne bamugamba Yoswa nti, “Mazima Mukama atuwadde mu mikono gyaffe ensi yonna; era nate abali mu nsi bonna batekemukira ddala mu maaso gaffe.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24