bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 5
Joshua 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 6 →
1
Awo, bakabaka bonna ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne bakabaka ab'Abakanani, abaali ku lubalama lw'ennyanja Eyawakati, bwe baawulira Mukama bwe yakaliza amazzi ga Yoludaani okutuusa abaana ba Isiraeri lwe baamala okusomoka, ne batekemuka ne baggwamu amaanyi olw'abaana ba Isiraeri.
2
Mu biro ebyo Mukama n'agamba Yoswa nti, “Kola obwambe obw'amayinja, okomole abaana ba Isiraeri abatakomolebwanga.”
3
Yoswa n'akola obwambe obw'amayinja, n'akomolera abaana ba Isiraeri ku lusozi, olw'ebikuta.
4
Eno ye nsonga Yoswa kye yava akomola abasajja; kubanga abasajja bonna abalwanyi abava mu Misiri nga bakomole baafiira mu kkubo mu ddungu nga bava e Misiri.
5
Naye abantu bonna abaazaalirwa mu kkubo mu ddungu nga bava e Misiri baali tebakomolwanga.
6
Kubanga abaana ba Isiraeri baatambulira emyaka ana (40) mu ddungu, okutuusa eggwanga lyonna, be balwanyi bonna abaava e Misiri, lwe baggwaawo, kubanga tebaawulira ddoboozi lya Mukama. Mukama kye yava alayira obutabaganya kulaba nsi gye yalayira bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
7
Era baali baana baabwe be yazza mu kifo kyabwe, abo Yoswa be yakomola; kuba baali si bakomole, olw'okuba tebaabakomolera mu kkubo.
8
Awo, bwe baamala okukomola eggwanga lyonna, ne babeera mu bifo byabwe mu lusiisira okutuusa lwe bamala okuwona.
9
Mukama n'agamba Yoswa nti, “Leero mbaggyeeko ekivume eky'e Misiri.” Erinnya ery'ekifo ekyo kyeryava liyitibwa Girugaali n'okutuusa kaakano.
10
Abaana ba Isiraeri bwe baali baasisidde e Girugaali, ne baakwata Okuyitako olw'eggulo ku lunaku olw'ekkumi n'ennya (14) olw'omwezi mu lusenyi olw'e Yeriko.
11
Ku lunaku olwaddirira Okuyitako ne balya emmere enkalu ey'omwaka ogwaggwaako, emigaati egitazimbulukusiddwa ne kasooli omusiike.
12
Awo bwe baamala okulya emmere ey'ensi ey'omwaka ogwaggwako; emmaanu n'erekera awo okugwa; awo ne batandika okulya emmere ey'ensi eya Kanani omwaka ogwo.
13
Awo, Yoswa bwe yali ng'asemberedde e Yeriko, n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba, omusajja ng'ayimiridde okumwolekera, ng'alina ekitala ekisowole mu mukono gwe; Yoswa n'amusemberera, n'amubuuza nti, “Oli ku lwaffe, oba oli ku lwa balabe baffe?”
14
Omusajja n'amuddamu nti, “Nedda; naye nze omukulu ow'eggye lya Mukama ntuuse kaakano.” Yoswa n'afukamira mu maaso ge, n'asinza, n'amugamba nti, “Mukama wange, kiki ky'ogamba omuddu wo?”
15
Omukulu ow'eggye lya Mukama n'agamba Yoswa nti, “Ggyamu engato mu bigere byo; kubanga ekifo mw'oyimiridde kitukuvu.” Yoswa n'akola bw'atyo.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24