bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 9
Joshua 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 10 →
1
Awo, bakabaka bonna abaali emitala wa Yoludaani, mu nsi ey'ensozi, ne mu nsenyi, ne ku lubalama lwonna olw'ennyanja Ennene, olusozi Lebanooni gye lusimba, Abakiiti, n'Abamoli, n'Abakanani, n'Abaperizi, n'Abakiivi, n'Abayebusi, bwe baawulira obuwanguzi bwa Yoswa;
2
ne balyoka bakuŋŋaanira wamu, okulwanyisa Yoswa n'Abaisiraeri, n'omwoyo gumu.
3
Naye abaali mu Gibyoni bwe baawulira Yoswa bye yakola ku Yeriko ne Ayi,
4
ne basala amagezi, ne bagenda ne beefuula ng'ababaka, ne batwala ensawo enkadde ku ndogoyi zaabwe, n'amaliba ag'omwenge amakadde agaayulika agaatungirirwa;
5
n'engatto enkadde ezibotose mu bigere byabwe, era nga bambadde ebyambalo ebikadde; n'emmere yonna ey'entanda yaabwe ng'ekaliridde ng'ekutte obukuku.
6
Ne bajja eri Yoswa mu lusiisira mu Girugaali, ne bamugamba ye n'abantu ba Isiraeri nti, “Tuvudde mu nsi ye wala; kale kaakano mulagaane naffe.”
7
N'abantu ba Isiraeri ne bagamba Abakiivi nti, “Wozzi ewammwe muli wakati wansi yaffe; naffe tunaalagaana tutya nammwe?”
8
Ne baddamu nti, “Tuli baddu bo.” Yoswa n'ababuuza nti, “Mmwe baani, era muva wa?”
9
Ne bamugamba nti, “Abaddu bo bavudde mu nsi y'ewala nnyo okujja wano. Kubanga twawulira ettutumu lya Mukama Katonda wo, ne byonna bye yakola mu Misiri,
10
ne byonna bye yakola bakabaka ababiri ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni kabaka we Kesuboni, ne Ogi kabaka we Basani, eyali mu Asutaloosi.
11
Awo bakadde baffe n'abantu bonna ab'omu nsi yaffe ne batugamba nti ‘musibire olugendo luno entanda, mugende mu maaso gaabwe mubagambe nti, Tuli baddu bammwe, kale kaakano mukole naffe endagaano ey'emirembe.’
12
Emmere yaffe eno ey'entanda twagisiba ng'ekyabuguma mu nnyumba zaffe ng'ekyabuguma ku lunaku lwe twavaayo okujja gye muli; naye kaakano, laba, ekaliridde, era ekutte n'obukuku;
13
n'amaliba gano ag'omwenge, ge twajjuza, gaali maggya; era, laba, gayuliseyulise; n'ebyambalo byaffe bino n'engatto zaffe bikaddiye olw'olugendo olunene ennyo.”
14
Abaisiraeri ne balya ku ntanda yaabwe, naye ne batabuuza kuluŋŋamizibwa kuva eri Mukama.
15
Yoswa n'abakulu b'ekibiina ne bakola nabo endagaano ey'emirembe ne babalayirira obutabatta.
16
Awo bwe waayitawo ennaku ssatu (3) nga bamaze okukola endagaano eyo, Abaisiraeri ne bawulira ng'abantu abo baliraanwa baabwe ab'okumpi ddala.
17
Abaana ba Isiraeri ne batambula, ne ku lunaku olwokusatu (3) ne batuuka mu bibuga byabwe. Ebibuga byabwe byali Gibyoni, Kefira, Beerosi, ne Kiriyasuyalimu.
18
N'abaana ba Isiraeri ne batabatta, kubanga abakulu b'ekibiina baali babalayiridde eri Mukama Katonda wa Isiraeri. Ekibiina ky'Abaana ba Isiraeri kyonna ne kyemulugunyiza abakulu baabwe.
19
Naye abakulu bonna ne baddamu ekibiina kyonna nti, “Abantu abo twabalayirira Mukama Katonda wa Isiraeri; kale kaakano tetuuyinze kubakolako kabi.
20
Tubaleke nga balamu, kubanga twabalayirira, Mukama aleme okutusunguwalira.”
21
Abakulu ne bagamba ekibiina nti, “Mubaleke nga balamu; baasenga enku era bakimirenga ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri amazzi.”
22
Yoswa n'abayita n'ababuuza nti, “Lwaki mwatulimba nga mwogera nti, ‘Tuva wala nnyo so ng'ate muli ba wano kumpi?’
23
Kale kaakano mukolimiddwa, abantu bammwe banaabanga baddu ennaku zonna, abaasi b'enku era abakimi b'amazzi eri ennyumba ya Katonda wange.”
24
Ne bamuddamu Yoswa nti, “Kubanga abaddu bo baategeezebwa ddala nga Mukama Katonda wo yalagira Musa omuweereza we okubawa ensi eno yonna, n'okuzikiriza bonna abagirimu; kyetwava tutya okututta, ne tukola bwe tutyo.
25
Ne kaakano, laba, tuli mu mukono gwo; tukole kyonna ky'olaba nga kirungi era nga kye kituufu.”
26
Era bw'atyo bwe yabakola, n'abawonya mu mukono gw'abaana ba Isiraeri okubatta.
27
Ku lunaku olwo Yoswa n'abafuula abaasi b'enku era abakimi b'amazzi eri ekibiina n'eri ekyoto kya Mukama, ne mu kifo ekirala kyonna ky'anaabalagiranga. Ogwo gwe mulimu gwabwe ne kaakano.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24