bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 12
Joshua 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 13 →
1
Bano be bakabaka ab'ensi, abaana ba Isiraeri be bawangula ne batwala ensi yaabwe eri emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni, ne Alaba yonna ku luuyi olw'ebuvanjuba;
2
Sikoni kabaka w'Abamoli, eyabeeranga e Kesuboni ng'afuga okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu ekya Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'ekitundu kya Gireyaadi, okutuukira ddala ku mugga Yabboki, oguli ku nsalo ey'abaana ba Amoni;
3
era yafuga ne Alaba okutuukira ddala ku nnyanja ey'e Kinnerosi, ku luuyi olw'ebuvanjuba, naatuukira ddala ne ku nnyanja ya Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo ku luuyi olw'ebuvanjuba, ku kkubo eridda e Besuyesimosi; ne ku luuyi olw'obukiikaddyo, wansi w'olusozi Pisuga.
4
N'awangula ne Ogi kabaka w'e Basani, omu ku Balefa abaali basigaddewo, eyafugiranga mu Asutaloosi ne mu Ederei,
5
era eyafugiranga ne ku lusozi Kerumooni, ne mu Saleka, ne mu Basani yonna, okutuukira ddala ku nsalo y'Abagesuli n'Abamaakasi, n'ekitundu kya Gireyaadi okutuukira ddala ku nsalo ya Sikoni kabaka w'e Kesuboni.
6
Musa omuweereza wa Mukama n'Abaisiraeri baawangula bakabaka abo, ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n'agiwa Abalewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu ekimu eky'okubiri eky'Ekika kya Manase ebe yaabwe.
7
Era bano be bakabaka ab'ensi Yoswa n'abaana ba Isiraeri be bawangula ebugwanjuba bwa Yoludaani okuva e Baalugadi ekiri mu kiwonvu kya Lebanooni okutuukira ddala ku lusozi Kalaki, n'okwambuka okutuuka e Seyiri; Yoswa n'agiwa abaana ba Isiraeri ebe eyabwe, buli kika nga akiwa ekitundu ekyabwe;
8
ekitundu ekyo kyatwalirangamu ensi ey'ensozi, n'ensi ey'ensenyi, ne Alaba, okutuukira ddala mu ddungu obukiikaddyo; mwe mwabeeranga Abakiiti, Abamoli, Abakanani, Abaperizi, Abakiivi, n'Abayebusi.
9
Abaana ba Isiraeri bawangula ne bakabaka bano: ow'e Yeriko, ow'e Ayi, ekiriraanye Beseri, omu;
10
Ow'e Yerusaalemi, omu; ow'e Kebbulooni;
11
Ow'e Yalamusi, ow'e Lakisi;
12
Ow'e Eguloni, ow'e Gezeri,
13
Ow'e Debiri, ow'e Gederi,
14
Ow'e Koluma, ow'e Yaladi,
15
Ow'e Libuna, ow'e Adulamu;
16
Ow'e Makkeda, ow'e Beseri;
17
Ow'e Tappua, ow'e Keferi;
18
Ow'e Afeki, ow'e Lasaloni;
19
Ow'e Madoni, ow'e Kazoli;
20
Ow'e Simulonimeroni, ow'e Akusafu;
21
Ow'e Taanaki, ow'e Megiddo;
22
Ow'e Kedesi, ow'e Yokuneamu;
23
Ow'e Doli ku lusozi Doli, ow'e Goyiyimu mu Girugaali;
24
n'owe Tiruza, bakabaka bonna baali asatu mu omu (31).
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24