bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joshua 16
Joshua 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 17 →
1
Akalulu bwe kakubwa abaana ba Yusufu ne baweebwa obutaka bwabwe, nga buva ku mugga Yoludaani kumpi ne Yeriko ku luuyi olw'ebuvanjuba, lye ddungu eriva ku Yeriko ne liyita mu nsi ey'ensozi ne lituuka e Beseri;
2
n'okuva e Beseri okutuuka e Eruzi, ne bayita ku nsalo ey'Abaluki mu Atalosi;
3
ensalo n'ekka ku luuyi olw'ebugwanjuba okutuuka ku nsalo ey'Abayafuleti, neyeyongerayo okutuukira ddala e Besukolooni eky'emmanga, okuva awo neyeyongerayo okutuuka e Gezeri n'ekoma ku nnyanja eyawakati.
4
Bazzukulu ba Yusufu abasibuka mu Efulayimu ne Manase, ne bafuna ekitundu ekyo kibeerenga obutaka bwabwe.
5
N'ekitundu ky'abaana ba Efulayimu kye bafuna ng'enda zaabwe bwe zaali, kyali bw'ekiti: ensalo ey'obutaka bwabwe ku luuyi olw'ebuvanjuba yali Atalosuaddali, okutuuka ku Besukolooni eky'engulu;
6
neyeyongerayo n'ekoma ku luuyi olw'ebugwanjuba ku Mikumesasi mu bukiikakkono; neva awo neyetooloola ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka e Taanasusuro, n'ekiyitako netuuka e Yanoa ku luuyi olw'ebuvanjuba.
7
N'eva e Yanoa n'ekka neyita e Atalosi, ne Naala, neyongerayo n'etuuka e Yeriko, n'ekoma ku Yoludaani.
8
Okuva e Tappua ensalo neyeyongera ebugwanjuba netuuka ku mugga Kana, neyeyongerayo n'ekoma ku nnyanja eyawakati. Buno bwe butaka bw'ekika eky'abaana ba Efulayimu ng'enda zaabwe bwe zaali;
9
wamu n'ebibuga ne byalo byabyo, ebyaweebwa abaana ba Efulayimu nga biri mu butaka bw'abaana ba Manase.
10
Naye tebagobamu Bakanani abaali mu Gezeri: wabula Abakanani ne babeera wamu nab'Efulayimu, okutuusa kati, ne bafuuka abaddu okukolanga emirimu egibalagirwa.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24