bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 13
Joshua 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
1
Yoswa yali akaddiyidde ddala; Mukama n'amugamba nti, “Okaddiye nnyo, naye wakyasigaddeyo ensi nnyingi ezitanawangulwa.
2
Zino ze nsi ezikyasigaddeyo: ensi yonna ey'Abafirisuuti n'Abagesuli;
3
okuva ku mugga Sikoli, oguli ku nsalo ne Misiri, okutuuka ku nsalo n'Ekuloni mu bukiikakkono, ebalibwa okuba ey'Abakanani era efugibwa abaami abataano (5) ab'Abafirisuuti; Abe Gaza, abe Asudodi, abe Abasukuloni, abe Gitti, n'Abekuloni;
4
era n'Abavi, ku luuyi olw'obukiikaddyo; eyo y'ensi yonna ey'Abakanani, ne Meala eky'Abasidoni, okutuukira ddala ku Afiki, ku nsalo n'Abamoli;
5
n'ensi ey'Abagebali, ne Lebanooni yonna, ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku Baalugadi ekiri wansi w'olusozi Kerumooni okutuuka awayingirirwa e Kamasi,
6
Abantu bonna abali mu nsi ey'ensozi okuva ku Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayimu, be ba Sidoni bonna; ndibagoba ng'abaana ba Isiraeri balaba; kyokka ensi yabwe ogigabire abaana ba Isiraeri okuba obutaka, nga bwe nnakulagira.
7
Kale kaakano ensi eno ogigabe okuba obusika eri ebika omwenda, n'ekitundu eky'ekika kya Manase.”
8
Ekika kya Lewubeeni n'ekya Gaadi, n'ekitundu ekimu eky'okubiri eky'Ekika kya Manase, byali bimaze okufuna ebitundu ebyabyo, Musa omuweereza wa Mukama bye yabawa obuvanjuba bw'Omugga Yoludaani;
9
Ekitundu ekyo kiva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna olwa Medeba okutuukira ddala ku Diboni;
10
n'ebibuga byonna ebya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyafugiranga mu Kesuboni, okutuuka ku nsalo, ey'abaana ba Amoni;
11
ne Gireyaadi, n'ensalo ey'Abagesuli n'Abamaakasi, n'olusozi lwonna Kerumooni, ne Basani yonna okutuuka ku Saleka;
12
Obwo bwe bwali obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyafugira mu Asutaloosi ne mu Ederei eyali omu ku Balefa abaasigalawo. Abo bonna Musa yabawangula, nabasanyaawo.
13
Naye abaana ba Isiraeri tebaagobamu Bagesuli n'Abamaakasi; n'okutuusa kati bakyali mu Isiraeri.
14
Ekika ekya Leevi kyokka Musa kyataawa butaka; bo baweebwa ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro eri Mukama Katonda wa Isiraeri, okuba omugabo gwabwe nga Mukama bwe yalagira Musa.
15
Buno bwe butaka Musa bweyawa ekika kya Lewubeeni.
16
Ensalo yaabwe eva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna oluliraanye Medeba;
17
Kesuboni, n'ebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi; Diboni, ne Bamosubaali, ne Besubaalumyoni:
18
ne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi;
19
ne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olw'omu kiwonvu;
20
ne Besupyoli, ne Pisuga awakkirwa, ne Besuyesimosi;
21
n'ebibuga byonna eby'olusenyi, n'obwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka w'Abamoli, eyafugiranga e Kesuboni, Musa gwe yawangula awamu n'abaami ab'e: Midiyaani, Evi, Lekemu, Zuuli, Kuli, ne Leba.
22
Mu abo abaana ba Isiraeri be batta n'ekitala mwe mwali ne Balamu omulaguzi mutabani wa Byoli.
23
Omugga Yoludaani ye yali ensalo ey'ekika kya Lewubeeni ebugwanjuba. Obwo bwe bwali obutaka bw'abaana ba Lewubeeni ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byamu.
24
Buno bwe butaka Musa bweyawa ekika kya Gaadi.
25
Ekitundu kyabwe kyatwaliramu Yazeri, n'ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n'ekitundu eky'ensi ey'abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri ekyolekedde Labba;
26
era okuva ku Kesuboni okutuuka ku Lamasumizupe, ne Betonimu; era okuva ku Makanayimu okutuuka ku nsalo ey'e Debiri;
27
ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besunimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, ekitundu ekyasigalawo eky'obwakabaka bwa Sikoni kabaka ow'e Kesuboni, Yoludaani n'ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw'ennyanja ey'e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba.
28
Obwo bwe butaka obw'ekika kya Gaadi ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byamu.
29
Buno bwe butaka Musa bweyagabira ekitundu eky'ekika kya Manase obuvanjuba bw'omugga Yoludaani.
30
Ekitundu kyabwe kyali kiva ku Makanayimu, n'ekitwaliramu Basani yonna, obwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka w'e Basani, n'ebibuga byonna enkaaga (60) ebya Yayiri, ebyali mu Basani;
31
kyatwaliramu ekitundu eky'e Gireyaadi, ne Asutaloosi, ne Ederei, n'ebibuga byonna eby'obwakabaka bwa Ogi mu Basani, ebyali eby'abaana ba Makiri mutabani wa Manase, kye kitundu eky'abaana ba Makiri ng'enda zaabwe bwe zaali.
32
Bw'atyo Musa bwe yagabanyaamu ekitundu ekiri ebuvanjuba bwa Yeriko ne Yoludaani, mu nsenyi za Mowaabu.
33
Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa butaka; Mukama, Katonda wa Isiraeri, gwe mugabo gwabwe, nga Mukama weyalagira Musa.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24