bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 19
Joshua 19
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 20 →
1
Akalulu ak'okubiri bwekaakubibwa ekika kya Simyoni ne kirondebwa, ne kiweebwa ekitundu kyakyo ekyali wakati wekyo ab'ekika kya Yuda kye bafuna.
2
Ekitundu kyabwe kyalimu ebibuga bino: Beeruseba oba Seba, ne Molada;
3
Kazalusuali, Bala, ne Ezemu;
4
Erutoladi, Besuli, ne Koluma;
5
Zikulagi, Besumalukabosi ne Kazalususa;
6
Besulebaosi ne Salukeni; ebibuga byonna byali ebibuga kkumi na bisatu, n'ebyalo byabyo;
7
Waliwo ne bibuga bino: Ayini, Limmoni, Eseri ne Asani; bye bibuga bina, n'ebyalo byabyo,
8
Ebibuga ebyo n'ebyalo ebibyetoolodde okutuukira ddala ku Baalasubeeri ye Laama, obukiikaddyo; bwe butaka obwaweebwa ekika kya Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali.
9
Obutaka obw'ekika kya Simyoni; bwali wamu n'obw'ekika kya Yuda, olw'okuba omugabo ogw'abaana ba Yuda gw'abayitirirako obunene, ab'ekika kya Simyoni kyebaava bafuna obutaka wakati mu butaka bw'ekika kya Yuda.
10
Akalulu ak'okusatu bwekaakubibwa, ekika kya Zebbulooni ne kirondebwa. Ekitundu kye bafuna kyatuuka ku Salidi;
11
Okuva awo ensalo yaabwe yalaga bugwanjuba okutuuka e Malala neyeyongerayo e Dabbesesi okutuukira ddala ku mugga Yokuneamu;
12
okuva e Salidi n'egenda ku ludda olw'ebuvanjuba okutuukira ddala ku nsalo ya Kisulosutaboli, neyeyongerayo ku Daberasi netuuka e Yafiya;
13
okuva awo n'eyita ku ludda olw'ebuvanjuba n'etuuka e Gasukeferi neyeyongerayo e Esukazini n'ekoma ku Limmoni ekituuka ku Nea;
14
Ku luuyi olw'obukiikakkono ensalo yeetooloola netuuka ku Kannasoni neyeyongerayo n'ekoma ku kiwonvu Ifutakeri;
15
Ensalo yabwe yatwaliramu ebibuga kkumi na bibiri (12), n'ebyalo byamu, ebimu ku bibuga ebyo bye bino: Kattasi, Nakalali, Simuloni, Idala ne Besirekemu.
16
Obwo bwe butaka obwaweebwa ekika kya Zebbulooni, ebibuga ne byalo byabyo ng'enda zaabwe bwe zaali.
17
Akalulu ak'okuna bwekaakubibwa, ekika kya Isakaali n'ekirondebwa, n'ekiweebwa obutaka bwakyo.
18
Ekitundu kye bafuna kyalimu: Yezuleeri, Kesulosi ne Sunemu;
19
Kafalaimu, Sioni ne Anakalasi;
20
Labbisi, Kisioni ne Ebezi;
21
Lemesi, Engannimu, Enkadda ne Besupazzezi;
22
ensalo n'etuuka ku Taboli, Sakazuma ne Besusemesi; n'ekoma ku mugga Yoludaani; bye bibuga kkumi na mukaaga (16), n'ebyalo byabyo.
23
Obwo bwe butaka obwaweebwa ekika kya Isakaali ng'enda zaabwe bwe zaali.
24
Akalulu ak'okutaano bwekaakubibwa, ekika kya Aseri n'ekirondebwa n'ekiweebwa obutaka bwakyo ng'enda zaabwe bwe zaali.
25
Ekitundu kye bafuna kyalimu: Kerukasi, Kali, Beteni ne Akusafu;
26
Alammereki, Amadi ne Misali; n'okutuuka ku Kalumeeri ne Sikolulibunasi ku luuyi olw'ebugwanjuba;
27
Ensalo yabwe ne yeyongerayo ku luuyi olw'ebuvanjuba n'etuuka ku Besudagoni, ne ku Zebbulooni, ne ku kiwonvu Ifutakeri ku bukiikakkono, neyeyongerayo okutuuka e Besuemeki ne Neyeri. Okuva awo yeyongerayo e Kabuli mu bukiikakkono;
28
neyeyongerayo e Ebuloni, Lekobu, Kammoni, Kana, okutuukira ddala e Sidoni;
29
ensalo neweta okudda Laama netuuka ku kibuga Ttuulo ekiriko ekigo; neweta nedda e Kosa okutuuka ku nnyanja eyawakati.
30
Waliwo ne bibuga bino: Uma, Afiki ne Lekobu; ebibuga byonna byali abiri mu bibiri (22), n'ebyalo byabyo.
31
Obwo bwe butaka obwaweebwa ekika kya Aseri ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byabyo.
32
Akalulu ak'omukaaga bwekaakubibwa ekika kya Nafutaali n'ekirondebwa, n'ekiweebwa obutaka bwakyo ng'enda zaabwe bwe zaali.
33
Ensalo yaabwe yava e Kerefu netuuka ku mwera gwe Zaanannimu neyeyongerayo okutuuka Adaminekebu, ne Yabuneeri ne Lakkumu n'ekoma ku Yoludaani,
34
ensalo neweta nedda ku luuyi olw'ebugwanjuba okutuuka Azunosutaboli neyeyongerayo netuuka ku Kukkoki ne Zebbulooni ku luuyi olw'obukiikaddyo; neva awo yeyongerayo okutuuka ku Aseri ku luuyi olw'ebugwanjuba, neyita ku Yuda n'ekoma ku Yoludaani ebuvanjuba.
35
N'ebibuga bye bafuna ebiriko ebigo byali: Ziddimu, Zeri, Kammasi, Lakkasi ne Kinneresi;
36
Adama, Laama, ne Kazoli;
37
Kesedi, Ederei, ne Enkazoli;
38
Ironi, Migudaleri, Kolemu, Besuanasi ne Besusemesi; ebibuga byonna byali kkumi na mwenda, n'ebyalo byabyo.
39
Obwo bwe butaka bwe kika kya Nafutaali ne bibuga ne byalo byabyo ng'enda zaabwe bwe zaali.
40
Akalulu ak'omusanvu bwekaakubibwa ekika kya Ddaani n'ekirondebwa, n'ekiweebwa obutaka bwakyo ng'enda zaabwe bwe zaali.
41
Ekitundu kye bafuna kyalimu: Zola, Esutaoli, ne Irusemesi;
42
Saalabbini, Ayalooni ne Isula;
43
Eroni, Timuna ne Ekuloni;
44
Eruteke, Gibbesoni ne Baalasi;
45
Yekudi, Beneberaki ne Gasulimmoni;
46
Meyalakoni, ne Lakoni n'okutukira ddala ku nsalo ne Yafo.
47
Awo ab'omu kika kya ddaani bwe baafiirwa ekitundu kyabwe, ne bagenda e Lesemu, ne bakirumba ne bakirwanyisa, ne bakiwamba, ne batta abantu baamu bonna, ne bakituuma erinnya Ddaani, erya jjajjaabwe.
48
Obwo bwe butaka obw'ekika kya Ddaani, ebibuga ne byalo byabyo ng'enda zaabwe bwe zaali.
49
Abaana ba Isiraeri bwe bamala okugabanyamu ensi ebitundu, buli kika ne kifuna ekitundu kyakyo, awo ne balyoka bawa Yoswa mutabani wa Nuuni ekitundu ekikye;
50
nga Mukama bwe yalagira ne bamuwa ekibuga Timunasusera kyeyasaba ekiri mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu; naakizimba n'abeera omwo.
51
Obwo bwe butaka Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n'abakulu b'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe baagaba nga bakuba obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama mu mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu. Bwe batyo bwe baamalira ddala okugabanya ensi.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24