bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 18
Joshua 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
1
Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bwe bamala okuwangula ensi ne bakuŋŋaanira e Siiro, ne basimba eyo eweema ya Mukama ey'okusisinkanirangamu. Ensi yonna n'eba mu mikono gyabwe.
2
Waali wakyasigaddeyo ebika musanvu mu baana ba Isiraeri, ebyali bitanafuna butaka bwabyo.
3
Yoswa n'abuuza abaana ba Isiraeri nti, “Mulituusa wa okugayaala ne mutagenda kugabana nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa?
4
Kale no mwerondemu abasajja basatu, okuva mu buli kika, mbatume bagende beetegereze ensi, bawandiike bweyinza okugabanyizibwamu, balyoke bakomewo gye ndi.
5
Ensi baligigabanyamu ebitundu musanvu. Yuda nga asigala ku nsalo ye ku luuyi olw'obukiikaddyo, n'ennyumba ya Yusufu nga esigala ku nsalo yayo ku luuyi olw'obukiikakkono.
6
Muwandiike ebinnyonnyola ku bitundu ebyo omusanvu, mundeetere bye muwandiise, ndyoke mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama, Katonda waffe.
7
Naye Abaleevi tebajja kufuna mugabo gwa ttaka mu mmwe, kubanga omugabo ogwabwe, kwe kuweereza Mukama mu bwakabona. Ate Gaadi ne Lewubeeni n'ekitundu eky'Ekika kya Manase, Musa omuweereza wa Mukama yamala dda okubawa obutaka bwabwe ebuvanjuba bwa Yoludaani.”
8
Abantu ne basituka ne bagenda; Yoswa n'alagira abo abaagenda okuwandiika ensi, ng'ayogera nti, “Mugende mutambule mu nsi yonna, mugiwandiike, mukomewo gye ndi, nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama mu Siiro.”
9
Abasajja ne bagenda ne bayitaayita mu nsi eyo, ne bawandiika mu kitabo nga bwe bagigabanyizzaamu ebitundu omusanvu, nga balaga n'ebibuga byabyo. Awo ne baddayo eri Yoswa mu lusiisira e Siiro.
10
Yoswa n'abakubira obululu mu maaso ga Mukama e Siiro. Buli kika eky'abaana ba Isiraeri ekyali kitanagabana n'akiwa obutaka bwakyo.
11
Akalulu bwe kakubibwa ekika kya Benyamini kye kyasooka okulondebwamu, n'ekiweebwa obutaka mu makati w'ekika kya Yuda ne Yusufu.
12
Ensalo yaabwe mu bukiikakkono nga eva ku Yoludaani neyambuka okutuuka ku bukiikakkono bw'ekikono kya Yeriko, neyeyongerayo mu nsi ey'ensozi ku luuyi olw'ebugwanjuba n'ekoma ku ddungu Besaveni.
13
Okuva eyo n'eyita ku bukiikaddyo okwolekera Luzi, ku kikono kya Luzi, ye Beseri, n'ekka okutuuka ku Atalosuaddali kumpi n'olusozi oluli ku bukiikaddyo bwa Besukolooni eky'emmanga.
14
Ensalo n'ekyukira ku ludda olulala, neva ku bukiikaddyo nedda ku bugwanjuba bw'olusozi Besukolooni, neyeyongerayo ku Kiriasubaali ye Kiriyasuyalimu, ekibuga eky'abaana ba Yuda ku luuyi olw'ebugwanjuba.
15
Mu bukiikaddyo obwa ddyo, ensalo netandikira Kiriyasuyalimu we kikoma, neyeyongerayo ebugwanjuba okutuuka ku luzzi olw'e Nefutoa;
16
ensalo n'ekka olusozi gyerukoma oluliraanye ekiwonvu eky'omwana wa Kinomu, mu bukiikakkono obw'ekiwonvu kya Leefa, n'ekka mu bukiikaddyo nga eyita mu kiwonvu Kinomu ekiri mu bukiikaddyo bwa Yebusi n'ekka okutuuka ku Enerogeri;
17
neyeyongerayo e bukiikakkono, n'ekoma ku Ensemesi, neyeyongerayo okutuuka e Gerirosi, ekiri emitala w'ekkubo erigenda Adummimu; neyeyongerayo n'etuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni;
18
n'eyita ku bbali okwolekera Alaba ku luuyi olw'obukiikakkono, n'ekka mu Alaba;
19
ensalo n'eyita n'etuuka ku mabbali ag'e Besukogula ku luuyi olw'obukiikakkono; n'ekoma Yoludaani weguyira ku bukiikakkono bw'ennyanja ey'omunnyo; eyo ye nsalo ey'obukiikaddyo.
20
Ate omugga Yoludaani gwe gwali ensalo ku luuyi olw'ebuvanjuba. Obwo bwe bwali obutaka bw'ekika kya Benyamini nga enda zaabwe bwe zaali.
21
Era bino bye byali ebibuga by'ekika kya Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali: Yeriko, Besukogula ne Emekkezizi;
22
Besualaba, Zemalaimu, ne Beseri;
23
Avvimu, Pala, ne Ofula
24
Kefalamoni, Ofuni, ne Geba; bye bibuga kkumi na bibiri (12) n'ebyalo byabyo.
25
Waliwo ne bibuga bino: Gibyoni, Laama, ne Beerosi;
26
Mizupe, Kefira, ne Moza;
27
Lekemu, Irupeeri, ne Talala;
28
Zeera, Erefu, Yebusi ye Yerusaalemi, Gibeasi ne Kiriasi; bye bibuga kkumi na bina (14) n'ebyalo byabyo. Obwo bwe butaka bwe kika kya Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24