bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 1
Judges 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 2 →
1
Awo Yoswa bwe yamala okufa, abaana ba Isiraeri ne babuuza Mukama nti, “Kika ki ekinaasooka okulumba Abakanani okubalwanyisa?”
2
Mukama n'addamu nti, “Ekika kya Yuda ky'ekinasooka okulumba; mbawadde okuwangula ensi eyo.”
3
Ab'ekika kya Yuda ne bagamba ab'ekika kya Simyoni nti, “Mujje tugende fenna mu kitundu ekyatuweebwa tulwanyise Abakanani nga tuli wamu; era naffe bwe tutyo tuligenda nammwe mu kitundu kyammwe ekyabaweebwa.” Awo ab'ekika kya Simyoni ne bagenda nabo.
4
Awo Yuda n'alumba Abakanani n'Abaperizi, Mukama n'abawa okubawangulira mu Bezeki ne babattamu abasajja omutwalo gumu (10,000).
5
Ne basanga Adonibezeki mu Bezeki, ne bamulwanyisa, ne batta Abakanani n'Abaperizi.
6
Naye Adonibezeki n'adduka; ne bamuwondera, ne bamukwata, ne bamusalako engalo ze ensajja n'ebigere bye ebisajja.
7
Adonibezeki n'agamba nti, “Bakabaka ensanvu (70) be nnatemako engalo zaabwe ensajja n'ebigere byabwe ebisajja, baakuŋŋaanyanga obukunkumuka bw'emmere wansi w'emmeeza yange. Kaakano Katonda ansansudde ekyo kye nnabakola.” Ne bamutwala e Yerusaalemi, era eyo gye yafiira.
8
Awo ab'ekika kya Yuda ne baalumba Yerusaalemi ne bakiwangula ne batta abantu bamu, ne bakimenyamenya, ne bakyokya omuliro.
9
Bwe baava awo ne balumba Abakanani ab'omu nsi ey'ensozi, ne mu bisenyi, ne mu nsi enkalu ey'omu bukiikaddyo ne babalwanyisa.
10
Bwe baava eyo ne balumba Abakanani abaali mu Kebbulooni edda ekyayitibwanga Kiriasualuba; ne batta Sesayi, Akimaani ne Talumaayi.
11
Ab'ekika kya Yuda bwe baava eyo ne balumba ekibuga Debiri edda ekyayitibwanga Kiriasuseferi.
12
Omu ku basajja ba Yuda ayitibwa Kalebu n'agamba nti, “Oyo alirumba Kiriasuseferi n'akiwangula ndimuwa muwala wange Akusa n'amuwasa.”
13
Awo Osunieri mutabani wa Kenazi, muto wa Kalebu, n'akilwanyisa n'akiwangula. Kalebu n'amuwa muwala we Akusa amuwase.
14
Ku lunaku olw'embaga ey'obugole bwabwe, Osunieri n'akuutira Akusa okusaba kitaawe amuwe ennimiro. Awo Akusa n'ava ku ndogoyi ye, n'akka wansi. Kalebu n'amubuuza nti, “Oyagala ki?”
15
Akusa n'agamba nti, “Mpa ekirabo; olw'okuba wanteeka mu nsi ey'obukiikaddyo, ompe n'enzizi z'amazzi.” Kalebu n'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga.
16
Abaana b'Omukeeni, mukoddomi wa Musa ne bagenda n'ab'ekika kya Yuda nga bava e Yeriko ekibuga eky'enkindu, ne balaga mu nsi enkalu eri mu bukiikaddyo obwa Aladi mu Buyudaaya ne bagenda ne batuula n'abantu beeyo.
17
Ab'omu kika kya Yuda ne bagenda ne baganda babwe ab'omu kika kya Simyoni, ne bawangula Abakanani abaali mu kibuga Zefasi, ne bakizikiririza ddala ne bakituuma erinnya Koluma.
18
Era ab'ekika kya Yuda ne bawangula Ggaza, Asukulooni ne Ekuloni ne bitundu ebibyetoolodde.
19
Mukama yali wamu n'abe kika kya Yuda ne bawangula abantu abaali mu nsi ey'ensozi, wabula ne batasobola kuwangula abantu abaatulanga mu bisenyi, kubanga abantu abo balina amagaali ag'ebyuma.
20
Awo Kalebu n'aweebwa Kebbulooni nga Musa bwe yalagira, n'agobamu abaana abasatu ab'Anaki.
21
Naye ab'ekika kya Benyamini ne batagoba ba Yebusi ababeeranga mu Yerusaalemi; naye Abayebusi ne batuula wamu n'ab'ekika kya Benyamini mu Yerusaalemi n'okutuusa kaakano.
22
N'ennyumba ya Yusufu, era n'abo ne balumba Beseri, Mukama n'aba wamu nabo.
23
N'ennyumba ya Yusufu ne batuma abakessi okuketta Beseri, edda ekibuga kyayitibwanga, Luzi.
24
N'abakessi ne balaba omusajja ng'ava mu kibuga, ne bamugamba nti, “Tulage, tukwegayiridde, we tunaayingirira mu kibuga, naffe tunaakukola bulungi.”
25
N'abalaga we banaayingirira mu kibuga, era n'ebatta ab'omu kibuga bonna n'ekitala, okuggyako omusajja oyo n'ab'omu nnyumba ye yonna.
26
Omusajja oyo n'agenda mu nsi ey'Abakiiti, n'azimbayo ekibuga, n'akituuma erinnya Luzi, eryo lye linnya lyakyo ne leero.
27
Ab'ekika kya Manase tebagoba bantu abaatuula mu Besuseani n'ebyalo byakyo, wadde ab'omu Taanaki n'ebyalo byakyo, oba ab'e Doli n'ebyalo byakyo, wamu n'ab'e Ibuleamu ne byalo byakyo, n'ab'omu Megiddo ne byalo byakyo; naye Abakanani ne beeyongera okubeera mu nsi eyo.
28
Awo abaana ba Isiraeri bwe beeyongera okuba ab'amaanyi, ne bawaliriza Abakanani okubakoleranga emirimu, naye ne batabagoberamu ddala.
29
Ab'ekika kya Efulayimu ne batagoba ba Kanani abaatuulanga mu Gezeri; naye Abakanani ne beeyongera okubeera mu Gezeri wamu nabo.
30
Ab'ekika kya Zebbulooni ne batagoba bantu abaatuulanga mu Kituloni, ne Nakaloli; naye Abakanani ne batuula wamu nabo, ne babawaliriza okubakoleranga emirimu.
31
Ab'ekika kya Aseri ne batagoba bantu abaatuulanga mu bibuga: Akko, Sidoni, Alabu, Akuzibu, Keruba, Afiki ne Lekobu;
32
naye ab'ekika kya Aseri ne batuula wamu n'Abakanani kubanga tebaabagoba mu nsi.
33
Ab'ekika kya Nafutaali ne batagoba bantu abaatuulanga mu Besusemesi, wadde abaatuulanga mu Besuanasi; naye ne batuula wamu n'Abakanani abaali bannannyini nsi; kyokka abaatuulanga mu Besusemesi ne Besuanasi ne babawalirizibwa Abaisiraeri okubakoleranga emirimu.
34
Abamoli baasindiikiriza ab'omu kika kya Ddaani ne babazzaayo mu nsi ey'ensozi, ne batabakkiriza kukka mu lusenyi.
35
Abamoli ne bongera okubeera mu Ayalooni, ne mu Saalubimu ne ku lusozi Eresi. Naye ab'omu kika kya Efulayimu n'ab'omu kika kya Manase ne babasinza amaanyi, ne babawaliriza okubakoleranga emirimu.
36
Okuva mu bukiikaddyo obwa Seera, ensalo y'Abamoli yayitiranga mu ntikko ya Akulabbimu.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21