bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 8
Judges 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 9 →
1
Abasajja ba Efulayimu ne babuuza Gidyoni nti, “Lwaki watukola bw'otyo, n'ototuyita nga ogenda okulwana ne Midiyaani?” Ne bayomba nnyo naye.
2
N'abaddamu nti, “Nze kye nkoze kitono nnyo bw'okigerageranya n'ekyammwe. Ezabbibu Efulayimu z'akungudde ng'addamu tezisinga ezo obungi Abiyezeeri z'akungudde?
3
Katonda abawadde okuwangula n'okutta abalangira ababiri Ababamidiyaani, Olebu ne Zeebu; era nze nnandiyinzizza kukola ki okukyenkanyankanya nammwe?” Bweyamala okwogera ebyo, obusungu bwabwe ne bukkakkana.
4
Gidyoni n'atuuka ku Yoludaani, n'asomoka, ye n'abasajja bisatu (300) abaali naye, nga bakooye, naye nga bakyagoberera.
5
N'agamba abasajja ab'omu Sukkosi nti, “Mbeegayiridde abasajja abali nange mubawe ku migaati, kubanga bakooye, era nkyawondera Zeba ne Zalumunna, bakabaka ba Midiyaani.”
6
Abalangira b'e Sukkosi ne boogera nti, “Ebibatu bya Zeba ne Zalumunna biri mu mukono gwo kaakano, tulyoke tuwe eggye lyo emigaati?”
7
Gidyoni n'ayogera nti, “Kale Mukama bw'alimala okugabula Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, ne ndyoka mbakubisa amaggwa ag'omu nsiko n'emyeramannyo.”
8
Awo Gidyoni n'avaayo n'ayambuka e Penueri, n'abaayo n'abagamba ebigambo bye bimu; abasajja abe Penueri nabo ne bamuddamu nga abe Sukkosi bwe baddamu.
9
N'agamba abasajja ab'omu Penueri nabo nti, “Bwe ndikomawo emirembe, ndimenyamenya ekigo kino.”
10
Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli, n'eggye lyabwe eryafikkawo abasajja omutwalo gumu n'ekitundu (15,000), kubanga abalwanyi abalala emitwalo kkumi n'ebiri (120,000) baali bafudde.
11
Gidyoni n'ayambukira mu kkubo ery'ebuvanjuba bwa Noba n'e Yogubeka, n'azindukirizza eggye nga terimanyiridde.
12
Zeba ne Zalumunna bakabaka bombi abe Midiyaani ne badduka; n'abawondera; n'abawamba, egye lyonna ne litya nnyo.
13
Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi bwe yali ava ku lutalo n'ayitira e Keresi.
14
N'awamba omuvubuka ow'omu Sukkosi, n'amubuuza ebifa ku balangira ab'e Sukkosi; awo omuvubuka n'amuwandiikira amanya nsanvu mu musanvu (77), agabalangira n'abakadde baayo.
15
Awo Gidyoni n'agenda eri ab'e Sukkosi n'abagamba nti, “Mulabe Zeba ne Zalumunna, kwe mwayima okunduulira nga mwogera nti, ‘Ebibatu bya Zeba ne Zalumunna biri mu mukono gwo kaakano, ffe tulyoke tuwe abasajja bo abakooye emigaati?’ ”
16
N'addira amaggwa ag'omu nsiko n'emyeramannyo n'akuba abakadde ab'omu Sukkosi.
17
N'agenda e Penueri n'amenyamenya ekigo kyayo, n'atta n'abasajja ab'omu kibuga.
18
Awo n'alyoka agamba Zeba ne Zalumunna nti, “Abasajja be mwattira e Taboli baali bafaanana batya?” Ne baddamu nti, “Baali bafaanana nga ggwe, nga bali ng'abaana ba kabaka.”
19
N'ayogera nti, “Baali baganda bange, abaana ba mmange; nga Mukama bw'ali omulamu, singa temwabatta nange sandibasse.”
20
N'agamba Yeseri mutabani we omubereberye we nti, “Situka obatte.” Naye omuvubuka naatya n'atasowola kitala kye kubanga yali akyali muto.
21
Zeba ne Zalumunna ne bagamba Gidyoni nti, “Ggwe situka otutte, kubanga ekikolwa ng'ekyo kikolwa omusajja muzira nga ggwe.” Gidyoni n'agolokoka n'atta Zeba ne Zalumunna, n'atwala amajolobera agaali mu bulago bw'eŋŋamira zaabwe.
22
Abasajja ba Isiraeri ne balyoka bagamba Gidyoni nti, “Ggwe tufuge ne mutabani wo ne muzzukulu wo, kubanga otulokodde mu mukono gwa Abamidiyaani.”
23
Gidyoni n'abagamba nti, “Nze sigenda kubafuga, so ne mutabani wange tagenda kubafuga; Mukama y'anaabafuganga.”
24
Naye Gidyoni n'abagamba nti, “Mbasaba buli muntu ampe empeta ez'omu matu ze yanyaga.” Kubanga Abaisimaeri bayambalanga empeta eza zaabu mu matu gaabwe.
25
Ne baddamu nti, “Tunaaziwa, si lwa mpaka.” Ne baalaawo ekyambalo, ne basuulako buli muntu empeta ez'omu matu ze yanyaga.
26
N'obuzito bw'empeta ez'omu matu eza zaabu ze yasaba bwali sekeri za zaabu lukumi mu lusanvu (1,700) nga totaddeko majolebera n'ebyambalo eby'e fulungu bakabaka be Midiyaani bye baali bambadde ne mikuufu egyali mu bulago bw'eŋŋamira zaabwe.
27
Gidyoni n'abikolamu ekifaananyi eky'ekkanzu n'abiteeka mu kibuga kye, Ofula; Isiraeri yenna ne bava ku katonda ne bagenda ne bakisinza, kino ne kifuukira Gidyoni n'ab'omu maka ge ekyambika.
28
Awo Midiyaani newangulwa abaana ba Isiraeri netaddamu kubeera kizibu gyebali. Ensi ne baamu emirembe okumala emyaka ana (40), okutuusa Gidyoni lwe yafa.
29
Yerubbaali ye Gidyoni mutabani wa Yowaasi n'agenda mu nnyumba ye ye.
30
Era Gidyoni yalina batabani be, be yazaala abaava mu ntumbwe ze nsanvu (70), kubanga yawasa abakazi bangi.
31
N'omuzaana we eyali Sekemu naye n'amuzaalira omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Abimereki.
32
Gidyoni mutabani wa Yowaasi n'afa ng'akaddiye bulungi, ne bamuziika mu ntaana ya Yowaasi kitaawe, mu Ofula eky'Ababiezeri.
33
Awo olwatuuka Gidyoni bwe yamala okufa amangu ago abaana ba Isiraeri ne baava ku Katonda ne basinza Baali, ne bafuula Baaluberisi katonda waabwe.
34
Abaana ba Isiraeri ne batajjukira Mukama Katonda waabwe, eyabawonya mu mukono gw'abalabe baabwe bonna ku njuyi zonna;
35
so tebaalaga kusiima ba nnyumba ya Yerubbaali ye Gidyoni, olw'ebirungi byonna Gidyoni bye yakolera Isiraeri.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21